Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 106:1-12

106 (A)Mumutendereze Mukama!

Mwebaze Mukama kubanga mulungi,
    kubanga okwagala kwe tekuggwaawo emirembe gyonna.

(B)Ani ayinza okwogera ku bikulu Mukama by’akola n’abimalayo,
    oba okumutendereza obulungi nga bw’asaanira?
(C)Balina omukisa abalina obwenkanya,
    era abakola ebituufu bulijjo.

(D)Onzijukiranga, Ayi Mukama, bw’obanga okolera abantu bo ebirungi;
    nange onnyambe bw’olibalokola,
(E)ndyoke neeyagalire wamu n’abalonde bo nga bafunye ebirungi,
    nsanyukire wamu n’eggwanga lyo,
    era ntendererezenga mu bantu bo.

(F)Twonoonye, nga bajjajjaffe bwe baakola;
    tukoze ebibi ne tusobya nnyo.
(G)Bakadde baffe
    tebaafaayo kujjukira ebyamagero bye wakola nga bali mu Misiri;
n’ebyekisa ebingi bye wabakolera tebaabijjukira,
    bwe baatuuka ku Nnyanja Emyufu ne bakujeemera.
(H)Naye Mukama n’abalokola, olw’erinnya lye,
    alyoke amanyise amaanyi g’obuyinza bwe obungi.
(I)Yaboggolera Ennyanja Emyufu, n’ekalira;
    n’abakulembera okubayisa mu buziba ng’abayita ku lukalu mu ddungu.
10 (J)Yabawonya abalabe baabwe;
    n’abanunula mu mikono gy’abo ababakyawa.
11 (K)Amazzi ne gabuutikira abalabe baabwe;
    ne wataba n’omu awona.
12 (L)Olwo ne bakkiriza ebigambo bye, bye yabasuubiza;
    ne bayimba nga bamutendereza.

Balam 5:12-21

12 (A)Zuukuka, zuukuka Debola
    zuukuka, zuukuka, okulembere oluyimba;
golokoka, Baraki okulembere
    abawambe bo nga basibiddwa, ggwe mutabani wa Abinoamu.

13 “Awo abakungu abaasigalawo
    ne baserengeta,
abantu ba Mukama,
    ne baserengeta okulwanyisa ow’amaanyi.
14 (B)Awo abaava mu kitundu kya Efulayimu ne baserengeta mu kiwonvu,
    nga bakugoberera ggwe, Benyamini, n’ab’ekika kyo.
Mu Makiri ne wavaayo abakulembeze, ne baserengeta,
    ne mu kitundu kya Zebbulooni ne wavaayo abaduumizi.
15 (C)Abalangira ba Isakaali baali wamu ne Debola;
    era Isakaali yali wamu ne Baraki.
    Ne bafubutuka okumugoberera mu kiwonvu.
Olw’enjawukana ezaali mu kika kya Lewubeeni,
    waaliwo okusooka okufumiitiriza ennyo mu mitima gyabwe.
16 (D)Kiki ekyakusigaza mu bisibo byo eby’endiga,
    okuwuliriza endere zebafuuyira endiga?
Olw’enjawukana ezaali mu kika kya Lewubeeni,
    waaliwo okusooka okufumiitiriza ennyo mu mitima gyabwe.
17 (E)Ab’ekika kya Gireyaadi baasigala mitala wa Yoludaani.
    N’ab’ekika kya Ddaani ekyabasigaza mu byombo kiki?
Ab’ekika kya Aseri; baasigala ku lubalama lw’ennyanja,
    ne babeera awali emyalo gyabwe.
18 (F)Ab’ekika kya Zebbulooni baawaayo obulamu bwabwe,
    era n’ab’ekika kya Nafutaali mu ddwaniro.

19 (G)“Ku mugga gw’e Megiddo mu Taanaki,
    bakabaka bajja ne balwana,
bakabaka b’e Kanani baalwana.
    Naye tebaanyaga bintu.
20 (H)Emunyeenye zaalwana nga zisinziira mu ggulu,
    zaalwanyisa Sisera nga bwe zetoloola mu bbanga.
21 (I)Omugga Kisoni gwabasanyizaawo ddala,
    omugga ogwo ogw’edda omugga Kisoni.
    Ggwe emmeeme yange, kkumba n’amaanyi.

1 Yokaana 5:13-21

Okumaliriza

13 (A)Ebyo mbiwandiikidde mmwe abakkiriza erinnya ly’Omwana wa Katonda, mulyoke mumanye nti mulina obulamu obutaggwaawo. 14 (B)Noolwekyo tulina obuvumu nti bwe tugenda gy’ali ne tumusaba ekintu kyonna, ye nga bw’asiima atuwulira. 15 (C)Era bwe tutegeera nti atuwulira bwe tumusaba, buli kye tumusaba talema kukituwa.

16 (D)Omuntu yenna bw’alaba muganda we ng’agudde mu kibi ekitali kya kufa, amusabirenga, Katonda talirema kumuwa bulamu. Njogera ku abo bokka abagwa mu kibi ekitali kya kufa. 17 (E)Buli ekitali kya butuukirivu kibi, naye waliwo ekibi ekitaleetera muntu kufa.

18 (F)Tumanyi nga buli muntu yenna azaalibwa Katonda teyeeyongera kukola kibi, kubanga Katonda amukuuma, Setaani n’atamukola kabi. 19 (G)Tumanyi nga tuli ba Katonda, n’ensi yonna eri mu mikono gya Setaani. 20 (H)Era tumanyi ng’Omwana wa Katonda yajja mu nsi, n’atuwa okutegeera tumanye Katonda ow’amazima, era tuli mu oyo Katonda ow’amazima, ne mu Yesu Kristo Omwana we. Oyo ye Katonda ow’amazima n’obulamu obutaggwaawo.

21 Abaana abaagalwa, mwewalenga bakatonda abalala.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.