Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Chronological

Read the Bible in the chronological order in which its stories and events occurred.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Engero 16-18

Mukama Agera Ekkubo ly’Omuntu

16 (A)Omuntu ateekateeka by’ayagala okukola mu mutima gwe,
    Naye okuddamu kuva eri Mukama.

(B)Amakubo g’omuntu gonna gaba matuufu mu maaso ge ye,
    naye Mukama y’apima ebigendererwa.

(C)Emirimu gyo gyonna gikwasenga Mukama,
    naye anaatuukirizanga entegeka zo.

(D)Mukama buli kimu akikola ng’alina ekigendererwa,
    n’abakozi b’ebibi y’abakolera olunaku lwe batuukibwako ebizibu.

(E)Buli muntu alina omutima ogw’amalala wa muzizo eri Mukama;
    weewaawo talirema kubonerezebwa.

(F)Olw’okwagala n’olw’obwesigwa, ekibi kisasulibwa,
    n’okutya Mukama kuleetera omuntu okwewala okukola ebibi.

Amakubo g’omuntu bwe gaba gasanyusa Mukama,
    aleetera abalabe b’omuntu oyo okubeera naye mu mirembe.

(G)Akatono akafune mu butuukirivu,
    kasinga obugagga obungi obufune mu bukyamu.

(H)Omutima gw’omuntu guteekateeka ekkubo lye,
    naye Mukama y’aluŋŋamya bw’anaatambula.

10 Kabaka ky’ayogera kiba ng’ekiva eri Katonda,
    n’akamwa ke tekasaanye kwogera bitali bya bwenkanya.

11 (I)Ebipimo ne minzaani ebituufu bya Mukama,
    ebipimo byonna ebikozesebwa y’abikola.

12 (J)Kya muzizo bakabaka okukola ebibi,
    kubanga entebe ye ey’obwakabaka enywezebwa butuukirivu.

13 (K)Akamwa akogera eby’amazima bakabaka ke basanyukira,
    era baagala oyo ayogera amazima.

14 (L)Obusungu bwa kabaka buli ng’ababaka abaleese okufa,
    omusajja ow’amagezi alibukkakkanya.

15 (M)Kabaka bw’asanyuka kireeta obulamu;
    n’okuganza kwe, kuli nga ekire eky’enkuba[a] mu biseera ebya ttoggo.

16 (N)Okufuna amagezi nga kusinga nnyo okufuna zaabu,
    era n’okufuna okutegeera kikira ffeeza!

17 Ekkubo ly’abagolokofu kwe kwewala ebibi,
    n’oyo eyeekuuma mu kutambula kwe, awonya emmeeme ye.

18 (O)Amalala gakulembera okuzikirira,
    n’omwoyo ogwegulumiza gukulembera ekigwo.

19 Okubeera n’omwoyo ogwetoowaza era n’okubeera n’abaavu,
    kisinga okugabana omunyago n’ab’amalala.

20 (P)Oyo assaayo omwoyo ku kuyigirizibwa alikulaakulana,
    era alina omukisa oyo eyeesiga Mukama.

21 (Q)Abalina emitima egy’amagezi baliyitibwa bategeevu,
    n’enjogera ennungi eyongera okuyamba okutegeera.

22 (R)Amagezi nsulo ya bulamu eri oyo agalina,
    naye obusirusiru buleetera abasirusiru okubonerezebwa.

23 Omutima gw’omuntu ow’amagezi gumuwa enjogera ennungi,
    era akamwa ke kayigiriza abalala.

24 (S)Ebigambo ebirungi biri ng’ebisenge by’omubisi gw’enjuki,
    biwoomera emmeeme, ne biwonya n’amagumba.

25 (T)Wabaawo ekkubo erirabika ng’ettuufu eri omuntu,
    naye ku nkomerero limutuusa mu kufa.

26 Okwagala okulya kuleetera omuntu okukola n’amaanyi,
    kubanga enjala emukubiriza okweyongera okukola.

27 (U)Omuntu omusirusiru ategeka okukola ebitali bya butuukirivu,
    era n’ebigambo bye, biri ng’omuliro ogwokya ennyo.

28 (V)Omuntu omubambaavu asiikuula entalo,
    n’ow’olugambo ayawukanya ab’omukwano enfirabulago.

