Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 106:1-12

106 (A)Mumutendereze Mukama!

Mwebaze Mukama kubanga mulungi,
    kubanga okwagala kwe tekuggwaawo emirembe gyonna.

(B)Ani ayinza okwogera ku bikulu Mukama by’akola n’abimalayo,
    oba okumutendereza obulungi nga bw’asaanira?
(C)Balina omukisa abalina obwenkanya,
    era abakola ebituufu bulijjo.

(D)Onzijukiranga, Ayi Mukama, bw’obanga okolera abantu bo ebirungi;
    nange onnyambe bw’olibalokola,
(E)ndyoke neeyagalire wamu n’abalonde bo nga bafunye ebirungi,
    nsanyukire wamu n’eggwanga lyo,
    era ntendererezenga mu bantu bo.

(F)Twonoonye, nga bajjajjaffe bwe baakola;
    tukoze ebibi ne tusobya nnyo.
(G)Bakadde baffe
    tebaafaayo kujjukira ebyamagero bye wakola nga bali mu Misiri;
n’ebyekisa ebingi bye wabakolera tebaabijjukira,
    bwe baatuuka ku Nnyanja Emyufu ne bakujeemera.
(H)Naye Mukama n’abalokola, olw’erinnya lye,
    alyoke amanyise amaanyi g’obuyinza bwe obungi.
(I)Yaboggolera Ennyanja Emyufu, n’ekalira;
    n’abakulembera okubayisa mu buziba ng’abayita ku lukalu mu ddungu.
10 (J)Yabawonya abalabe baabwe;
    n’abanunula mu mikono gy’abo ababakyawa.
11 (K)Amazzi ne gabuutikira abalabe baabwe;
    ne wataba n’omu awona.
12 (L)Olwo ne bakkiriza ebigambo bye, bye yabasuubiza;
    ne bayimba nga bamutendereza.

Balam 4:1-16

Okufuga kwa Debola

(A)Ekudi bwe yamala okufa Abayisirayiri ne bakola nate ebibi eri Mukama. (B)Mukama n’abawaayo mu mikono gya Yabini Kabaka wa Kanani, eyabeeranga e Kazoli; omuduumizi w’eggye lye nga ye Sisera eyabeeranga e Kalosesi eky’abamawanga. (C)Yabini yalina amagaali ag’ekyuma lwenda, era n’ajoogera Abayisirayiri emyaka amakumi abiri, kyebaava balaajaanira Mukama abayambe.

Awo Nnabbi Debola mukazi wa Leppidosi ye yali akulembera Abayisirayiri mu kiseera ekyo. (D)Era bulijjo yatuulanga wansi w’olukindu olwayitibwanga olwa Debola wakati w’e Lama ne Beseri mu kitundu kya Efulayimu eky’ensozi: Abayisirayiri ne bajjanga gyali okubalamula. (E)N’atumya Baraki mutabani wa Abinoamu ave mu Kedesi ekitundu kya Nafutaali, n’amugamba nti, “Mukama Katonda w’Abayisirayiri akulagidde nti, ‘Ggenda okuŋŋaanyize abasajja bo ku lusozi Taboli, obalondemu omutwalo gumu okuva mu kika ekya Nafutaali n’ekya Zebbulooni. (F)Ndisindika gy’oli ku mugga Kisoni, Sisera omuduumizi w’eggye lya Yabini, n’amagaali ge n’abalwanyi be era ndibawaayo mu mikono gyo.’ ” Baraki n’amuddamu nti, “Kale nnaagenda bw’onokkiriza ŋŋende naawe, naye bw’otokkirize nange siigende.”

(G)Debola n’amugamba nti, “Wewaawo nnaagenda naawe, naye ekitiibwa n’obuwanguzi tebiibe bibyo, kubanga Mukama aliwaayo Sisera awangulwe mu mikono gy’omukazi.” Baraki n’addayo ne Debola e Kedesi. 10 (H)Baraki n’ayita ab’ekika kya Zebbulooni n’ekya Nafutaali bakuŋŋaanire e Kedesi, abasajja omutwalo gumu ne bamugoberera awamu ne Debola.

Baraki awangula Sisera

11 (I)Keberi Omukeeni[a] yazimba eweema ye okumpi n’omuti omwera e Zaanannimu ekiri okumpi ne Kedesi oluvannyuma lw’okwawukana ne Bakeeni banne, bazzukulu ba Kobabu mukoddomi wa Musa.

12 Awo Sisera bwe yamanya nga Baraki mutabani wa Abinoamu atuuse ku Lusozi Taboli, 13 (J)n’akuŋŋaanya amagaali ge gonna lwenda ag’ekyuma, n’abalwanyi be bonna okuva ku Kalosesi eky’abamawanga okutuuka ku mugga Kisoni.

14 (K)Debola n’agamba Baraki nti, “Mukama si y’akukulembedde! Noolwekyo situkiramu kubanga olwa leero Mukama awaddeyo Sisera mu mikono gyo.” Awo Baraki n’ava ku lusozi Taboli n’abalwanyi be omutwalo gumu. 15 (L)Mukama n’afufuggaza n’ekitala Sisera n’amagaali gonna n’eggye lye lyonna nga Baraki alaba; Sisera n’abuuka mu ggaali lye, n’adduka. 16 (M)Baraki n’afubutula eggye lya Sisera n’amagaali gaalyo okutuuka e Keloseesi eky’amawanga; era n’abatta n’ekitala obutalekaawo yadde n’omu.

Abaefeso 6:10-17

Ebyokulwanyisa bya Katonda

10 (A)Eky’enkomerero, mubenga n’amaanyi mu Mukama waffe ne mu buyinza obw’amaanyi ge. 11 (B)Mwambale ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke musobole okwolekera enkwe za Setaani. 12 (C)Kubanga tetumeggana na mubiri wadde musaayi, wabula tulwanyisa abafuzi, n’ab’obuyinza, n’amaanyi ag’ensi ag’ekizikiza, n’emyoyo emibi egy’omu bifo ebya waggulu. 13 Noolwekyo mwambalenga ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke musobole okwaŋŋanga omulabe ku lunaku olw’akabi, era bwe mulimala okukola byonna, mulyoke musigale nga muli banywevu. 14 (D)Muyimirire nga muli banywevu, ng’amazima lwe lukoba lwammwe lwe mwesibye mu kiwato kyammwe, ate ng’obutuukirivu kye ky’omu kifuba, 15 (E)nga mwambadde n’engatto mu bigere byammwe nga mugenda okubuulira Enjiri ey’emirembe. 16 (F)Era ku ebyo byonna okukkiriza kwammwe kubeerenga engabo eneebasobozesanga okuzikiza obusaale bwonna obw’omuliro obulasibwa omubi. 17 (G)Obulokozi bubafuukire enkuufiira gye mwambadde, n’ekigambo kya Katonda kibabeerere ekitala eky’Omwoyo,

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.