Add parallel Print Page Options

27 (A)Mbalekera emirembe, era mbawa emirembe gyange. Emirembe gye mbawa tegiringa egy’ensi. Noolwekyo temutyanga era temweraliikiriranga.

Read full chapter

18 (A)“Ensi bw’ebakyawanga mumanye nti yasooka kukyawa nze. 19 (B)Singa mubadde ba nsi, yandibaagadde, naye temuli ba nsi, kubanga nabalonda muve mu nsi, kyeva ebakyawa. 20 (C)Mujjukire kye nabagamba nti, ‘Omuddu tasinga mukama we.’ Kale obanga Nze banjigganya era nammwe bagenda kubayigganyanga. Era obanga baagondera ebigambo byange n’ebyammwe balibigondera. 21 (D)Ebyo byonna balibibakola ku lw’erinnya lyange, kubanga eyantuma tebamumanyi.

Read full chapter

37 (A)Naye mu bino byonna tuwangudde n’okukirawo ku bw’oyo eyatwagala.

Read full chapter

(A)Mmwe, abaana abaagalwa, muli ba Katonda era mumaze okuwangula, kubanga oyo ali mu mmwe wa maanyi okusinga oyo ali mu nsi.

Read full chapter