Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Erinnya lya Sayuuni Eriggya
62 (A)Ku lwa Sayuuni ssiisirike,
era ku lwa Yerusaalemi ssiiwummule,
okutuusa nga obutuukirivu bwe butemagana ng’emmambya esala,
obulokozi bwe ng’ettaala eyaka.
2 (B)Amawanga galiraba obutuukirivu bwo,
era ne bakabaka bonna baliraba ekitiibwa kyo.
Oliyitibwa erinnya epya
akamwa ka Mukama lye kalikuwa.
3 (C)Olibeera ngule etemagana mu mikono gya Mukama,
enkuufiira y’obwakabaka mu mukono gwa Katonda wo.
4 (D)Ataliddayo kuyitibwa nti, Eyalekebwa,
ensi yo teriddamu kuyitibwa nti, Yazika.
Naye oliyitibwa nti, Gwe nsanyukira,
n’ensi yo eyitibwe nti, Eyafumbirwa.
Kubanga Mukama akusanyukira
era ensi yo eribeera ng’omukazi afumbiddwa.
5 (E)Kubanga ng’omuvubuka bwawasa omuwala omuto
bw’atyo eyakutonda bwalikulabirira.
Nga omugole omusajja bwasanyukira oyo gw’awasizza,
bw’atyo Katonda bwalikusanyukira.
5 Okwagala kwo, Ayi Mukama, kutuuka ne ku ggulu;
obwesigwa bwo butuuka ku bire.
6 (A)Obutuukirivu bwo bugulumivu ng’agasozi aganene,
n’obwenkanya bwo buwanvu nnyo ng’ennyanja ennene ennyo.
Ayi Mukama, olabirira abantu n’ebisolo.
7 (B)Okwagala kwo okutaggwaawo nga tekugeraageranyizika.
Ab’ebitiibwa n’abatali ba bitiibwa
baddukira mu biwaawaatiro byo.
8 (C)Balya ku bingi eby’omu nnyumba yo ne bakkuta;
obawa ebyokunywa by’omugga gwo ogwesiimisa.
9 (D)Kubanga gw’olina ensulo ey’obulamu,
era gw’otwakiza omusana.
10 Yongeranga okwagala abo abakutegeera,
era n’obutuukirivu bwo eri abo abalina emitima emirongoofu.
Ebirabo bya Mwoyo Mutukuvu
12 (A)Abooluganda, ssaagala mmwe obutategeera ebikwata ku birabo ebya Mwoyo. 2 (B)Mumanyi nti bwe mwali Abaamawanga mwabuzibwabuzibwanga ne mutwalibwa eri ebifaananyi ebitayogera. 3 (C)Noolwekyo njagala mutegeere nti tewali muntu aba ne Mwoyo wa Katonda n’ayogera nti, “Yesu akolimirwe.” Era tewali n’omu asobola okwogera nti, “Yesu ye Mukama waffe,” wabula ku bwa Mwoyo Mutukuvu.
4 (D)Waliwo ebirabo bya ngeri nnyingi, naye Mwoyo abigaba y’omu. 5 Waliwo engeri nnyingi ez’okuweererezaamu, naye Mukama aweerezebwa y’omu. 6 (E)Waliwo okukola kwa ngeri nnyingi kyokka Katonda asobozesa bonna mu byonna bye bakola y’omu.
7 (F)Mwoyo Mutukuvu yeeragira mu buli omu olw’okugasa bonna. 8 (G)Omu Omwoyo amuwa okwogera ekigambo eky’amagezi, omulala Omwoyo oyo omu n’amuwa okuyiga n’ategeera. 9 (H)Omulala Omwoyo y’omu n’amuwa okukkiriza, n’omulala n’amuwa obuyinza okuwonyanga abalwadde. 10 (I)Omu, Omwoyo amuwa okukolanga ebyamagero, n’omulala n’amuwa okwogera eby’obunnabbi, ate omulala n’amuwa okwawulanga emyoyo emirungi n’emibi. Omulala amuwa okwogera ennimi ezitali zimu, n’omulala n’amuwa okuzivvuunula. 11 (J)Naye Omwoyo akola ebyo byonna y’omu, y’agabira buli muntu ng’Omwoyo oyo bw’ayagala.
2 (A)Awo bwe waayitawo ennaku bbiri ne wabaawo embaga ey’obugole mu Kaana eky’e Ggaliraaya ne nnyina Yesu yaliyo. 2 Yesu awamu n’abayigirizwa be nabo baayitibwa. 3 Wayini bwe yaggwaawo, nnyina Yesu n’ajja gy’ali n’amugamba nti, “Tebakyalina wayini.”
4 (B)Yesu n’amuddamu nti, “Maama ndeka, kubanga ekiseera kyange tekinnatuuka.”
5 (C)Nnyina Yesu n’agamba abaweereza nti, “Kyonna ky’abagamba kye muba mukola.”
6 (D)Waaliwo amasuwa amanene mukaaga agaategekebwa olw’omukolo gw’Abayudaaya ogw’okwetukuza, buli limu nga lirimu lita kikumi oba kikumi mu ataano.
7 Yesu n’agamba abaweereza nti, “Amasuwa mugajjuze amazzi.” Ne bagajjuza okutuuka ku migo. 8 Awo n’abagamba nti, “Kale musene mutwalire omukulu w’abagabuzi.”
Ne basena ne bamutwalira. 9 (E)Omukulu w’abagabuzi bwe yalega ku mazzi agafuuse wayini, nga tamanyi gy’avudde, so nga bo abaweereza baali bamanyi, n’ayita omugole omusajja 10 n’amugamba nti, “Bulijjo omuntu asooka kugabula wayini omuka, n’oluvannyuma ng’abagenyi be banywedde nnyo, tebakyafaayo olwo n’alyoka agabula ogutali muka nnyo. Naye ggwe wayini omuka gw’osembezzaayo!”
11 (F)Ekyamagero kino, Yesu kye yasookerako okukola mu lwatu mu Kaana eky’e Ggaliraaya, ng’alaga ekitiibwa kye. Abayigirizwa be bwe baakiraba ne bamukkiriza.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.