Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Ya Mukulu wa Bayimbi. Ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi.
61 (A)Wulira okukaaba kwange, Ayi Katonda;
wulira okusaba kwange.
2 (B)Nkukoowoola okuva ku nkomerero y’ensi,
omutima gwange nga gugenda gunafuwa.
Onkulembere ontuuse ku lwazi olunsinga obuwanvu mwe nnyinza okwekweka.
3 (C)Kubanga gw’oli kiddukiro kyange.
Oli kigo eky’amaanyi mwe neekweka omulabe.
4 (D)Nnaabeeranga mu weema yo ennaku zonna;
ndyoke nkuumirwenga mu biwaawaatiro byo.
5 (E)Kubanga ggwe, Ayi Katonda, owulidde obweyamo bwange:
ompadde omugabo awamu n’abo abatya erinnya lyo.
6 (F)Oyongere ku nnaku z’obulamu bwa kabaka;
emyaka gye gimutuuse mu mirembe mingi,
7 (G)alyoke abeerenga mu maaso ga Katonda ennaku zonna.
Okwagala kwo n’obwesigwa bwo bimukuumenga.
8 (H)Ndyoke nnyimbenga nga ntendereza erinnya lyo ennaku zonna,
nga ntuukiriza obweyamo bwange buli lunaku.
Obuwanguzi bwa Dawudi
8 Oluvannyuma lw’ebyo, Dawudi n’awangula Abafirisuuti, n’abafuula abaddu be, n’awamba n’ekibuga kyabwe ekikulu.
2 (A)Dawudi n’awangula n’Abamowaabu, n’alagira buli omu ku bo yebake wansi, n’abapimako n’olukoba olupima. Buli eyali ebipimo bibiri yattibwanga, naye oyo eyali ow’ebipimo ebisatu nga y’alama. Abamowaabu[a] ne bafuuka baddu ba Dawudi ne bamuwanga obusuulu. 3 (B)Ate era Dawudi n’awangula Kadadezeri mutabani wa Lekobu, kabaka w’e Zoba, bwe yali nga yeddiza amatwale ge ku Mugga Fulaati. 4 (C)Dawudi n’awamba amagaali ga Kadadezeri lukumi, n’abeebagala embalaasi kasanvu, n’abaserikale ab’ebigere emitwalo ebiri. N’atema kumpi embalaasi zonna, n’azilemaza n’alekawo kikumi ku zo.
5 (D)Awo Abasuuli ab’e Ddamasiko ne bajja okubeera Kadadezeri kabaka w’e Zoba, naye Dawudi n’atta emitwalo ebiri mu enkumi bbiri ku bo. 6 (E)Dawudi n’assa ebibinja eby’abaserikale mu Busuuli e Ddamasiko, Abasuuli ne bafuuka baddu be, era ne bamuwanga obusuulu. Mukama n’awa Dawudi obuwanguzi buli gye yagendanga.
7 (F)Dawudi n’anyaga engabo eza zaabu ezasitulibwanga abaserikale ba Kadadezeri n’azireeta e Yerusaalemi. 8 (G)Kabaka Dawudi n’anyaga n’ebikomo bingi ddala okuva mu Beta ne mu Berosayi, ebibuga ebyali ebya Kadadezeri.
9 (H)Awo Toyi kabaka w’e Kamasi bwe yawulira nga Dawudi awangudde eggye lyonna erya Kadadezeri, 10 n’atuma mutabani we Yolaamu eri kabaka Dawudi okumulamusaako, n’okumuyozaayoza okuwangula olutalo wakati we ne Kadadezeri. Kadadezeri yalwananga ne Toyi. Yolaamu n’amutwalira ebintu bya ffeeza ne zaabu n’ebikomo.
11 (I)Kabaka Dawudi n’abiwonga eri Mukama, nga bwe yakola effeeza ne zaabu bye yaggya mu mawanga amalala ge yawangula. 12 (J)Amawanga gaali: Busuuli, ne Mowaabu, n’Abamoni, n’Abafirisuuti ne Amaleki; n’awonga n’omunyago gwa Kadadezeri, mutabani wa Lekobu, kabaka w’e Zoba.
13 (K)Erinnya lya Dawudi ne litutumuka, bwe yakomawo okuva okutta Abasuuli omutwalo gumu mu kanaana mu kiwonvu eky’Omunnyo.
14 (L)N’ateeka ebibinja bya baserikale mu Busuuli yonna, Abasuuli bonna ne bafuuka baddu ba Dawudi. Mukama n’awa Dawudi obuwanguzi buli gye yagendanga.
