Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 71:1-6

71 (A)Mu ggwe, Ayi Mukama, mwe neekweka,
    tondeka kuswazibwa.
(B)Mu butuukirivu bwo ondokole, omponye;
    ontegere okutu ondokole.
(C)Onfuukire olwazi obuddukiro bwange,
    ekifo eky’amaanyi;
ondokole
    kubanga oli lwazi lwange era ekiddukiro kyange.
(D)Ayi Katonda wange omponye mu mukono gw’ababi,
    omponye abantu abatali batuukirivu era abakambwe.

(E)Kubanga ggwe, Ayi Mukama, ggwe ssuubi lyange;
    ggwe, ggwe neesiga, okuviira ddala mu buvubuka bwange.
(F)Neesiga ggwe kasookedde nzalibwa;
    ggwe wanziggya mu lubuto lwa mmange.
    Nnaakutenderezanga ennaku zonna.

2 Ebyomumirembe 35:20-27

Okufa kwa Yosiya

20 (A)Oluvannyuma lw’ebyo byonna, Yosiya ng’amaze okuteekateeka yeekaalu, Neeko kabaka w’e Misiri n’atabaala Kalukemisi ku mugga Fulaati, ne Yosiya n’agenda amutabaale. 21 (B)Naye Neeko n’amutumira ababaka ng’amugamba nti, “Onvunaana ki gwe kabaka wa Yuda? Sitabaala gwe leero, wabula Kalukemisi ggwe nnwana naye, kubanga Katonda andagidde okwanguwa. Noolwekyo toziyiza Katonda, kubanga ali wamu nange. Bw’otoobeerwe anaakuzikiriza.”

22 (C)Naye Yosiya n’atamuwuliriza, ne yeebulizabuliza mu ggye n’agenda okumutabaala. N’atawuliriza bigambo bya Neeko ebyava eri Katonda, naye n’agenda okumulwanyisa mu lusenyi lwa Megiddo.

23 (D)Abalasi ne balasa kabaka Yosiya n’agamba abaserikale be nti, “Munziggyeewo kubanga nfumitiddwa nnyo.” 24 Awo ne bamuggya mu ggaali lye ne bamuteeka mu ggaali eddala lye yalina, ne bamuleeta e Yerusaalemi, era eyo gye yafiira. N’aziikibwa mu masiro ga bajjajjaabe. Yuda yonna ne Yerusaalemi ne bamukungubagira.

25 (E)Yeremiya n’ayiiya ennyimba ez’okukungubagira Yosiya, era ne leero abayimbi bonna abasajja n’abakazi bayimba nga bamujjukira mu nnyimba ez’okukungubaga. Ennyimba ezo zaafuuka kijjukizo mu Isirayiri era zawandiikibwa mu kungubaga.

26 Ebyafaayo ebirala ebyaliwo mu mirembe gya Yosiya, n’ebikolwa bye ebirungi, nga bwe byawandiikibwa mu tteeka lya Mukama, 27 ne byonna okuva ku ntandikwa ye okutuuka ku nkomerero ye, byawandiikibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Isirayiri ne Yuda.

Ebikolwa by’Abatume 19:1-10

Pawulo mu Efeso

19 (A)Awo Apolo ng’ali mu Kkolinso, Pawulo n’atambula ng’ayita ku lukalu n’alaga mu Efeso. N’asangayo abayigirizwa bangiko, n’ababuuza nti, “Bwe mwakkiriza mwafuna Mwoyo Mutukuvu?” Ne bamuddamu nti, “Nedda tetuwuliranga nti waliwo Mwoyo Mutukuvu.” N’ababuuza nti, “Kale mwabatizibwa kuyingira mu ki?” Ne bamuddamu nti, “Twakkiriza ebyo Yokaana Omubatiza bye yatuyigiriza.” (B)Awo Pawulo n’abagamba nti, “Yokaana yabatiza okubatiza okw’okwenenya eri abantu ng’agamba nti agenda okujja oluvannyuma lwe bamukkirize. Kino kitegeeza nti ye Yesu.” Bwe baawulira ebyo, ne babatizibwa mu linnya lya Mukama waffe Yesu. (C)Pawulo bwe yabassaako emikono gye, Mwoyo Mutukuvu n’abakkako, ne batandika okwogera ennimi endala era n’okuwa obunnabbi. Bonna baali abantu nga kkumi na babiri.

(D)Pawulo n’ayingiranga mu kkuŋŋaaniro buli lwa Ssabbiiti ng’abuulira n’obuvumu bungi okumala emyezi esatu, n’abategeezanga ekyo ky’akkiriza era n’ensonga kyava akkiriza, n’asendasenda bangi okukkiriza ebintu by’obwakabaka bwa Katonda. (E)Naye abamu ne bakakanyaza emitima gyabwe ne bagaana, ne batandika n’okwogera obubi ku Kkubo mu bibiina. Pawulo n’abaviira, n’atwala abakkiriza, ne bakuŋŋaaniranga mu kisenge ky’essomero lya Tulaano buli lunaku. 10 (F)Ne bamala emyaka ebiri n’okusingawo nga bakola bwe batyo, era Abayudaaya bonna n’Abayonaani bonna abaabeeranga mu kitundu ekyo ekya Asiya ne bawulira ekigambo kya Mukama.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.