Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Oluyimba lwa Dawudi olw’okutendereza.
145 (A)Nnaakugulumizanga ggwe Katonda wange, era Kabaka wange;
era nnaatenderezanga erinnya lyo buli lunaku emirembe n’emirembe.
2 (B)Nnaakutenderezanga buli lunaku;
era nnaasuutanga erinnya lyo emirembe n’emirembe.
3 (C)Mukama mukulu, wa kitiibwa, era asaanira okutenderezebwanga ennyo,
n’obukulu bwe tebwogerekeka.
4 (D)Buli mulembe gunaatenderanga gunnaagwo ebikolwa byo,
era gunaatendanga emirimu gyo egy’amaanyi.
5 (E)Nnaatendanga obukulu n’obulungi bw’ekitiibwa kyo,
era nnaafumiitirizanga ku bikolwa byo ebyewuunyisa.
6 (F)Abantu banaatendanga amaanyi g’ebikolwa byo eby’ekitalo,
nange nnaatendanga obukulu bwo obw’ekitiibwa.
7 (G)Banaayogeranga ku bulungi bwo obw’ekitalo nga bajaguza;
era banaayimbanga olw’obutuukirivu bwo.
8 (H)Mukama wa kisa, ajudde okusaasira,
alwawo okusunguwala era ajudde okwagala okutaggwaawo.
9 (I)Mukama mulungi eri buli muntu,
era okusaasira kwe kubuna byonna bye yatonda.
10 (J)Byonna bye watonda binaakutenderezanga, Ayi Mukama;
n’abatukuvu bo banaakugulumizanga.
11 Banaayogeranga ku kitiibwa ky’obwakabaka bwo,
era banaatendanga amaanyi go.
12 (K)Balyoke bategeeze abantu bonna ebikolwa byo eby’amaanyi,
n’ekitiibwa ky’obukulu obw’obwakabaka bwo.
13 (L)Obwakabaka bwo, bwakabaka bwa lubeerera,
n’obufuzi bwo bwa mirembe na mirembe.
Mukama by’ayogera byonna bya bwesigwa,
n’ebikolwa bye bijjudde okusaasira.
14 (M)Mukama awanirira abo bonna abazitoowereddwa,
era ayimusa bonna abagwa.
15 (N)Amaaso g’abantu bonna gatunuulira ggwe, Ayi Mukama,
era bonna gw’obawa ebyokulya mu biseera byabyo.
16 (O)Oyanjuluza engalo zo,
ebiramu byonna n’obigabira bye byetaaga ne bikkuta.
17 Mukama mutuukirivu mu bikolwa bye byonna
era ayagala byonna bye yatonda.
18 (P)Mukama abeera kumpi n’abo bonna abamukoowoola;
abo bonna abamukoowoola mu mazima.
19 (Q)Abo bonna abamussaamu ekitiibwa abawa bye baagala,
era awulira okukaaba kwabwe n’abawonya.
20 (R)Mukama akuuma bonna abamwagala,
naye abakola ebibi alibazikiriza.
21 (S)Akamwa kange kanaatenderezanga Mukama,
era na buli kitonde kinaatenderezanga erinnya lye ettukuvu
emirembe n’emirembe.
9 (A)Osenzesenze omutima gwange,
mwannyinaze, omugole wange;
otutte omutima gwange, ne munye y’eriiso lyo gy’onkubye,
n’omukuufu ogumu ogw’omu bulago bwo.
10 (B)Ng’okwagala kwo kulungi mwannyinaze, omugole wange,
okwagala kwo nga kusinga nnyo envinnyo,
n’akawoowo ak’amafuta go kasinga eby’akawoowo eby’engeri zonna obulungi.
11 (C)Emimwa gyo gitonnya obuwoomi ng’ebisenge eby’omubisi gw’enjuki, omugole wange;
amata n’omubisi gw’enjuki biri wansi w’olulimi lwo.
Akaloosa ak’ebyambalo byo kali ng’akawoowo ak’e Lebanooni.
12 (D)Oli nnimiro eyasimbibwa, mwannyinaze, omugole wange,
era oli luzzi olwasibibwa[a], ensulo eyateekebwako akabonero.
13 (E)Ebimera byo nnimiro ya mikomamawanga,
erina ebibala byonna eby’omuwendo,
ne kofera n’emiti egy’omugavu
14 (F)n’omugavu ne kalikomu,
ne kalamo ne kinamoni,
n’emiti egy’ebika by’omugavu byonna,
ne mooli ne alowe,
wamu n’eby’akawoowo byonna ebisinga obulungi.
15 Oli nsulo ya nnimiro,
oluzzi olw’amazzi amalamu,
olukulukuta okuva mu Lebanooni.[b]
Omwagalwa
16 (G)Zuukuka gwe empewo ey’obukiikakkono,
naawe empewo ey’obukiikaddyo jjangu.[c]
Mukuntire ku nnimiro yange,
akaloosa, kaayo akalungi kasaasaane wonna,
Muleke muganzi wange ajje mu nnimiro ye,
alye ebibala byamu eby’omuwendo.
Owoomukwano
5 (H)Nzize mu nnimiro yange mwannyinaze, omugole wange;
nkuŋŋaanyiza mooli yange n’eby’akawoowo byange.
Ndidde ebisenge byange eby’omubisi gw’enjuki gwange ne nywa n’omubisi gwange,
Nywedde wayini wange n’amata gange.
Abemikwano
Abemikwano mulye munywe, munywere ddala, mmwe abaagalana.
33 (A)Kyokka ne bamugamba nti, “Abayigirizwa ba Yokaana batera okusiiba n’okusaba. N’abayigirizwa b’Abafalisaayo nabo bwe batyo. Naye ababo balya ne banywa.”
34 (B)Naye Yesu n’abagamba nti, “Abagenyi bayinza okusiiba ng’awasizza omugole akyali nabo? 35 (C)Naye ekiseera kijja, awasizza omugole ng’abaggiddwako olwo ne balyoka basiiba.”
36 Awo Yesu n’abagerera olugero nti, “Tewali ayuza kiwero mu lugoye oluggya alyoke azibise ekituli mu lugoye olukadde. Bw’akikola, ekiwero ekiggya kiyuza olukadde, n’ekiwero ekiggya tekijja kugendera wamu na lugoye olukadde. 37 Era tewali ateeka wayini omusu mu nsawo enkadde ez’amaliba ga wayini, kubanga wayini omusu ajja kuziyuza ayiike. 38 Naye wayini omusu ateekebwa mu nsawo za maliba empya. 39 Era tewali anywa ku wayini omukadde ate ayagala okunywa ku wayini omusu. Kubanga agamba nti, ‘Omukadde ye asinga omusu.’ ”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.