Amannya g’Abakungu ba Dawudi
15 Dawudi n’afuga Isirayiri yenna, ng’afuga abantu be bonna mu bwenkanya ne mu mazima. 16 (M)Yowaabu mutabani wa Zeruyiya ye yali omuduumizi w’eggye, Yekosafaati mutabani wa Akirudi nga ye mujjukiza, 17 (N)Zadooki[b] mutabani wa Akitubu ne Akimereki mutabani wa Abiyasaali nga be bakabona, Seroya nga ye muwandiisi, 18 (O)Benaaya mutabani wa Yekoyaada nga ye mukulu w’Abakeresi n’Abaperesi[c] abaakuumanga ba kabaka, batabani ba Dawudi nga be bawi ba magezi ab’obwakabaka.
17 (A)Bwe yatuuka e Mireeto, n’atumira abakadde b’Ekkanisa ya Efeso bajje bamulabe. 18 (B)Awo bwe baatuuka Pawulo n’agamba nti, “Mumanyi bulungi ng’okuva ku lunaku lwe natuukirako mu Asiya n’okutuusa leero, 19 (C)nkoze omulimu gwa Mukama mmuweereza n’obuwombeefu n’amaziga n’okugezesebwa ebyantukako olw’enkwe z’Abayudaaya. 20 (D)Naye saalekayo kubabuulira bituufu eby’okubayamba, bwe twabanga tukuŋŋaanye oba bwe najjanga mu maka gammwe, 21 (E)nga ntegeeza Abayudaaya n’Abayonaani okwenenya badde eri Katonda, n’okuba n’okukkiriza mu Mukama waffe Yesu.
22 (F)“Ne kaakano laba nsibiddwa Mwoyo Mutukuvu, ŋŋenda e Yerusaalemi nga simanyi binaantukako nga ndi eyo. 23 (G)Wabula Mwoyo Mutukuvu antegeeza nti okusibibwa n’okubonyaabonyezebwa binnindiridde mu buli kibuga. 24 (H)Naye obulamu bwange sibutwala kuba nga kya muwendo gye ndi, ndyoke ntuukirize omulimu gwange, n’obuweereza bwe nnaweebwa Mukama waffe Yesu, okutegeezanga Enjiri ey’ekisa kya Katonda.
25 (I)“Ne kaakano mmanyi nga temukyaddayo kundaba nate, mwenna be natambulamu nga mbuulira obwakabaka. 26 (J)Noolwekyo mbategeeza leero nti sirina kyenvunaanwa olw’omusaayi gwa bonna, 27 (K)kubanga sirina na kimu kye nalekayo nga mbabuulira okwagala kwa Katonda. 28 (L)Mwekumenga era mukuumenga n’ekisibo kyonna Mwoyo Mutukuvu mwe yabateeka okuba abalabirizi okulabiriranga Ekkanisa ya Katonda gye yeegulira n’omusaayi gwe. 29 (M)Mmanyi nga bwe ndigenda, emisege emikambwe giribayingiramu, era tegirisaasira kisibo. 30 (N)Ne mu mmwe bennyini mulivaamu abasajja aboogera ebintu ebikyamu, okwefunira abayigirizwa abanaabagobereranga. 31 (O)Noolwekyo mwekuume. Mujjukire nga bwe nababuulirira nga nkaaba amaziga okumala emyaka esatu, emisana n’ekiro, ne mundeeta n’amaziga.
32 (P)“Kaakano mbasigira Katonda n’ekigambo eky’ekisa kye ebiyinza okubazimba n’okubawa omugabo mu abo bonna abaatukuzibwa. 33 (Q)Siyaayaaniranga ffeeza newaakubadde zaabu wadde engoye eby’omuntu n’omu. 34 (R)Mmwe bennyini mumanyi nti neetuusizaako ebyetaago byange n’eby’abo bendi nabo. 35 Mbalaze mu buli kintu nga mu kukola n’amaanyi, kibagwanira okuyamba abanafu, ate n’okujjukira ebigambo bya Mukama waffe Yesu bye yayogera nti, ‘Okugaba kwa mukisa okusinga okuweebwa.’ ”
36 (S)Awo Pawulo bwe yamala okwogera ebyo, n’afukamira n’asaba nabo bonna. 37 (T)Buli omu n’akaaba nnyo amaziga, ne bamugwa mu kifuba okumusiibula, 38 (U)nga banakuwavu, naye okusinga byonna olw’ekigambo kye yayogera nti, Tebakyaddayo kumulaba. Ne bamuwerekerako ne bamutuusa ku kyombo.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.