Book of Common Prayer
Zabbuli ya Dawudi.
26 (A)Onnejjeereze, Ayi Mukama,
kubanga obulamu bwange tebuliiko kya kunenyezebwa;
nneesiga ggwe, Ayi Mukama,
nga sibuusabuusa.
2 (B)Neetegereza, Ayi Mukama, ongezese;
weekalirize ebiri mu mutima gwange ne mu mmeeme yange.
3 (C)Kubanga okwagala kwo kwe kunkulembera,
era mu mazima go mwe ntambulira.
4 (D)Situula na bantu balimba,
so siteesaganya na bakuusa.
5 (E)Nkyawa ekibiina ky’aboonoonyi;
so situula na bakozi ba bibi.
6 (F)Naaba mu ngalo zange okulaga nga bwe sirina misango;[a]
ne ndyoka nzija ku Kyoto kyo, Ayi Mukama;
7 (G)ne nnyimba oluyimba olw’okwebaza,
olwogera ku bikolwa byo ebyewuunyisa.
8 (H)Ennyumba yo mw’obeera njagala, Ayi Mukama,
kye kifo ekijjudde ekitiibwa kyo.
9 (I)Tombalira mu boonoonyi,
wadde mu batemu,
10 (J)abakozesa emikono gyabwe okutegeka ebikolwa ebibi,
era abali b’enguzi.
11 (K)Naye nze ntambula nga siriiko kye nnenyezebwa;
nkwatirwa ekisa, Ayi Mukama, ondokole.
12 (L)Nnyimiridde watereevu.
Nnaatenderezanga Mukama mu kibiina ky’abantu ekinene.
Zabbuli ya Dawudi.
28 (A)Nkukoowoola ggwe, Ayi Mukama, Olwazi lwange,
tolema kumpuliriza;
kubanga bw’onoonsiriikirira
nzija kuba nga bali abakkirira mu kinnya.
2 (B)Owulire eddoboozi ery’okwegayirira kwange,
nga mpanise emikono gyange
okwolekera ekifo kyo ekisinga byonna obutukuvu,
nga nkukaabirira okunnyamba.
3 (C)Tontwalira mu boonoonyi,
abakola ebibi;
abanyumya obulungi ne bannaabwe,
so ng’emitima gyabwe gijjudde bukyayi bwerere.
4 (D)Basasule ng’ebikolwa byabwe bwe biri,
n’olw’ebyambyone bye bakoze.
Basasule olwa byonna emikono gyabwe gye bisobezza,
obabonereze nga bwe basaanidde.
5 (E)Olwokubanga tebafaayo ku mirimu gya Mukama,
oba ku ebyo bye yakola n’emikono gye,
alibazikiririza ddala,
era talibaddiramu.
6 Atenderezebwe Mukama,
kubanga awulidde eddoboozi ly’okwegayirira kwange.
7 (F)Mukama ge maanyi gange,
era ye ngabo yange, ye gwe neesiga.
Bwe ntyo ne nyambibwa.
Omutima gwange gunaajaguzanga, ne mmuyimbira ennyimba ez’okumwebazanga.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
36 (A)Nnina obubaka mu mutima gwange
obukwata ku bwonoonyi bw’omukozi w’ebibi.
N’okutya
tatya Katonda.
2 Ye nga bw’alaba yeewaanawaana n’atasobola kutegeera
oba okukyawa ekibi kye.
3 (B)Ebigambo ebiva mu kamwa ke biba bibi era nga bya bulimba;
takyalina magezi era takyakola birungi.
4 (C)Ne ku kitanda kye afumiitiriza ebibi by’anaakola;
amalirira okutambuliranga mu kkubo ekyamu,
era ebitali bituufu tabyewala.
5 Okwagala kwo, Ayi Mukama, kutuuka ne ku ggulu;
obwesigwa bwo butuuka ku bire.
6 (D)Obutuukirivu bwo bugulumivu ng’agasozi aganene,
n’obwenkanya bwo buwanvu nnyo ng’ennyanja ennene ennyo.
Ayi Mukama, olabirira abantu n’ebisolo.
7 (E)Okwagala kwo okutaggwaawo nga tekugeraageranyizika.
Ab’ebitiibwa n’abatali ba bitiibwa
baddukira mu biwaawaatiro byo.
8 (F)Balya ku bingi eby’omu nnyumba yo ne bakkuta;
obawa ebyokunywa by’omugga gwo ogwesiimisa.
9 (G)Kubanga gw’olina ensulo ey’obulamu,
era gw’otwakiza omusana.
