Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 146-149

146 (A)Tendereza Mukama!

Tendereza Mukama ggwe emmeeme yange!

(B)Nnaatenderezanga Mukama ennaku zonna ez’obulamu bwange;
    nnaayimbanga okutendereza Katonda wange nga nkyali mulamu.
(C)Teweesiganga bafuzi,
    wadde abantu obuntu omutali buyambi.
(D)Kubanga bafa ne bakka emagombe;
    ne ku lunaku olwo lwennyini, byonna bye baba bateeseteese ne bifa.
(E)Yeesiimye oyo ayambibwa Katonda wa Yakobo;
    ng’essuubi lye liri mu Mukama Katonda we,
(F)eyakola eggulu n’ensi
    n’ennyanja ne byonna ebirimu,
    era omwesigwa emirembe gyonna.
(G)Atereeza ensonga z’abajoogebwa mu bwenkanya,
    n’abalumwa enjala abawa ebyokulya.
Mukama asumulula abasibe.
    (H)Mukama azibula amaaso ga bamuzibe,
era awanirira abazitoowereddwa.
    Mukama ayagala abatuukirivu.
(I)Mukama alabirira bannamawanga,
    era ayamba bamulekwa ne bannamwandu;
    naye ekkubo ly’abakola ebibi alifaafaaganya.

10 (J)Mukama anaafuganga emirembe gyonna,
    Katonda wo, Ayi Sayuuni, anaabanga Katonda wa buli mulembe.

Mutendereze Mukama!
147 (K)Mutendereze Mukama!

Kubanga kirungi okutenderezanga Katonda waffe;
    kubanga ajjudde ekisa, n’oluyimba olw’okumutenderezanga lumusaanira.

(L)Mukama azimba Yerusaalemi;
    era akuŋŋaanya Abayisirayiri abaali mu buwaŋŋanguse.
Azzaamu amaanyi abo abalina emitima egimenyese,
    era ajjanjaba ebiwundu byabwe.
(M)Mukama ategeka omuwendo gw’emmunyeenye;
    era buli emu n’agituuma erinnya.
(N)Mukama waffe mukulu era wa kitiibwa; amaanyi g’obuyinza bwe tegatendeka,
    n’okutegeera kwe tekuliiko kkomo.
(O)Mukama awanirira abawombeefu,
    naye abakola ebibi abasuulira ddala wansi.

(P)Muyimbire Mukama ennyimba ez’okumwebaza;
    mumukubire entongooli ezivuga obulungi.

(Q)Mukama abikka eggulu n’ebire,
    ensi agitonnyeseza enkuba,
    n’ameza omuddo ne gukula ku nsozi.
(R)Ente aziwa emmere, ne bannamuŋŋoona abato abakaaba abaliisa.

10 (S)Essanyu lya Mukama teriri mu maanyi ga mbalaasi,
    wadde mu magulu g’omuntu,
11 wabula Mukama asanyukira abo abamussaamu ekitiibwa,
    era abalina essuubi mu kwagala kwe okutaggwaawo.

12 Tendereza Mukama ggwe Yerusaalemi,
    tendereza Katonda wo ggwe Sayuuni,
13 kubanga ebisiba enzigi zo, ye abinyweza,
    n’abantu bo abasulamu n’abawa omukisa.
14 (T)Aleeta emirembe ku nsalo zo;
    n’akukkusa eŋŋaano esinga obulungi.

15 (U)Aweereza ekiragiro kye ku nsi;
    ekigambo kye ne kibuna mangu.
16 (V)Ayaliira omuzira ku ttaka ne gutukula ng’ebyoya by’endiga enjeru,
    n’omusulo ogukutte n’agusaasaanya ng’evvu.
17 Omuzira agukanyuga ng’obuyinjayinja;
    bw’aleeta obutiti ani ayinza okubusobola?
18 (W)Mukama aweereza ekigambo kye, omuzira ne gusaanuuka;
    n’akunsa empewo, amazzi ne gakulukuta.
19 (X)Yategeeza Yakobo ekigambo kye;
    Isirayiri n’amanya amateeka ga Mukama n’ebiragiro bye.
20 (Y)Tewali ggwanga na limu lye yali akolaganye nalyo bw’atyo;
    amawanga amalala tegamanyi mateeka ge.

