Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Zabbuli ya Dawudi.
24 (A)Ensi ya Mukama n’ebigirimu byonna,
n’ensi zonna n’abo abazibeeramu.
2 Kubanga yasimba emisingi gyayo mu nnyanja,
n’agizimba ku mazzi amangi.
3 (B)Alyambuka ku lusozi lwa Mukama ye afaanana atya?
Era wa ngeri ki aliyingira n’ayimirira mu nnyumba ye entukuvu?
4 (C)Oyo alina omutima omulongoofu, nga n’emikono gye mirongoofu;
atasinza bakatonda abalala,
era atalayirira bwereere.
5 Oyo Mukama anaamuwanga omukisa,
n’obutuukirivu okuva eri Katonda ow’obulokozi bwe.
6 (D)Ogwo gwe mulembe gw’abo abakunoonya,
Ayi Katonda wa Yakobo.
7 (E)Mweggulewo, mmwe bawankaaki!
Muggulwewo, mmwe enzigi ez’edda,
Kabaka ow’ekitiibwa ayingire.
8 (F)Kabaka ow’ekitiibwa ye ani?
Ye Mukama ow’amaanyi era ow’obuyinza,
omuwanguzi mu ntalo.
9 Mweggulewo, mmwe bawankaaki,
muggulwewo mmwe enzigi ez’edda!
Kabaka ow’ekitiibwa ayingire.
10 Kabaka ow’ekitiibwa oyo ye ani?
Mukama Ayinzabyonna;
oyo ye Kabaka ow’ekitiibwa.
Essanduuko
10 (A)“Bakole essanduuko mu muti gwa akasiya, obuwanvu mita emu ne sentimita kkumi na ssatu, obugazi sentimita nkaaga mu musanvu n’obugulumivu sentimita nkaaga mu musanvu. 11 Ogiteekeko zaabu omuka ennyo munda ne kungulu, era ogyetoolooze omuge ogwa zaabu. 12 Ogiweeseze empeta nnya eza zaabu ozisibe ku magulu gaayo ana, ng’empeta ebbiri ziri ku ludda olumu, n’endala ebbiri ku ludda lwayo olulala. 13 Obajje emisituliro mu muti ogwa akasiya, ogibikkeko zaabu. 14 Ogisonseke mu mpeta eziri ku ssanduuko, okusituzanga essanduuko. 15 (B)Emisituliro egyo ginaalekebwanga mu mpeta ze ssanduuko, si zaakuggyangamu. 16 (C)Mu ssanduuko omwo mw’onossa Amateeka ge nnaakuwa.
17 (D)“Okolereko ekisaanikira, ye ntebe ey’okusaasira, nga kya zaabu omuka ennyo; obuwanvu bwakyo sentimita nkaaga mu musanvu, n’obugazi sentimita nkaaga mu musanvu. 18 Era okolereko ebifaananyi bya bakerubi babiri mu zaabu empeese, ku njuyi ebbiri ez’ekisaanikira. 19 Oteeke ekifaananyi kya kerubi omu ku ludda lumu olw’ekisaanikira, n’ekifaananyi kya kerubi omulala ku ludda olwokubiri, nga ebifaananyi bya bakerubi byombi byekutte wamu n’ekisaanikira. 20 (E)Ebiwaawaatiro bya bakerubi bibe bibikkule nga bisonze waggulu, era nga bisiikiriza ekisaanikira. Bakerubi batunulagane nga boolekedde ekisaanikira. 21 (F)Ekisaanikira onookissa kungulu ku Ssanduuko; ekiwandiiko eky’Endagaano ey’Amateeka kye nnaakuwa, okisse munda mu Ssanduuko. 22 (G)Awo waggulu w’ekisaanikira, mu bakerubi bombi abali ku Ssanduuko ey’Endagaano, we nzija okukusisinkana ndyoke nkuwe ebiragiro byange byonna bye nkoledde abaana ba Isirayiri.
2 (A)Njagala mumanye nga bwe nfuba ennyo okubasabira mmwe n’ab’omu Lawodikiya, era n’abo abatandabangako mu mubiri. 2 (B)Ekyo nkikola mbazzeemu amaanyi era bagattibwe wamu mu kwagalana, ne mu kutegeerera ddala obugagga bwonna obuli mu kumanya ekyama kya Katonda, ye Kristo. 3 (C)Mu Kristo mwe mukwekeddwa eby’obugagga byonna eby’amagezi n’okumanya. 4 (D)Ebyo mbibategeeza waleme kubaawo n’omu ababuzaabuza. 5 (E)Kubanga wadde siri wamu nammwe mu mubiri, naye mu mwoyo ndi wamu nammwe, era nsanyuka okumanya nti mutambula nga bwe muteekwa okutambula mu Kristo era nti n’okukkiriza kwammwe mu Kristo kunywevu.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.