10 Yongeranga okwagala abo abakutegeera,
era n’obutuukirivu bwo eri abo abalina emitima emirongoofu.
11 Ab’amalala baleme okunninnyirira,
wadde ababi okunsindiikiriza.
12 (H)Laba, ababi nga bwe bagudde!
Basuuliddwa wansi era tebasobola na ku golokokawo.
Ya Mukulu wa Bayimbi: Ya Yedusuni. Zabbuli ya Dawudi.
39 (A)Nagamba nti, “Nneekuumanga mu bye nkola,
n’olulimi lwange lulemenga okwogera ebitali birongoofu.
Abakola ebitali bya butuukirivu bwe banaabanga awamu nange
nnaabuniranga bubunizi ne soogera.”
2 (B)Naye bwe nasirika
ne sibaako kye njogedde wadde ekirungi,
ate obuyinike bwange ne bweyongera.
3 Omutima gwange ne gumbabuukirira munda yange.
Bwe nnali nkyakifumiitirizaako, omuliro ne gukoleera munda yange;
kyenava njogera nti:
4 (C)“Ayi Mukama, ntegeeza entuuko zange nga bwe ziriba,
n’ennaku ze nsigazza;
ommanyise ebiseera byange mu bulamu buno bwe biri ebimpi ennyo.”
5 (D)Ennaku z’obulamu bwange wazitegeka ziri ng’oluta.
Obungi bw’emyaka gyange tobulabamu kantu.
Buli muntu, mukka bukka.
6 (E)Ddala ddala omuntu ku nsi ali ng’ekisiikirize.
Atawaana mu kino ne mu kiri, naye byonna butaliimu.
Akuŋŋaanya obugagga, so nga tamanyi agenda kubutwala.
7 (F)Naye kaakano, Ayi Mukama, nnoonya ki? Essuubi lyange liri mu ggwe.
8 (G)Ondokole mu bibi byange byonna,
abasirusiru baleme okunsekerera.
9 (H)Nasirika busirisi, saayasamya kamwa kange;
kubanga kino ggwe wakikola.
10 (I)Olekere awo okunkuba,
emiggo gy’onkubye giyitiridde!
11 (J)Onenya omuntu ng’omukangavvula olw’ekibi kye ky’akola,
omumaliramu ddala ensa, ng’ennyenje bw’ekola olugoye.
Ddala omuntu mukka bukka.
Ekirooto Kituukirira
28 (A)Ebyo byonna byatuukirira ku Kabaka Nebukadduneeza. 29 Bwe wayitawo emyezi kkumi n’ebiri, kabaka yali atambulira ku kasolya k’olubiri lwe olwa Babulooni, 30 (B)n’ayogera nti, “Ono si ye Babulooni omukulu gwe nazimba n’amaanyi gange amangi okuba ekibuga ekikulu eky’ekitiibwa eky’obwakabaka bwange?”
31 Awo bwe yali ng’akyayogera, eddoboozi ne liva mu ggulu nga ligamba nti, “Kuno kwe kulangirira okukukwatako Kabaka Nebukadduneeza: obwakabaka bwo bukuggyiddwako. 32 Oligobebwa mu bantu era olibeera n’ensolo okumala emyaka musanvu okutuusa lw’olitegeera ng’Oyo Ali Waggulu ennyo y’afuga obwakabaka obw’abantu era abuwa buli gw’asiima.”
33 (C)Amangwago ebyayogerwa ku Nebukadduneeza ne bituukirira. N’agobebwa mu bantu era n’alya omuddo ng’ente. Omubiri gwe ne gutoba omusulo ogw’omu ggulu okutuusa enviiri ze lwe zaakula ng’ebyoya by’empungu n’enjala ze ng’enjala z’ennyonyi.
34 (D)Oluvannyuma lw’ebbanga eryo, nze, Nebukadduneeza, ne nnyimusa amaaso gange eri eggulu, amagezi gange ne gakomawo. Ne ntendereza Oyo Ali Waggulu Ennyo, ne muwa ekitiibwa ne mugulumiza oyo abeera omulamu emirembe n’emirembe.
Okufuga kwe tekuliggwaawo,
n’obwakabaka bwe bwa mirembe na mirembe.
35 (E)Abantu bonna ab’oku nsi
abalaba nga si kintu,
eggye ery’omu ggulu
n’abantu ab’oku nsi
abayisa nga bw’asiima.
Tewali ayinza okumuziyiza,
newaakubadde okumubuuza nti, “Okola ki?”