Mutendereze Mukama!
148 Mutendereze Mukama!

Mumutendereze nga musinziira mu ggulu,
    mumutenderereze mu bifo ebiri waggulu.
(Z)Mumutendereze mmwe mwenna bamalayika be,
    mumutendereze mmwe mwenna eggye lye ery’omu ggulu.
Mmwe enjuba n’omwezi mutendereze Mukama,
    nammwe mwenna emmunyeenye ezaaka mumutendereze.
(AA)Tendereza Mukama ggwe eggulu eriri waggulu ennyo,
    naawe amazzi agali waggulu w’eggulu.

(AB)Leka byonna bitendereze erinnya lya Mukama!
    Kubanga ye yalagira, ne bitondebwa.
(AC)Yabinywereza ddala mu bifo byabyo ennaku zonna,
    n’ateekawo etteeka eritaliggwaawo.

(AD)Mumutendereze nga musinziira ku nsi,
    mmwe balukwata n’ebifo byonna eby’omu buziba bw’ennyanja,
(AE)mmwe okumyansa, n’omuzira ogw’amakerenda, n’omuzira ogukutte era n’olufu,
    naawe kikuŋŋunta, mugondere ekiragiro kye,
(AF)mmwe agasozi n’obusozi,
    emiti egy’ebibala n’emivule;
10 ensolo ez’omu nsiko era n’ente zonna,
    ebyewalula n’ebinyonyi ebibuuka,
11 bakabaka b’ensi n’amawanga gonna,
    abalangira n’abafuzi bonna ab’ensi,
12 abavubuka abalenzi n’abawala;
    abantu abakulu n’abaana abato.

13 (AG)Bitendereze erinnya lya Mukama,
    kubanga erinnya lye lyokka lye ligulumizibwa;
    ekitiibwa kye kisinga byonna eby’omu nsi n’eby’omu ggulu.
14 (AH)Abantu be abawadde amaanyi,
    era agulumizizza abatukuvu be,
    be bantu be Isirayiri abakolagana naye.

Mutendereze Mukama.
149 (AI)Mutendereze Mukama!

Muyimbire Mukama oluyimba oluggya,
    mumutenderereze wamu n’ekibiina ky’abatukuvu.

(AJ)Isirayiri asanyukirenga eyamutonda;
    n’abantu ba Sayuuni bajagulize Kabaka waabwe!
(AK)Batenderezenga erinnya lye nga bwe bazina,
    bamutenderezenga nga bwe bakuba ennanga n’ebitaasa.
(AL)Kubanga Mukama asanyukira abantu be,
    n’abawombeefu abawa engule ey’obulokozi.
(AM)Abatuukirivu bajagulizenga mu kitiibwa kino;
    bayimbire ku bitanda byabwe olw’essanyu.

(AN)Batenderezenga Katonda waabwe,
    bakwate ekitala eky’obwogi obubiri,
bawoolere eggwanga,
    babonereze n’amawanga,
bateeke bakabaka baago mu njegere,
    n’abakungu baago babasibe amagulu n’ebyuma,
(AO)babasalire omusango ogwabawandiikirwa.
    Kino kye kitiibwa ky’abatukuvu be bonna.

Mutendereze Mukama.

Ezeekyeri 37:1-14

Ekiwonvu eky’Amagumba Amakalu

37 (A)Omukono gwa Mukama gwali ku nze, Mwoyo wa Mukama n’anfulumya, n’andeeta wakati mu kiwonvu ekyali kijjudde amagumba. N’agannaambuza, ne ndaba amagumba mangi, amakalu ennyo wansi mu kiwonvu. (B)N’ambuuza nti, “Omwana w’omuntu, amagumba gano gayinza okuba amalamu?”

