Book of Common Prayer
Ya mukulu wa Bayimbi. Ya ndere. Zabbuli ya Dawudi.
5 Otege okutu eri ebigambo byange, Ayi Mukama;
olowooze ku kunyolwa kwange.
2 (A)Wuliriza eddoboozi ly’omulanga gwange,
Ayi Kabaka wange era Katonda wange:
kubanga ggwe gwe nsaba.
3 (B)Ayi Mukama, buli nkya owulira eddoboozi lyange;
buli nkya ndeeta gy’oli okusaba kwange,
ne nnindirira onziremu.
4 (C)Kubanga ggwe Ayi Katonda, tosanyukira bibi:
n’ebitasaana tobigumiikiriza.
5 (D)Ab’amalala era abakola ebibi tobeetaaga mu maaso go:
kubanga okyawa abakola ebibi bonna.
6 (E)Abalimba bonna obazikiriza;
Mukama akyawa abatemu
era n’abalimba.
7 (F)Naye olw’ekisa kyo ekingi,
nze nnaayingiranga mu nnyumba yo:
ne nkusinziza mu Yeekaalu yo Entukuvu
n’okutya okungi.
8 (G)Onkulembere, Ayi Mukama, mu butuukirivu bwo,
olw’abalabe bange,
ondage ekkubo eggolokofu ery’okutambulirangamu.
9 (H)Abalabe bange bye boogera tebyesigibwa;
emitima gyabwe gijjudde bussi bwereere.
Emimiro gyabwe ntaana eyasaamiridde:
akamwa kaabwe koogera bya bulimba.
10 (I)Basalire omusango gubasinge, Ayi Katonda;
baleke bagwe mu mitego gyabwe.
Bagobe
kubanga baakujeemera.
11 (J)Naye leka abo bonna abakwesiga basanyukenga;
ennaku zonna bayimbenga n’essanyu,
obakuumenga,
abo abaagala erinnya lyo basanyukirenga mu ggwe.
12 (K)Kubanga, Ayi Mukama, omutuukirivu omuwa omukisa;
era omukuuma, n’omwetoolooza okwagala ng’engabo.
Eri Omukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi.
6 (L)Ayi Mukama, tonnenya ng’ojjudde obusungu;
so tombonereza mu kiruyi kyo.
2 (M)Onsaasire, Ayi Mukama, kubanga ndi munafu.
Omponye, Ayi Mukama, kubanga amagumba gange gali mu bulumi.
3 (N)Emmeeme yange ejjudde ennaku.
Olirindirira kutuusa ddi olyoke onnyambe?
4 (O)Onkyukire, Ayi Mukama, olokole omwoyo gwange;
omponye okufa olw’okwagala kwo okungi.
5 (P)Kubanga tewali ayinza kukujjukira ng’amaze okufa.
Ani alikutendereza ng’asinziira emagombe?
6 (Q)Mpweddemu amaanyi olw’okusinda.
Buli kiro obuliri bwange bujjula amaziga gange
n’omutto ne gutoba.
7 (R)Amaaso gange ganafuye olw’okunyolwa,
tegakyalaba bulungi olw’abalabe bange.
10 (A)Lwaki otwekwese, Ayi Mukama?
Lwaki otwekwese mu biseera eby’emitawaana?
2 Omubi, mu malala ge, ayigganya abanafu;
muleke agwe mu nkwe ezo z’asaze.
3 (B)Kubanga omubi yeewaana ng’anyumya ku bibi ebiri mu mutima gwe,
agabula aboomululu n’avuma Mukama.
4 (C)Omubi mu malala ge
tanoonya Katonda.
5 Buli ky’akola kimugendera bulungi.
Amateeka go tagafaako,
era n’abalabe be abanyooma.
6 (D)Ayogera mu mutima gwe nti, “Sikangibwa,
nzija kusanyuka emirembe gyonna.”
7 (E)Mu kamwa ke mujjudde okukolima n’obulimba awamu n’okutiisatiisa;
ebigambo bye bya mutawaana era bibi.
8 (F)Yeekukuma mu byalo
okutemula abantu abataliiko musango.
Yeekweka ng’aliimisa b’anatta.
9 (G)Asooba mu kyama ng’empologoma,
ng’alindirira okuzinduukiriza abateesobola.
Abakwasa n’abatwalira mu kitimba kye.
10 B’abonyaabonya bagwa wansi
ne babetentebwa ng’amaanyi g’omubi gabasukkiridde.