29 (W)Omuntu omukyamu asendasenda muliraanwa we
    n’amutwala mu kkubo eritali ttuufu.

30 Omuntu atemya ku liiso ateekateeka kwonoona,
    n’oyo asongoza emimwa ategeka kukola bitali birungi.

31 (X)Omutwe ogw’envi ngule ya kitiibwa,
    gufunibwa abo abatambulira mu bulamu obutuukirivu.

32 Omuntu omugumiikiriza asinga omutabaazi,
    n’oyo afuga obusungu bwe akira awamba ekibuga.

33 (Y)Akalulu kayinza okukubibwa,
    naye okusalawo kwa byonna kuva eri Mukama.

17 (Z)Okulya akamere akaluma awali emirembe,
    kisinga okuba mu nnyumba ejjudde ebyassava nga mulimu entalo.

Omuddu omugezi alifuga omwana wa bowo akwasa ensonyi,
    era alifuna ebyobusika ng’omu ku baana b’awaka.

(AA)Entamu erongoosa yakolebwa lwa ffeeza, n’ekikoomi ky’okulongoosa lwa zaabu,
    naye Mukama agezesa emitima.

Omubi assaayo omwoyo eri eby’obulimba,
    era n’omulimba awuliriza olulimi olukuusa.

(AB)Oyo akudaalira omwavu avvoola eyamutonda,
    n’oyo asanyukira obuyinike bw’abalala talirema kubonerezebwa.

(AC)Abazzukulu ngule ya bajjajjaabwe,
    era n’abaana beenyumiririza mu bakadde baabwe.

Enjogerannungi teba ya musirusiru,
    ng’oweekitiibwa bw’atasaana kwogera bya bulimba.

Enguzi eri ng’ejjinja ery’omufuusa mu maaso g’oyo agigaba,
    alowooza nti buli gy’akyukira eneemuyamba.

(AD)Okwagala tekulondoola nsobi,
    naye oyo atasonyiwa nsobi akyawaganya ab’omukwano enfirabulago.

10 Okunenya kuyamba nnyo omuntu ategeera,
    okusinga okukuba omusirusiru embooko ekikumi.

11 Omukozi w’ebibi anoonya bujeemu bwereere,
    era kyaliva asindikirwa omubaka omukambwe.

12 Okusisinkana eddubu enyagiddwako abaana baayo,
    kisinga okusisinkana omusirusiru mu busirusiru bwe.

Ebbeeyi y’Amagezi

13 (AE)Omuntu bw’asasula ekibi olw’obulungi,
    ekibi tekiriva mu nnyumba ye.

14 (AF)Okutandika oluyombo kuli ng’omuntu bw’asumulula omudumu gw’amazzi,
    noolwekyo vvaawo ng’oluyombo terunnatandika.

15 (AG)Eyejjeereza omukozi w’ebibi n’oyo avumirira omutuukirivu,
    bombi ba muzizo eri Mukama.

16 (AH)Omusirusiru agasibwa ki okuba ne ssente ezisasulibwa amagezi,
    ng’ate ye talina mutima gwegomba magezi?

17 Omukwano ogw’amagezi guba gwa lubeerera,
    era owooluganda yeesigibwa mu biro eby’ennaku.

18 (AI)Omuntu atalina magezi awa obweyamo
    ne yeetema okusasula amabanja ga muliraanwa we.

19 Oyo ayagala ekibi anyumirwa ennyombo,
    n’oyo akola omulyango omunene ogw’omu maaso gwa bbugwe ye nga guyitiridde obunene gulimuteganya nnyo.

20 Omuntu ow’omutima omubambaavu takulaakulana,
    n’oyo ow’olulimi olulimba agwa mu katyabaga.

21 (AJ)Omwana omusirusiru aleetera kitaawe obuyinike,
    kitaawe w’omusirusiru taba na ssanyu.

22 (AK)Omutima ogw’essanyu ddagala ddungi,
    naye omwoyo omunyiikaavu gukozza omubiri.

23 (AL)Omuntu omubi alya enguzi mu kyama,
    alyoke aziyize amazima okweyoleka.

