Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Zabbuli ya Sulemaani.
72 Ayi Katonda, kabaka omuwe okuba omwenkanya,
ne mutabani we omuwe obutuukirivu,
2 (A)alyoke alamulenga abantu bo mu butuukirivu,
n’abaavu abalamulenga mu mazima.
3 Ensozi zireeterenga abantu bo okukulaakulana
n’obusozi bubaleetere obutuukirivu.
4 (B)Anaalwaniriranga abaavu,
n’atereeza abaana b’abo abeetaaga,
n’omujoozi n’amusaanyaawo.
5 Abantu bakutyenga ng’enjuba n’omwezi gye bikoma
okwaka mu mirembe gyonna.
6 (C)Abeere ng’enkuba bw’etonnya ku muddo ogusaliddwa,
afaanane ng’oluwandaggirize olufukirira ensi.
7 (D)Obutuukirivu bweyongere nnyo mu mulembe gwe,
n’okufuga kwe kujjule emirembe okutuusa omwezi lwe gulikoma okwaka!
8 (E)Afugenga okuva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja,[a]
n’okuva ku mugga Fulaati[b] okutuuka ku nkomerero z’ensi!
9 Ebika eby’omu malungu bimugonderenga,
n’abalabe be bamujeemulukukire beekulukuunye ne mu nfuufu.
10 (F)Bakabaka b’e Talusiisi[c] n’ab’oku bizinga eby’ewala
bamuwenga omusolo;
bakabaka b’e Syeba n’ab’e Seeba[d]
bamutonerenga ebirabo.
11 Bakabaka bonna banaavuunamanga mu maaso ge;
amawanga gonna ganaamuweerezanga.
12 Kubanga anaawonyanga eyeetaaga bw’anaamukoowoolanga,
n’omwavu ne kateeyamba ataliiko mwasirizi.
13 Anaasaasiranga omunafu n’omwavu;
n’awonya obulamu bwa kateeyamba.
14 (G)Anaabanunulanga mu mikono gy’omujoozi n’abawonya obukambwe bwe;
kubanga obulamu bwabwe bwa muwendo mungi gy’ali.
15 (H)Awangaale!
Aleeterwe zaabu okuva e Syeba.
Abantu bamwegayiririrenga
era bamusabirenga emikisa buli lunaku.
16 (I)Eŋŋaano ebale nnyingi nnyo mu nsi,
ebikke n’entikko z’ensozi.
Ebibala byayo byale ng’eby’e Lebanooni;
n’abantu baale mu bibuga ng’omuddo ogw’oku ttale.
17 (J)Erinnya lye libeerengawo ennaku zonna,
n’okwatiikirira kwe kube kwa nkalakkalira ng’enjuba.
Amawanga gonna ganaaweebwanga omukisa ku lu lw’erinnya lye,
era abantu bonna bamuyitenga aweereddwa omukisa.
18 (K)Mukama Katonda agulumizibwe, Katonda wa Isirayiri,
oyo yekka akola ebyewuunyisa.
19 (L)Erinnya lye ekkulu ligulumizibwenga emirembe n’emirembe!
Ensi yonna ejjule ekitiibwa kye.
Amiina era Amiina!
20 Okusaba kwa Dawudi mutabani wa Yese kukomye awo.
7 (A)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Muyimbe n’essanyu olwa Yakobo
Muleekaanire waggulu olw’ensi esinga zonna.”
Ettendo lyammwe liwulikike, era mugambe nti,
“Ayi Mukama, lokola abantu bo,
abaasigalawo ku Isirayiri.”
8 (B)Laba, ndibakomyawo okuva mu nsi ey’obukiikakkono,
ne mbakuŋŋaanya okuva ku nkomerero y’ensi.
Mu bo mulibaamu abazibe b’amaaso, n’abalema,
n’abakyala ab’embuto, n’abalumwa okuzaala,
era abantu bangi balikomawo.
9 (C)Balikomawo nga bakaaba,
balisaba nga mbakomyawo.
