Book of Common Prayer
Oluyimba lwa Dawudi olw’okutendereza.
145 (A)Nnaakugulumizanga ggwe Katonda wange, era Kabaka wange;
era nnaatenderezanga erinnya lyo buli lunaku emirembe n’emirembe.
2 (B)Nnaakutenderezanga buli lunaku;
era nnaasuutanga erinnya lyo emirembe n’emirembe.
3 (C)Mukama mukulu, wa kitiibwa, era asaanira okutenderezebwanga ennyo,
n’obukulu bwe tebwogerekeka.
4 (D)Buli mulembe gunaatenderanga gunnaagwo ebikolwa byo,
era gunaatendanga emirimu gyo egy’amaanyi.
5 (E)Nnaatendanga obukulu n’obulungi bw’ekitiibwa kyo,
era nnaafumiitirizanga ku bikolwa byo ebyewuunyisa.
6 (F)Abantu banaatendanga amaanyi g’ebikolwa byo eby’ekitalo,
nange nnaatendanga obukulu bwo obw’ekitiibwa.
7 (G)Banaayogeranga ku bulungi bwo obw’ekitalo nga bajaguza;
era banaayimbanga olw’obutuukirivu bwo.
8 (H)Mukama wa kisa, ajudde okusaasira,
alwawo okusunguwala era ajudde okwagala okutaggwaawo.
9 (I)Mukama mulungi eri buli muntu,
era okusaasira kwe kubuna byonna bye yatonda.
10 (J)Byonna bye watonda binaakutenderezanga, Ayi Mukama;
n’abatukuvu bo banaakugulumizanga.
11 Banaayogeranga ku kitiibwa ky’obwakabaka bwo,
era banaatendanga amaanyi go.
12 (K)Balyoke bategeeze abantu bonna ebikolwa byo eby’amaanyi,
n’ekitiibwa ky’obukulu obw’obwakabaka bwo.
13 (L)Obwakabaka bwo, bwakabaka bwa lubeerera,
n’obufuzi bwo bwa mirembe na mirembe.
Mukama by’ayogera byonna bya bwesigwa,
n’ebikolwa bye bijjudde okusaasira.
14 (M)Mukama awanirira abo bonna abazitoowereddwa,
era ayimusa bonna abagwa.
15 (N)Amaaso g’abantu bonna gatunuulira ggwe, Ayi Mukama,
era bonna gw’obawa ebyokulya mu biseera byabyo.
16 (O)Oyanjuluza engalo zo,
ebiramu byonna n’obigabira bye byetaaga ne bikkuta.
17 Mukama mutuukirivu mu bikolwa bye byonna
era ayagala byonna bye yatonda.
18 (P)Mukama abeera kumpi n’abo bonna abamukoowoola;
abo bonna abamukoowoola mu mazima.
19 (Q)Abo bonna abamussaamu ekitiibwa abawa bye baagala,
era awulira okukaaba kwabwe n’abawonya.
20 (R)Mukama akuuma bonna abamwagala,
naye abakola ebibi alibazikiriza.
21 (S)Akamwa kange kanaatenderezanga Mukama,
era na buli kitonde kinaatenderezanga erinnya lye ettukuvu
emirembe n’emirembe.
104 (A)Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange.
Ayi Mukama Katonda wange, oli mukulu nnyo;
ojjudde obukulu n’ekitiibwa.
2 (B)Yeebika ekitangaala ng’ayeebikka ekyambalo
n’abamba eggulu ng’eweema,
3 (C)n’ateeka akasolya k’ebisulo bye eby’oku ntikko kungulu ku mazzi;
ebire abifuula amagaali ge,
ne yeebagala ebiwaawaatiro by’empewo.
4 (D)Afuula empewo ababaka be,
n’ennimi z’omuliro ogwaka abaweereza be.
5 (E)Yassaawo ensi ku misingi gyayo;
teyinza kunyeenyezebwa.
6 (F)Wagibikkako obuziba ng’ekyambalo;
amazzi ne gatumbiira okuyisa ensozi ennene.
7 (G)Bwe wagaboggolera ne gadduka;
bwe gaawulira okubwatuka kwo ne gaddukira ddala;
8 (H)gaakulukutira ku nsozi ennene,
ne gakkirira wansi mu biwonvu
mu bifo bye wagategekera.
9 Wagassizaawo ensalo ze gatasaana kusukka,
na kuddayo kubuutikira nsi.