Ne nziramu nti, “Ggwe Ayi Mukama Katonda, ggwe wekka gw’omanyi.”

(C)Awo n’aŋŋamba nti, “Wa obunnabbi ku magumba gano, oyogere nti, ‘Mmwe amagumba amakalu, muwulire ekigambo kya Mukama! (D)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda eri amagumba gano nti, Laba ndibateekamu omukka ne mufuuka abalamu. (E)Ndibateekako ebinywa n’ennyama ne mbabikkako n’olususu; ndibateekamu omukka, ne mufuuka abalamu. Olwo mulimanya nga nze Mukama.’ ”

Awo ne njogera nga bwe nalagirwa. Awo bwe nnali nga njogera, ne waba eddoboozi, ng’ebintu ebikubagana, amagumba ne geegatta, buli limu ku linnaalyo. Ne ntunula, ebinywa n’ennyama ne birabika ku go, n’olususu ne luddako, naye temwali mukka. (F)Awo n’aŋŋamba nti, “Wa obunnabbi eri omukka; yogera omwana w’omuntu, ogambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ggwe omukka vva eri empewo ennya, oyingire mu battibwa, babe balamu.’ ” 10 (G)Ne mpa obunnabbi nga bwe yandagira, omukka ne gubayingiramu ne balamuka, ne bayimirira, era ne baba eggye ddene nnyo.

11 (H)Awo n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, amagumba gano ye nnyumba yonna eya Isirayiri. Boogera nti, ‘Amagumba gaffe gaakala era n’essuubi lyaffe lyaggwaawo, twasalibwako.’ 12 (I)Kyonoova owa obunnabbi gye bali n’oyogera nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Mmwe abantu bange, ndyasamya amalaalo gammwe ne mbazuukiza, era ndibakomyawo mu nsi ya Isirayiri. 13 Kale mulimanya nga nze Mukama, era nga nammwe muli bantu bange, bwe ndyasamya amalaalo gammwe ne mbazuukiza. 14 (J)Ndibateekamu Omwoyo wange era muliba balamu; ndibateeka mu nsi yammwe mmwe ne mutuula omwo, mulyoke mumanye nga nze Mukama nkyogedde, era nkikoze, bw’ayogera Mukama Katonda.’ ”

Ebikolwa by’Abatume 3:11-26

Okwogera kwa Peetero mu Yeekaalu

11 (A)Awo omusajja eyali omulema bwe yali ng’akyekutte ku Peetero ne Yokaana abantu bonna ne badduka okujja we baali ne bakuŋŋaanira mu kisasi kya Sulemaani, nga basamaaliridde. 12 Awo Peetero bwe yabalaba n’agamba abantu nti, “Abasajja Abayisirayiri, kiki ekibeewuunyisa? Era lwaki mututunuulira ng’abagamba nti obulungi bwaffe n’obuyinza bwaffe bye bitambuzza omusajja ono? 13 (B)Katonda wa Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo, era Katonda wa bajjajjaffe ffenna yagulumiza omuweereza we Yesu, gwe mwawaayo ne mu mwegaanira mu maaso ga Piraato newaakubadde nga ye yali amaliridde okumusumulula, 14 (C)naye mmwe ne mwegaana omutuukirivu era omutukuvu, ne musaba babateere omutemu. 15 (D)Bwe mutyo ne mutta aleeta obulamu; oyo ye Katonda yamuzuukiza mu bafu, era ffe bajulirwa. 16 Olw’okukkiriza mu linnya lye, omusajja ono, mwenna gwe mulaba era gwe mumanyi aweereddwa amaanyi mu linnya lye, era okukkiriza mu ye kwe kuwadde omusajja ono obulamu obutuukiridde nga mwenna bwe mulaba.

