Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Zabbuli ya Dawudi.
29 (A)Mutendereze Mukama, mmwe abaana b’ab’amaanyi.
Mutendereze Mukama n’ekitiibwa n’amaanyi.
2 (B)Mutendereze Mukama n’ekitiibwa ekisaanira erinnya lye;
musinze Mukama mu kitiibwa eky’obutukuvu bwe.
3 (C)Eddoboozi lya Mukama liwulirwa ku mazzi;
Katonda ow’ekitiibwa abwatuka,
n’eddoboozi lye ne liwulirwa ku mazzi amangi.
4 (D)Eddoboozi lya Mukama ly’amaanyi;
eddoboozi lya Mukama lijjudde ekitiibwa.
5 (E)Eddoboozi lya Mukama limenya emivule;
Mukama amenyaamenya emivule gya Lebanooni.
6 (F)Aleetera Lebanooni okubuukabuuka ng’akayana,
ne Siriyooni[a] ng’ennyana y’embogo.
7 Eddoboozi lya Mukama
libwatukira mu kumyansa.
8 (G)Eddoboozi lya Mukama likankanya eddungu;
Mukama akankanya eddungu lya Kadesi.
9 (H)Eddoboozi lya Mukama linyoolanyoola emivule,
n’emiti mu bibira ne gitasigalako makoola.
Mu Yeekaalu ye, abantu bonna boogerera waggulu nti, “Ekitiibwa kibe eri Mukama!”
Obutaliimu bw’Amagezi g’Abantu
1 (A)Ebigambo by’Omubuulizi, mutabani wa Dawudi kabaka mu Yerusaalemi.
2 (B)“Obutaliimu! Obutaliimu!” bw’ayogera Omubuulizi.
Byonna butaliimu.
3 (C)Omuntu afuna ki mu byonna by’akola,
mu byonna ebimukooya wansi w’enjuba?
4 (D)Omulembe ogumu gugenda, omulala ne gujja,
naye ensi ebeerera emirembe gyonna.
5 (E)Enjuba evaayo era n’egwa,
ate n’eyanguwa okutuuka mu kifo mw’eviirayo.
6 Empewo ekunta ng’eraga obukiikaddyo,
ne yeetooloola okutuuka obukiikakkono;
empewo yeetooloola ne yeetooloola,
n’ekomerawo ku biwaawaatiro byayo.
7 (F)Emigga gyonna gikulukuta nga giraga mu nnyanja,
naye ennyanja tejjula;
ekifo emigga gye gikulukutira
era gye gyeyongera okukulukutira.
8 (G)Ebintu byonna bijjudde obukoowu
omuntu bw’atasobola kutenda!
Eriiso terimatira kulaba,
wadde okutu okukoowa okuwulira.
9 (H)Ekyo ekyabaawo era kye kigenda okubaawo,
n’ekyo ekikoleddwa era kye kigenda okukolebwa;
era tewali kintu kiggya wansi w’enjuba.
10 Waali wabaddewo ekintu ekyali kigambiddwa nti,
“Laba kino kiggya”?
Kyaliwo dda
mu mirembe egyatusooka?
11 (I)Tewali kujjukira bintu byasooka
era tewaliba kujjukira bintu ebyo ebitanabaawo mu ebyo ebijja oluvannyuma.
Kristo amagezi n’amaanyi ga Katonda
18 (A)Ekigambo ky’omusaalaba kya busirusiru eri abo abazikirira naye eri ffe abaalokolebwa ge maanyi ga Katonda. 19 (B)Kubanga kyawandiikibwa nti,
“Ndizikiriza amagezi g’abagezi,
ne nzigyawo okumanya kw’abayivu.”
20 (C)Kale omugezi aluwa? N’omuwandiisi aluwa? Omuwakanyi w’omulembe guno aluwa? Katonda teyafuula amagezi ag’ensi eno okuba obusirusiru? 21 Kubanga Katonda, mu magezi ge, yalaba ng’ensi teyinza kumumanya ng’eyita mu kutegeera kwayo. Katonda kyeyava asiima okuyita mu busirusiru bw’okubuulira Enjiri okulokola abakkiriza. 22 (D)Kubanga Abayudaaya banoonya bubonero, Abayonaani bo ne banoonya amagezi, 23 (E)naye ffe tubuulira Kristo eyakomererwa. Eri Abayudaaya nkonge, eri Abaamawanga busirusiru, 24 (F)naye eri abaayitibwa, Abayudaaya n’Abamawanga, Kristo ge maanyi ga Katonda, era amagezi ga Katonda. 25 (G)Kubanga obusirusiru bwa Katonda businga amagezi g’abantu, n’obunafu bwa Katonda businga abantu amaanyi.
26 Kubanga mulabe okuyitibwa kwammwe abooluganda, bangi ku mmwe temwali bagezi mu mubiri, era nga bangi temuli b’amaanyi, era nga bangi temwazaalibwa nga muli ba kitiibwa. 27 (H)Naye Katonda yalonda ebisirusiru eby’ensi, akwase abagezi ensonyi; era Katonda yalonda ebinafu eby’ensi, akwase ab’amaanyi ensonyi, 28 (I)era n’alonda abakopi ab’ensi n’abo abanyoomebwa; era n’ebitaliiwo alyoke aggyewo ebiriwo, 29 (J)waleme kubaawo muntu n’omu eyeenyumiriza mu maaso ga Katonda. 30 (K)Kyokka ku bw’oyo muli mu Kristo Yesu, eyafuuka amagezi gye tuli okuva eri Katonda, bwe butuukirivu, n’okutukuzibwa, n’okununulibwa, 31 (L)nga bwe kyawandiikibwa nti eyeenyumiriza yeenyumirizenga mu Mukama waffe.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.