Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 119:1-24

א Alefu

119 (A)Balina omukisa abo abatambulira mu butuukirivu;
    abatambulira mu mateeka ga Mukama.
(B)Balina omukisa abo abagondera ebiragiro bye,
    era abanoonya Mukama n’omutima gwabwe gwonna.
(C)Abo abatasobya, era abatambulira mu makubo ge.
Ggwe wateekawo ebiragiro byo;
    n’olagira bigonderwenga n’obwegendereza bungi.
Ayi Mukama, nsaba mbeerenga munywevu bulijjo;
    nga nkuuma bye walagira.
Bwe ntyo siriswazibwa, amaaso gange nga
    ngasimbye ku ebyo bye walagira byonna.
Nga njiga ebiragiro byo ebitukuvu,
    nnaakutenderezanga n’omutima omulungi.
Nnaakwatanga amateeka go;
    Ayi Mukama, tonsuulira ddala.

ב Bessi

(D)Omuvubuka anaakuumanga atya ekkubo lye nga ttereevu?
    Anaalikuumanga ng’agoberera ekigambo kyo nga bwe kiri.
10 (E)Nkunoonya n’omutima gwange gwonna;
    tonzikiriza kuva ku mateeka go.
11 (F)Ntadde ekigambo kyo mu mutima gwange;
    ndyoke nneme okwonoona.
12 (G)Ogulumizibwe, Ayi Mukama;
    onjigirize amateeka go.
13 (H)Njatula n’akamwa kange
    amateeka go gonna ge walagira.
14 Nsanyukira okugondera ebiragiro byo,
    ng’asanyukira eby’obugagga.
15 (I)Nnaafumiitirizanga ku biragiro byo,
    ne nzisaayo omwoyo ku makubo go.
16 (J)Nnaasanyukiranga amateeka go,
    era siigeerabirenga.

ג Gimero

17 (K)Omuddu wo omukolere ebirungi, mbe omulamu,
    ngobererenga ekigambo kyo.
18 Ozibule amaaso gange, nsobole okulaba
    eby’ekitalo ebiri mu mateeka go.
19 (L)Nze ndi muyise ku nsi;
    tonkisa bye walagira.
20 (M)Bulijjo emmeeme yange
    eyaayaanira amateeka go.
21 (N)Onenya ab’amalala, abaakolimirwa,
    abaleka amateeka go.
22 (O)Mponya okuduula kwabwe n’okunyooma kwabwe;
    kubanga bye walagira mbigondera.
23 Newaakubadde ng’abalangira bansalira enkwe;
    naye nze, omuweereza wo, nnaafumiitirizanga ku biragiro byo.
24 Amateeka go lye ssanyu lyange,
    era ge gannuŋŋamya.

Zabbuli 12-14

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

12 (A)Tuyambe, Ayi Mukama, kubanga tewakyali n’omu amanyi Katonda;
    abantu abeesigwa bonna baweddewo.
(B)Buli muntu alimba munne;
    akamwa kaabwe akawaana koogera bya bulimba.

(C)Mukama, osirise akamwa k’abo bonna abeewaanawaana,
    na buli lulimi olwenyumiriza;
nga boogera nti, “Tujja kuwangula n’olulimi lwaffe, era tufune byonna bye twetaaga n’akamwa kaffe,
    kubanga ani alitukuba ku mukono.”

(D)Mukama ayogera nti, “Olw’okujoogebwa kw’abanafu,
    n’olw’okusinda kw’abali mu bwetaavu,
nnaasituka kaakano
    ne nnwanirira abo abalumbibwa.”
(E)Ebigambo bya Mukama bya bwesigwa era bya mazima.
    Bigeraageranyizibwa n’effeeza
    erongoosebbwa obulungi emirundi musanvu mu kyoto eky’ebbumba.

(F)Ayi Mukama, tukwesiga ng’onootukuumanga,
    n’otuwonya abantu abali ng’abo emirembe gyonna.
(G)Ababi beeyisaayisa
    nga bagulumiza ebitaliimu nsa.