11 (H)Ayogera mu mutima gwe nti, “Katonda yeerabidde, amaaso ge agakwese,
era takyaddayo kubiraba.”
12 (I)Golokoka, Ayi Mukama, ozikirize omubi, Ayi Katonda;
abanaku tobeerabiranga.
13 Omuntu omubi ayinza atya okukunyooma, Ayi Katonda,
n’agamba mu mutima gwe nti
“Sigenda kwennyonnyolako?”
14 (J)Naye ggwe, Ayi Katonda, ennaku zaabwe n’okubonaabona kwabwe obiraba
era ojja kubikolako.
Ateesobola yeewaayo mu mikono gyo,
kubanga gwe mubeezi w’abatalina bakitaabwe.
15 (K)Malawo amaanyi g’omwonoonyi,
muyite abyogere ebyo
ebibadde bitajja kuzuulwa.
16 (L)Mukama ye Kabaka emirembe n’emirembe.
Amawanga galizikirizibwa mu nsi ye.
17 (M)Mukama awulira okwetaaga kw’ababonyaabonyezebwa, ogumye emitima gyabwe;
otege okutu kwo obaanukule.
18 (N)Olwanirira abataliiko bakitaabwe n’abajoogebwa;
omuntu obuntu ow’oku nsi n’ataddayo kubatiisa.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
11 (O)Mu Mukama mwe neekweka;
ate muyinza mutya okuŋŋamba nti,
“Ddukira ku nsozi ng’ebinyonyi?
2 (P)Kubanga laba ababi baleega emitego gyabwe
egy’obusaale,
balase abalina omutima
omulongoofu.
3 (Q)Emisingi nga gizikirizibwa,
omutuukirivu ayinza kukola ki?”
4 (R)Mukama ali mu Yeekaalu ye entukuvu;
Mukama atudde ku ntebe ye ey’obwakabaka eri mu ggulu.
Amaaso ge gatunuulira
era geetegereza abaana b’abantu.
5 (S)Mukama akebera abatuukirivu
naye omutima gwe gukyawa ababi,
n’abakola eby’obukambwe.
6 (T)Ababi alibayiwako
amanda ag’omuliro;
n’empewo ezibambula gwe guliba omugabo gwabwe.
7 (U)Kubanga Mukama mutuukirivu
era ayagala eby’obutuukirivu;
abo abalongoofu be balimulaba.
Ekirooto kya Nebukadduneeza
2 (A)Mu mwaka ogwokubiri ogw’obufuzi bwa kabaka Nebukadduneeza, Nebukadduneeza n’aloota ekirooto; ne yeeraliikirira nnyo, n’otulo ne tumubula. 2 (B)Awo kabaka n’atumya abasawo, n’abafumu, n’abalaguzi n’Abakaludaaya okumutegeeza ekirooto kye yaloota. Ne bajja ne bayimirira mu maaso ga kabaka. 3 (C)N’abagamba nti, “Naloota ekirooto ekimbuzizza otulo, njagala mukintegeeze n’amakulu gaakyo.”
4 (D)Awo Abakaludaaya ne baddamu kabaka mu lulimi Olusuuli nti, “Ayi kabaka, owangaale emirembe gyonna! Buulira abaddu bo ekirooto, nabo banaakunnyonnyola amakulu gaakyo.”
5 (E)Kabaka n’addamu Abakaludaaya nti, “Kino kye nsazeewo; bwe mutantegeeze kirooto ekyo, n’amakulu gaakyo, nzija kulagira mutemebwetemebwe, era n’amayumba gammwe gamenyebwemenyebwe. 6 (F)Kyokka bwe munaantegeeza ekirooto n’amakulu gaakyo, nnaabawa ebirabo, n’empeera, n’ekitiibwa kinene. Noolwekyo mumbuulire ekirooto n’amakulu gaakyo.”
7 Ne bamuddamu nate nti, “Tubuulire ekirooto kyo, tusobole okukubuulira amakulu gaakyo.”
8 Awo kabaka n’addamu nti, “Ntegeeredde ddala nga mwagala kufuna bbanga ddene, kubanga mutegedde nga kye nsazeewo mmaliridde okukikola, 9 (G)era bwe mutantegeeze kirooto, ekibonerezo kiri kimu kyokka. Mwekobaanye okunnimba n’okumbuulira ebigambo ebikyamu, nga munsuubira okukyusa ku ndowooza yange. Kale nno, muntegeeze ekirooto, munnyinnyonnyole n’amakulu gaakyo.”