36 (F)Mu kiseera kyekimu okutegeera kwange ne kukomawo, n’ekitiibwa n’obuyinza obw’obwakabaka bwange ne bunzirira. Abawi b’amagezi bange n’abakungu bange ne bannoonya, ne banziriza entebe yange ey’obwakabaka ne nnyongerwako obukulu bungi okusinga ne bwe nalina. 37 (G)Kale nze Nebukadduneeza kyennaava mmutendereza era ne mmuwa ekitiibwa ne mmugulumiza Kabaka ow’eggulu, kubanga emirimu gye gyonna gya mazima n’amakubo ge ga nsonga, n’abo ab’amalala abakkakkanya.
7 (A)Abaagalwa, twagalanenga, kubanga okwagala kuva eri Katonda, era buli alina okwagala mwana wa Katonda, era amanyi Katonda. 8 (B)Naye buli atalina kwagala tamanyi Katonda, kubanga Katonda kwagala. 9 (C)Katonda yatulaga okwagala kwe, bwe yatuma mu nsi Omwana we omu yekka bw’ati, tulyoke tube abalamu ku bw’oyo. 10 (D)Mu kino mwe tutegeerera ddala okwagala kwennyini, kubanga teyakikola lwa kuba nti ffe twali twagala Katonda, naye ye yennyini ye yatwagala, n’awaayo Omwana we ng’omutango olw’ebibi byaffe. 11 (E)Kale abaagalwa, nga Katonda bwe yatwagala bw’atyo naffe tuteekwa okwagalananga. 12 (F)Tewali n’omu eyali alabye ku Katonda, naye bwe twagalana, Katonda abeera mu ffe, n’okwagala kwe ne kulabikira mu ffe. 13 (G)Mu ekyo mwe tutegeerera nti Katonda ali mu ffe era naffe tuli mu Ye, olwa Mwoyo gw’atuwadde. 14 (H)Era ffe twamulaba n’amaaso gaffe, kyetuva tutegeeza nti Kitaffe yatuma Omwana we okuba Omulokozi w’ensi.
15 (I)Kale buli ayatula nti Yesu Mwana wa Katonda, nga Katonda ali mu ye era nga naye ali mu Katonda. 16 (J)Ffe tumanyi okwagala kwa Katonda era tukkiririza mu kwagala kwe okwo kw’alina gye tuli.
Katonda kwagala, era buli abeera n’okwagala abeera mu Katonda, ne Katonda abeera mu ye. 17 (K)Bwe twagala bannaffe nga Kristo bwe yakola ng’ali mu nsi muno, tetulibaako kye tweraliikirira ku lunaku olw’okusalirako omusango. 18 (L)Mu kwagala temuliimu kutya, kubanga okwagala okutuukiridde kumalawo okutya; kubanga okutya kulimu okubonerezebwa, na buli atya, aba tannatuukirira mu kwagala.
19 (M)Tulina okwagala kubanga Ye ye yasooka okutwagala. 20 (N)Omuntu yenna bw’agamba nti, “Njagala Katonda,” naye n’akyawa muganda we, omuntu oyo mulimba. Kubanga buli atayagala muganda we gw’alabako, tasobola kwagala Katonda gw’atalabangako. 21 (O)Era Katonda yennyini yatulagira nti, “Buli ayagala Katonda ayagalenga ne muganda we.”
Yesu Agoba Dayimooni
31 (A)Awo Yesu n’alaga e Kaperunawumu, ekibuga eky’e Ggaliraaya n’abayigirizanga ku nnaku eza Ssabbiiti. 32 (B)Ne beewuunya nnyo okuyigiriza kwe. Kubanga yayogeranga nga nnannyini buyinza.
33 Mu kkuŋŋaaniro, mwalimu omusajja eyaliko ddayimooni n’atandika okuwowoggana nti, 34 (C)“Woowe! Otulanga ki, ggwe Yesu ow’e Nazaaleesi? Ozze kutuzikiriza? Nze nkumanyi, ggwe mutukuvu wa Katonda.”
35 (D)Yesu n’amuboggolera ng’agamba nti, “Sirika! Muveeko!” Awo dayimooni n’asuula eri omusajja wansi wakati mu bantu, n’amuvaako nga tamulumizza.
36 (E)Buli muntu n’atya nnyo nga bwe beebuuzaganya nti, “Kigambo ki kino? Kubanga alagira n’obuyinza n’amaanyi emyoyo emibi ne giva mu muntu, ekireetera ne dayimooni okumugondera.” 37 (F)Amawulire agakwata ku Yesu ne gabuna mu kitundu ekyo kyonna ekyetoolodde awo.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.