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

13 (H)Olinneerabira kutuusa ddi, Ayi Mukama? Okutuusa emirembe gyonna?
    Olikomya ddi okunkweka amaaso go?
(I)Okulumwa mu mmeeme yange kulikoma ddi,
    n’okunyolwa okwa buli lunaku mu mutima gwange kuliggwaamu ddi?
    Abalabe bange balikomya ddi okumpangulanga nga beegulumiza?

(J)Onnyanukule, Ayi Mukama Katonda wange;
    onzizeemu amaanyi nneme okufa.
(K)Si kulwa ng’omulabe wange yeewaana nti, “Mmuwangudde;”
    abalabe bange ne bajaguza nga ngudde.

(L)Naye nze neesiga okwagala kwo okutajjulukuka;
    era omutima gwange gunaasanyukiranga mu bulokozi bwo.
(M)Nnaayimbiranga Mukama,
    kubanga ankoledde ebirungi.

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

14 (N)Omusirusiru ayogera mu mutima gwe nti,
    “Tewali Katonda.”
Aboogera bwe batyo boonoonefu,
    bakola ebitasaana tekuli n’omu ku bo akola kirungi.

(O)Mukama atunuulira abantu bonna mu nsi
    ng’asinziira mu ggulu,
okulaba obanga mulimu mu bo ategeera,
    era abanoonya Katonda.
(P)Naye bonna bakyamye
    boonoonese;
teri akola kirungi,
    era teri n’omu.

(Q)Abo bonna abakola ebibi tebaliyiga?
    Kubanga basaanyaawo abantu bange ng’abalya emmere;
    so tebakoowoola Mukama.
Balitya nnyo!
    Kubanga Katonda abeera wamu n’abatuukirivu.
(R)Mulemesa entegeka z’omwavu,
    songa Mukama kye kiddukiro kye.

(S)Singa obulokozi bwa Isirayiri butuuse mu kiseera kino nga buva mu Sayuuni!
    Mukama bw’alirokola abantu be,
    Yakobo alijaguza ne Isirayiri alisanyuka.

Danyeri 2:17-30

17 (A)Awo Danyeri n’addayo ewuwe, n’ategeeza mikwano gye Kananiya, ne Misayeri ne Azaliya, 18 (B)n’abagamba basabe Katonda ow’eggulu abalage ekisa ababikkulire amakulu ag’ekyama ekyo, ye ne banne baleme kuzikirizibwa wamu n’abagezigezi abalala ab’e Babulooni. 19 (C)Mu kiro ekyo Danyeri n’afuna okwolesebwa ku kigambo ekyo, n’atendereza Katonda ow’eggulu. 20 (D)N’ayogera nti,

“Erinnya lya Katonda litenderezebwenga emirembe n’emirembe,
    kubanga amagezi n’obuyinza bibye.
21 (E)Ategeera ebiseera n’ebiro;
    assaawo bakabaka era aggyawo bakabaka;
awa amagezi abagezigezi,
    era n’okumanyisa abo abategeevu.
22 (F)Abikkula ebyama ebyakisibwa edda;
    amanyi ebifa mu nzikiza,
    n’ekitangaala kibeera naye.
23 (G)Nkwebaza era nkutendereza, Ayi Katonda wa bajjajjange
    ompadde amagezi n’amaanyi,
ombikkulidde ekyo kye twakusabye,
    otutegeezezza ekirooto kya kabaka.”

Danyeri Ategeeza Amakulu ag’Ekirooto

24 (H)Awo Danyeri n’alaga eri Aliyooki, kabaka gwe yali alonze okuzikiriza abasajja abagezigezi aba Babulooni, n’amugamba nti, “Tozikiriza basajja bagezigezi ba Babulooni. Ntwala eri kabaka mmutegeeze amakulu g’ekirooto kye.”

25 (I)Amangwago, Aliyooki n’atwala Danyeri eri kabaka, n’ategeeza kabaka nti, “Nsanze omusajja, omu ku baawaŋŋangusibwa okuva mu Yuda, asobola okutegeeza kabaka amakulu g’ekirooto kye.”