10 (H)Abakaludaaya ne baddamu kabaka nti, “Tewali muntu n’omu ku nsi ayinza okukola kabaka ky’asaba. Ate era tewabangawo kabaka ne bw’aba w’amaanyi atya oba wa buyinza atya, eyali asabye omulaguzi yenna newaakubadde omufumu yenna newaakubadde Omukaludaaya yenna ekintu ng’ekyo. 11 (I)Kabaka ky’asaba kizibu nnyo. Tewali n’omu ayinza kukibikkulira kabaka, wabula bakatonda abatalina mubiri ogwa bulijjo.”
12 (J)Ekigambo ekyo ne kisunguwaza nnyo kabaka, kyeyava alagira abagezigezi bonna mu Babulooni okuttibwa. 13 (K)Ekiragiro ne kiyita okutta abagezigezi bonna, era ne wabaawo abasajja abaatumibwa okunoonya Danyeri ne mikwano gye okubatta.
14 Awo Danyeri n’asisinkana Aliyooki omuduumizi w’abakuumi ba kabaka, bwe yali ng’agenda okutta abagezigezi ab’e Babulooni; n’ayogera naye mu magezi n’obukalabakalaba, 15 n’amubuuza nti, “Kyavudde ku ki kabaka okuwa ekiragiro eky’obukambwe bwe kityo?” Aliyooki n’annyonnyola Danyeri ensonga eyavaako ekyo. 16 Awo Danyeri n’alaga eri kabaka, n’asaba aweebwe ekiseera okwogera ne kabaka, alyoke amutegeeze amakulu g’ekirooto.
Kristo Omuwolereza Waffe
2 (A)Baana bange abaagalwa, ebintu bino mbibawandiikidde mulemenga okukola ekibi. Naye omuntu yenna bw’akolanga ekibi tulina omuwolereza eri Kitaffe, ye Yesu Kristo Omutuukirivu. 2 (B)Ye, ye mutango olw’ebibi byaffe, naye si lwa bibi byaffe byokka, wabula ne ku lw’ebibi by’abantu bonna. 3 (C)Bwe tugondera ebiragiro bye, kye kikakasa nti tumutegeera. 4 (D)Kyokka oyo agamba nti amutegeera n’atakuuma biragiro bye, aba mulimba, era si wa mazima. 5 (E)Naye buli agondera ekigambo kye, ddala ng’okwagala kwa Katonda kutuukiridde mu muntu oyo. Era ekyo kye kitukakasisa nti tuli mu ye. 6 (F)Oyo agamba nti ali mu ye, asaana okutambula nga Mukama waffe yennyini bwe yatambula.
7 (G)Abaagalwa, sibawandiikira kiragiro kiggya, naye mbawandiikira ekiragiro ekyabaawo edda, kye kyo kye mwawuliranga okuva ku lubereberye. 8 (H)Kyokka nno ekiragiro kino kye mbawandiikira kiggya era kikakasirizibwa mu ye ne mu mmwe. Kubanga ekizikiza kigenda kiggwaawo era omusana ogw’amazima kaakano gwaka.
9 Omuntu agamba nti atambulira mu musana, kyokka ate n’akyawa owooluganda, aba akyali mu kizikiza. 10 (I)Naye ayagala owooluganda aba ali mu musana, era talinaawo kimwesittaza. 11 (J)Kyokka oyo akyawa owooluganda, aba akyali mu kizikiza, era mu kizikiza ekyo mw’atambulira, nga tategeera gy’alaga, kubanga ekizikiza kimuzibye amaaso.
12 (A)Bwe mbadde nabo, abo be wampa mbakuumye mu linnya lyo, ne watabaawo azikirira, okuggyako omwana ow’okubula, ekyawandiikibwa kiryoke kituukirire.”
13 (B)“Nange kaakano nzija gy’oli, era mbabuulidde ebintu bino nabo babe n’essanyu lyange nga lituukiridde mu bo. 14 (C)Mbawadde ekigambo kyo, ensi n’ebakyawa kubanga si ba nsi nga Nze bwe siri wa nsi. 15 (D)Sikusaba kubaggya mu nsi, naye nkusaba obakuume eri omubi. 16 (E)Si ba nsi nga nange bwe siri wa nsi. 17 (F)Obatukuze mu mazima; ekigambo kyo ge mazima. 18 (G)Nga bwe wantuma mu nsi, nange bwe ntyo mbatuma mu nsi. 19 Era neetukuza ku lwabwe nabo balyoke batukuzibwe mu mazima.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.