Ndibakulembera ku mabbali g’emigga,
mu kkubo eggolokofu mwe batalyesittalira
kubanga nze Kitaawe wa Isirayiri,
era Efulayimu ye mutabani wange omubereberye.
10 (D)“Muwulire ekigambo kya Mukama mmwe amawanga,
mukyogere mu nsi ezeewala.
‘Oyo eyasaasaanya Isirayiri alibakuŋŋaanya
era alirabirira ekisibo kye ng’omusumba w’endiga.’
11 (E)Kubanga Mukama aligula Yakobo
era abanunule okuva mu mukono gw’oyo abasinga amaanyi.
12 (F)Balijja baleekaana olw’essanyu ku nsozi za Sayuuni;
balisanyukira okugabula kwa Mukama:
emmere ey’empeke, ne wayini omusu, n’omuzigo,
n’abaana b’endiga era n’ebisibo.
Balibeera ng’ennimiro efukiririddwa obulungi,
era tebalyongera kulaba nnaku.
13 (G)Abawala balizina beesiime,
n’abavubuka, n’abakadde.
Okukaaba kwabwe ndikufuula essanyu;
ndibawa emirembe n’essanyu okusinga ennaku.
14 (H)Ndikkusa bakabona ebintu ebingi,
n’abantu bange mbajjuze ebintu,”
bw’ayogera Mukama.
Kigambo
1 (A)Kigambo yaliwo ng’ensi tennatondebwa. Kigambo[a] yali ne Katonda, era Kigambo yali Katonda. 2 (B)Oyo, okuva ku lubereberye yaliwo ne Katonda.
3 (C)Ebintu byonna byatondebwa ku lulwe, era tewaliiwo kintu na kimu ekyatondebwa nga taliiwo. 4 (D)Mu ye mwe mwali obulamu; era obulamu buno ne buba ekitangaala eri abantu. 5 (E)Omusana ne gwaka mu kizikiza, naye ekizikiza tekyaguyinza.
6 (F)Ne walabika omuntu ng’ayitibwa Yokaana, Katonda gwe yatuma, 7 (G)eyajja okutegeeza abantu ebifa ku musana, bonna bakkirize nga bayita mu ye. 8 Yokaana si ye yali Omusana, wabula ye yatumibwa ategeeze eby’Omusana.
9 (H)Kristo ye yali Omusana, omusana ogw’amazima, ogujja mu nsi, okwakira buli muntu.
10 (A)Kyokka newaakubadde Kigambo oyo ye yatonda ensi, bwe yajja mu nsi, ensi teyamutegeera. 11 Yajja eri abantu be, naye abantu be ne batamusembeza. 12 (B)Naye bonna abaamusembeza, yabawa obuyinza okufuuka abaana ba Katonda; be bo abakkiriza erinnya lye. 13 (C)Abataazaalibwa musaayi, oba okwagala kw’omubiri, wadde okwagala kw’omuntu, naye abaazaalibwa okwagala kwa Katonda. 14 (D)Kigambo n’afuuka omubiri, n’abeera mu ffe, ne tulaba ekitiibwa kye, ng’eky’oyo omu yekka eyava eri kitaffe ng’ajjudde ekisa n’amazima.
15 (E)Yokaana Omubatiza yamwogerako, ng’alangirira nti, “Ono ye oyo gwe nayogerako nti, ‘Waliwo ajja emabega wange, eyansoka okubaawo, kubanga yaliwo nga sinnabaawo.’ ” 16 (F)Ku kujjula kwe ffenna kwe twagabana ekisa ekisukiridde ekisa. 17 (G)Amateeka gaatuweebwa nga gayita mu Musa, naye Yesu Kristo ye yaaleeta ekisa n’amazima. 18 (H)Tewali n’omu eyali alabye ku Katonda, okuggyako Omwana we omu yekka, abeera mu kifuba kya kitaffe, oyo ye yatutegeeza byonna ebimufaako.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.