10 (I)Alagira ensulo ne zisindika amazzi mu biwonvu;
ne gakulukutira wakati w’ensozi.
11 Ne ganywesa ebisolo byonna eby’omu nsiko;
n’endogoyi ne gazimalako ennyonta.
12 (J)Ebinyonyi eby’omu bbanga bizimba ebisu byabyo ku mabbali g’amazzi,
ne biyimbira mu matabi.
13 (K)Afukirira ensozi ennene ng’osinziira waggulu gy’obeera;
ensi n’ekkuta ebibala by’emirimu gyo.
14 (L)Olagira omuddo ne gukula okuliisa ente,
n’ebirime abantu bye balima,
balyoke bafune ebyokulya okuva mu ttaka.
15 (M)Ne wayini okusanyusa omutima gwe,
n’ebizigo okwesiiga awoomye endabika ye,
n’emmere okumuwa obulamu.
16 Emiti gya Mukama gifuna amazzi mangi;
gy’emivule gy’e Lebanooni gye yasimba.
17 (N)Omwo ebinyonyi mwe bizimba ebisu byabyo;
ne ssekanyolya asula mu miti omwo.
18 (O)Ku nsozi empanvu eyo embulabuzi ez’omu nsiko gye zibeera;
n’enjazi kye kiddukiro ky’obumyu.
19 (P)Wakola omwezi okutegeeza ebiro;
n’enjuba bw’egwa n’eraga olunaku.
20 (Q)Oleeta ekizikiza, ne buba ekiro;
olwo ebisolo byonna eby’omu bibira ne biryoka bivaayo.
21 (R)Empologoma ento zikaabira emmere gye zinaalya;
nga zinoonya ebyokulya okuva eri Katonda.
22 (S)Enjuba bw’evaayo ne zigenda, n’oluvannyuma
ne zikomawo ne zigalamira mu mpuku zaazo.
23 (T)Abantu ne bagenda ku mirimu gyabwe,
ne bakola okutuusa akawungeezi.
24 (U)Ayi Mukama, ebintu bye wakola nga bingi nnyo!
Byonna wabikola n’amagezi ag’ekitalo;
ensi ejjudde ebitonde byo.
25 (V)Waliwo ennyanja, nnene era ngazi,
ejjudde ebitonde ebitabalika,
ebintu ebirina obulamu ebinene era n’ebitono.
26 (W)Okwo amaato kwe gaseeyeeyera nga galaga eno n’eri;
ne galukwata ge wakola mwe gabeera okuzannyiranga omwo.
27 (X)Ebyo byonna bitunuulira ggwe
okubiwa emmere yaabyo ng’ekiseera kituuse.
28 (Y)Bw’ogibiwa,
nga bigikuŋŋaanya;
bw’oyanjuluza engalo zo n’obigabira ebintu ebirungi
ne bikkusibwa.
29 (Z)Bw’okweka amaaso go
ne byeraliikirira nnyo;
bw’obiggyamu omukka nga bifa,
nga biddayo mu nfuufu.
30 Bw’oweereza Omwoyo wo,
ne bifuna obulamu obuggya;
olwo ensi n’ogizza buggya.
31 (AA)Ekitiibwa kya Katonda kibeerengawo emirembe gyonna;
era Mukama asanyukirenga ebyo bye yakola.
32 (AB)Atunuulira ensi, n’ekankana;
bw’akwata ku nsozi ennene, ne zinyooka omukka.
33 (AC)Nnaayimbiranga Mukama obulamu bwange bwonna;
nnaayimbanga nga ntendereza Katonda wange ennaku zonna ze ndimala nga nkyali mulamu.
34 (AD)Ebirowoozo byange, nga nfumiitiriza, bimusanyusenga;
kubanga mu Mukama mwe neeyagalira.
35 (AE)Naye abakola ebibi baggweewo ku nsi;
aboonoonyi baleme kulabikirako ddala.
Weebaze Mukama, gwe emmeeme yange.
Mumutenderezenga Mukama.
25 (A)Ggwe, Ayi Mukama, gwe Katonda wange;
ndikugulumiza ne ntendereza erinnya lyo,
kubanga okoze ebintu eby’ettendo,
ebintu bye wateekateeka edda,
mu bwesigwa bwo.
2 (B)Ekibuga okifudde ntuumu ya bisasiro,
ekibuga ekiriko ekigo okifudde matongo,
ekibuga omwaddukiranga bannaggwanga tekikyali kibuga,
tekirizimbibwa nate.