24 (AM)Omuntu omutegeevu, ebirowoozo abissa eri amagezi,
    naye amaaso g’omusirusiru gasamaalirira ensi gy’ekoma.

25 (AN)Omwana omusirusiru buyinike eri kitaawe,
    era aleeta ennaku eri nnyina eyamuzaala.

26 (AO)Si kirungi okuweesa omutuukirivu engassi ey’obwereere
    wadde okukuba ab’ekitiibwa embooko olw’obwesimbu bwabwe.

27 (AP)Omuntu omwegendereza mu bigambo bye abeera n’okutegeera,
    n’oyo alina omwoyo omuteefu aba muntu wa magezi.

28 (AQ)Omusirusiru bw’asirika alowoozebwa okuba n’amugezi,
    era aba mutegeevu bw’afuga akamwa ke.

Ebigambo by’Abagezi n’Abasirusiru

18 Eyeggya ku banne aba yeerowoozako yekka,
    era tawuliriza magezi gamuweebwa.

(AR)Omusirusiru tasanyukira kutegeera,
    ky’asanyukira kyokka kwe kwogera by’alowooza.

Okukola ekibi bwe kujja n’okunyooma kujjirako,
    era awali okuyisaamu omuntu amaaso wabaawo okunyoomoola.

Ebigambo by’omu kamwa k’omuntu mazzi ga buziba,
    naye ensulo ey’amagezi mugga ogukulukuta.

(AS)Si kirungi kuttira mubi ku liiso,
    oba okusaliriza omutuukirivu.

Akamwa k’omusirusiru kamuleetera entalo
    era akamwa ke kamuleetera okukubwa emiggo.

(AT)Akamwa k’omusirusiru ke kamuleetera okuzikirira,
    era n’emimwa gye mutego eri emmeeme ye.

(AU)Ebigambo by’omuntu ageya biri ng’emmere ewoomerera,
    bigenda mu bitundu by’omubiri eby’ewala.

(AV)Omuntu omugayaavu mu mirimu gy’akola,
    waluganda n’oyo azikiriza.

10 (AW)Erinnya lya Mukama kigo ky’amaanyi,
    omutuukirivu addukira omwo n’afuna emirembe.

11 (AX)Obugagga bw’omugagga, kye kibuga kye ekiriko bbugwe ow’amaanyi,
    era mu kulaba kwe, kigo kye ekigumu ekitarinnyika.

12 (AY)Omuntu nga tannagwa, omutima gwe gwegulumiza, naye okwetoowaza kumuweesa ekitiibwa.

13 (AZ)Oyo addamu amangu mu nsonga gy’ateetegerezza,
    buba busirusiru bwe era buswavu.

14 (BA)Omwoyo gw’omuntu gumuwanirira mu bulwadde,
    naye emmeeme eyennyise ani ayinza okugigumiikiriza?

15 (BB)Omutima gw’omwegendereza guyiga okumanya,
    amatu g’omuntu omugezi gawuliriza.

16 (BC)Ekirabo ky’omuntu kimuseguliza,
    era kimutuusa ne mu maaso g’abeekitiibwa.

17 Asooka okweyogerako y’afaanana ng’omutuufu,
    okutuusa omulala lw’amubuuza ebibuuzo.

18 (BD)Okukuba akalulu kimalawo empaka,
    era kisalawo eggoye wakati w’abawakana ab’amaanyi.

19 Kyangu okuwamba ekibuga ekiriko bbugwe ow’amaanyi, okusinga okukomyawo owooluganda anyiize,
    era ennyombo ziba ng’empagi z’ekigo.

20 (BE)Omuntu anakkutanga ebigambo ebiva mu kamwa ke;
    ebibala ebijjula akamwa ke bye binamukkusanga.

21 (BF)Olulimi lulina obuyinza okuwa obulamu oba okutta,
    era n’abo abalwagala balirya ebibala byalwo.

22 (BG)Azuula omukazi omulungi ow’okuwasa aba azudde ekirungi,
    era aganja eri Mukama.

23 Omwavu yeegayirira,
    naye omugagga addamu na bbogo.

24 (BH)Akwana emikwano emingi yeereetera okuzikirira,
    naye wabaawo ow’omukwano akwagala ennyo okusinga owooluganda.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.