17 (E)“Kale kaakano, abooluganda, mmanyi nga kye mwakola mwakikola mu butamanya, era n’abakulembeze bammwe nabo bwe batyo. 18 (F)Kyokka Katonda yali atuukiriza ebyo bannabbi bonna bye baayogera nti Kristo we ateekwa okubonaabona mu ngeri eyo. 19 (G)Noolwekyo mwenenye, mukyuke, mulyoke mugibweko ebibi byammwe, 20 mulyoke muwummulire mu maaso ga Mukama, naye abaweereze Yesu, ye Kristo eyalangirirwa gye muli edda, 21 (H)eyagwanyizibwa okutwalibwa mu ggulu okutuusa ekiseera nga kituuse ebintu byonna ne bizzibwa obuggya Katonda bye yayogerera edda mu bannabbi be abatukuvu. 22 (I)Weewaawo Musa yagamba nti, ‘Mukama Katonda wammwe alibayimusiza nnabbi ali nga nze, gw’aliggya mu baganda bammwe. Muwulirizanga buli ky’alibagamba. 23 (J)Ataliwuliriza nnabbi oyo abantu balimuzikiririza ddala.’

24 (K)“Ne bannabbi bonna okuviira ddala ku Samwiri n’abo abaamuddirira bonna abaayogera nabo baalangirira olunaku luno. 25 (L)Mmwe bazzukulu ba bannabbi abo, era ab’endagaano Katonda gye yalagaana ne bajjajjammwe ng’agamba Ibulayimu nti, ‘Mu zzadde lyo abantu bonna ab’oku nsi mwe baliweerwa omukisa.’ 26 (M)Bw’atyo Katonda bwe yalondawo okubatumira Omuweereza we abawe omukisa, buli omu ku mmwe ng’akyuka okuva mu bibi bye.”

Yokaana 15:12-27

12 (A)Kye mbalagira kye kino nti mwagalanenga nga Nze bwe mbaagala. 13 (B)Tewali kwagala kusinga okw’omuntu awaayo obulamu bwe olwa mikwano gye. 14 (C)Muba mikwano gyange bwe mukola bye mbalagira. 15 (D)Olwo nga sikyabayita baddu, kubanga omuddu tamanya bifa ku mukama we. Kaakano mmwe muli mikwano gyange, kubanga mbategeezezza byonna Kitange bye yaŋŋamba. 16 (E)Si mmwe mwannonda! Wabula Nze nabalonda, mulyoke mubale ebibala ate ebibala eby’olubeerera. Olwo buli kye munaasabanga Kitange mu linnya lyange anaakibawanga. 17 (F)Kye mbalagira kye kino nti mwagalanenga.

18 (G)“Ensi bw’ebakyawanga mumanye nti yasooka kukyawa nze. 19 (H)Singa mubadde ba nsi, yandibaagadde, naye temuli ba nsi, kubanga nabalonda muve mu nsi, kyeva ebakyawa. 20 (I)Mujjukire kye nabagamba nti, ‘Omuddu tasinga mukama we.’ Kale obanga Nze banjigganya era nammwe bagenda kubayigganyanga. Era obanga baagondera ebigambo byange n’ebyammwe balibigondera. 21 (J)Ebyo byonna balibibakola ku lw’erinnya lyange, kubanga eyantuma tebamumanyi. 22 (K)Singa sajja ne njogera nabo tebandibadde na musango. Naye kaakano tebalina kya kwewolereza olw’ekibi kyabwe. 23 Buli ankyawa aba akyawa ne Kitange. 24 (L)Singa saakola mirimu egitaakolebwa muntu yenna mu bo tebandibaddeko musango. Naye kaakano balabye emirimu egyo, n’okutukyawa ne batukyawa, Nze ne Kitange. 25 (M)Ekyawandiikibwa ne kiryoka kituukirira ekigamba nti, ‘Bankyayira bwereere.’

26 (N)“Kyokka mmwe ndibatumira Omubeezi okuva eri Kitange, Omwoyo ow’amazima ava eri Kitange era alibategeeza buli ekinfaako. 27 (O)Era nammwe mulinjulira, kubanga mubadde nange okuva ku lubereberye.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.