3 (C)Abantu ab’amaanyi kyebaliva bakussaamu ekitiibwa
n’ebibuga eby’amawanga ag’entiisa birikutya.
4 (D)Ddala obadde kiddukiro eri abaavu,
ekiddukiro eri oyo eyeetaaga,
ekiddukiro ng’eriyo embuyaga
n’ekisiikirize awali ebbugumu.
Omukka gw’ab’entiisa
guli ng’embuyaga ekuntira ku kisenge
5 (E)era ng’ebbugumu ery’omu ddungu.
Osirisa oluyoogaano lw’abannaggwanga,
era ng’ekisiikirize eky’ekire bwe kikendeeza ebbugumu,
n’oluyimba lw’abakambwe bwe lusirisibwa.
6 (F)Ku lusozi luno Mukama Katonda ow’Eggye aliteekerateekerako
abantu bonna ekijjulo eky’emmere ennungi,
n’embaga eya wayini omuka
n’ennyama esingayo obulungi, ne wayini asinga obulungi.
7 (G)Ku lusozi luno alizikiriza
ekibikka ekyetoolodde abantu bonna,
n’eggigi eribikka amawanga gonna,
8 (H)era alimalirawo ddala okufa.
Mukama Katonda alisangula amaziga
mu maaso gonna,
era aliggyawo okuswazibwa kw’abantu be
mu nsi yonna.
Mukama ayogedde.
9 (I)Mu biro ebyo balyogera nti,
“Eky’amazima oyo ye Katonda waffe;
twamwesiga n’atulokola.
Ono ye Mukama Katonda twamwesiga;
tusanyukire mu bulokozi bwe, era tumujagulizeemu.”
13 (A)Awo ab’Olukiiko bwe baalaba obuvumu bwa Peetero ne Yokaana, ate n’okutegeera ne bategeera nga tebaasoma, era nga si batendeke, ne beewuunya nnyo, ne bategeera ng’abasajja abo baabeeranga ne Yesu. 14 Era bwe baalaba omusajja eyawonyezebwa ng’ayimiridde nabo, n’eky’okubaddamu ne kibabula. 15 (B)Ne babalagira okugira nga babeera wabweru Olukiiko lubakubaganyeko ebirowoozo. 16 (C)Ab’olukiiko ne beebuuzaganya nti, “Abasajja bano tubakole tutya? Kubanga tetuyinza kwegaana ekyamagero eky’amaanyi ekikoleddwa mu bo; buli muntu yenna mu Yerusaalemi akitegedde. 17 Naye engeri gye tunaaziyizaamu ebigambo byabwe okwongera okusaasaana kwe kubalabula n’amaanyi baleme kuddayo kwogera na muntu yenna ku linnya lya Yesu.”
18 (D)Ne babayita bakomewo mu Lukiiko, ne babalagira baleme kuddayo nate kwogera ku linnya lya Yesu. 19 (E)Naye Peetero ne Yokaana ne baddamu nti, “Mmwe muba musalawo obanga kituufu mu maaso ga Katonda okuwulira mmwe okusinga okuwulira Katonda. 20 Tetuyinza butayogera ku bintu bye twalaba, n’ebigambo bye twawulira.”
21 (F)Awo Olukiiko bwe lwamala okwongera okubatiisatiisa ne lubaleka ne bagenda, kubanga baabulwa kwe banaasinziira okubabonereza ne batasasamaza bantu. Kubanga abantu bonna baali bagulumiza Katonda olw’ekyo ekyabaawo. 22 Omusajja eyawonyezebwa yali assussa mu myaka amakumi ana.
Okusaba kw’Abakkiriza
23 Awo Peetero ne Yokaana bwe baateebwa ne baddayo eri bannaabwe ne bababuulira byonna bakabona abakulu n’abakulembeze b’Abayudaaya bye baabagamba. 24 Bonna bwe baabiwulira ne bayimusiza wamu amaloboozi gaabwe n’omwoyo gumu eri Katonda ne basaba nti, “Ayi Mukama, Omutonzi w’eggulu n’ensi n’ennyanja ne byonna ebibirimu, 25 (G)ggwe Kitaffe wayogerera ku bwa Mwoyo Mutukuvu mu kamwa k’omuweereza wo, Dawudi bwe yagamba nti:
“ ‘Lwaki Abaamawanga banyiigidde,
n’abantu ne balowooza ebitaliimu?