26 (J)Kabaka n’abuuza Danyeri eyayitibwanga Berutesazza nti, “Oyinza okuntegeeza ekirooto kye nalabye, n’amakulu gaakyo?”

27 (K)Danyeri n’addamu kabaka nti, “Tewali muntu mugezigezi, newaakubadde omufumu, newaakubadde omulaguzi, newaakubadde omulogo asobola okutegeeza kabaka ekigambo kye yasabye. 28 (L)Waliwo Katonda ow’omu ggulu annyonnyola abantu ebitategeerekeka. Abikkulidde Kabaka Nebukadduneeza ebigenda okubaawo mu nnaku ez’enkomerero. Ekirooto n’okwolesebwa bye wafuna nga weebase bye bino.

29 “Bwe wali ng’ogalamidde mu kitanda kyo, ayi kabaka omutima gwo ne gutandika okulowooza ku bintu ebiribaawo, era oyo abikkula ebigambo ebitategeerekeka bantu abaabulijjo, yakulaze ebigenda okubaawo. 30 (M)Naye ekigambo kino ekitategeerekeka bantu abaabulijjo kimbikkuliddwa, si lwa kuba nga ndi mugezi okusinga abantu abalala bonna, naye nkifunye bwe ntyo, kabaka ategeere amakulu gaakyo, era otegeere ebirowoozo bye wafuna mu mutima gwo.

1 Yokaana 2:12-17

12 Baana bange abaagalwa,
    mbawandiikidde kubanga musonyiyiddwa ebibi byammwe olw’erinnya lye.
13 (A)Era nammwe abakulu, mbawandiikidde
    kubanga mwamutegeera okuva ku lubereberye.
Nammwe abavubuka, mbawandiikidde
    kubanga muwangudde omubi.
Mmwe abaana abaagalwa bawandiikidde,
    kubanga mutegedde Kitaffe.

14 (B)Mbawandiikidde mmwe abakulu
    kubanga mutegedde oyo eyabaawo okuva ku lubereberye.
Mbawandiikidde mmwe abavubuka
    kubanga muli ba maanyi
    era n’ekigambo kya Katonda kibeera mu mmwe,
    era muwangudde omubi.

Temwagalanga Nsi

15 (C)Temwagalanga nsi, wadde eby’ensi. Kubanga omuntu yenna ayagala ensi taliimu kwagala kwa Kitaffe. 16 (D)Kubanga buli eky’ensi: okwegomba kw’omubiri, n’okwegomba kw’amaaso, n’okwekuluntaza okw’obulamu, si bya Kitaffe, naye bya nsi. 17 (E)Ensi n’okwegomba kwayo byonna biggwaawo, naye buli akola Katonda by’ayagala abeerera emirembe gyonna.

Yokaana 17:20-26

Yesu Asabira Abakkiriza Bonna

20 “Sisabira bano bokka naye nsabira n’abo abanzikiriza olw’ekigambo kyabwe, 21 (A)bonna babeere bumu, nga ggwe Kitange bw’oli mu Nze, nange nga ndi mu ggwe, nabo babeerenga mu ffe, ensi eryoke ekkirize nga ggwe wantuma. 22 (B)Mbawadde ekitiibwa kye wampa, balyoke babeere bumu nga ffe bwe tuli obumu. 23 (C)Nze nga ndi mu bo, era naawe ng’oli mu Nze balyoke bafuukire ddala omuntu omu. Ensi eryoke etegeere nga ggwe wantuma era nti obaagala nga bw’onjagala.”

24 (D)“Kitange, bano be wampa njagala mbeere nabo we ndi balyoke bategeere ekitiibwa kyange kye wampa kubanga wanjagala, ng’ensi tennatondebwa.

25 (E)“Ayi Kitange Omutukuvu, ensi teyakumanya, kyokka Nze nkumanyi era n’abayigirizwa bano bamanyi nga ggwe wantuma. 26 (F)Era mbayigirizza ne bamanya erinnya lyo, era nzija kwongera okubamanyisa okwagala kwo kw’onjagala, kulyoke kubeerenga mu bo, era nange mbeere mu bo.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.