26 (H)Bakabaka b’ensi
n’abakulembeze,
beegatta okulwanyisa Mukama
n’okulwanyisa Kristo we.’
27 (I)Kubanga baakuŋŋaanira mu kibuga. Kerode ne Pontiyo Piraato, awamu n’Abamawanga, n’Abayisirayiri, beegatta okulwanyisa Omuweereza wo Omutukuvu Yesu gwe wafukako amafuta, 28 (J)ne bakola ebyo omukono gwo n’okuteesa kwo bye kwateekateeka edda okubaawo. 29 (K)Ne kaakano, Ayi Mukama, wulira okutiisatiisa kwabwe; owe abaddu bo obuvumu babuulire ekigambo kyo, 30 (L)golola omukono gwo owonye, n’obubonero n’ebyamagero bikolebwenga mu linnya ly’Omuweereza wo Omutukuvu Yesu.”
31 (M)Awo bwe baamala okusaba, ekifo mwe baali bakuŋŋaanidde ne kinyeenyezebwa, bonna ne bajjuzibwa Mwoyo Mutukuvu ne babuulira ekigambo kya Katonda n’obuvumu.
16 (A)Mu bbanga ttono munaaba temukyandaba, ate wanaayitawo ebbanga ttono ne mundaba!”
17 (B)Abamu ku bayigirizwa be ne beebuzaganya nti, “Kiki ekyo ky’agamba nti, ‘Mu bbanga ttono temuliddayo kundaba, ate mu bbanga ttono munandaba,’ era nti, ‘Kubanga ŋŋenda eri Kitange?’ ” 18 Ne beeyongera okwebuuza nti, “Kiki ekyo ky’agamba nti, ‘Ebbanga ttono?’ Tetutegeera ky’agamba.”
19 Yesu bwe yamanya nga baagala okumubuuza n’abagamba nti, “Mwebuuzaganya ku kye ŋŋambye nti mu bbanga ttono munaaba temukyandaba ate wanaayitawo ebbanga ttono ne mundaba? 20 (C)Ddala ddala mbagamba nti mmwe mulikaaba, mulikuba ebiwoobe, naye ensi yo erisanyuka. Mmwe mulinakuwala naye okunakuwala kwammwe kulifuuka essanyu eritagambika bwe mulindabako nate. 21 (D)Omukazi ng’azaala aba mu bulumi buyitirivu, kubanga ekiseera kye kituuse. Naye omwana bw’amala okuzaalibwa olwo omukazi aba takyajjukira bulumi buli olw’essanyu ery’okuzaala omuntu mu nsi. 22 (E)Kale nammwe kaakano munakuwadde, naye ndiddamu okubalaba ne musanyuka, era essanyu lyammwe tewali n’omu aliribaggyako. 23 (F)Mu kiseera ekyo nga temukyansaba kintu na kimu, mmwe bennyini munaasabanga Kitange mu linnya lyange. 24 (G)Kino mubadde temukikola, naye kaakano mukitandike. Musabe mu linnya lyange, mujja kuweebwa ekyo kye musaba, essanyu lyammwe liryoke lituukirire. 25 (H)Ebyo mbibabuulidde mu ngero. Naye ekiseera kijja kutuuka nneme kwogera nammwe mu ngero, wabula mbabuulire lwatu ebifa ku Kitange. 26 (I)Mu kiseera ekyo mulisaba mu linnya lyange, so si Nze okubasabira eri Kitange. 27 (J)Kitange abaagala nnyo kubanga nammwe munjagala nnyo era mukkiriza nti nava eri Katonda. 28 (K)Nava eri Kitange ne nzija mu nsi era nzija kuva mu nsi nzireyo eri Kitange.”
29 (L)Awo abayigirizwa be ne bamugamba nti, “Kaakano oyogera lwatu, so si mu ngero. 30 Kaakano tutegedde ng’omanyi byonna, era nga tewali kyetaagisa kukubuuza. Kyetuva tukkiriza nga wava eri Katonda.”
31 Yesu n’abaddamu nti, “Kaakano mukkirizza? 32 (M)Laba, ekiseera kijja, era kituuse mwenna lwe munaasaasaana buli omu n’addayo ku bibye, ne mundeka nzekka. Kyokka sijja kuba nzekka, kubanga Kitange ali wamu nange.
33 (N)“Mbategeezezza ebyo byonna mulyoke mube n’emirembe mu nze. Mu nsi muno mujja kubonaabona, naye mugume, kubanga Nze mpangudde ensi.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.