Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 37:12-22

12 (A)Ababi basalira abatuukirivu enkwe,
    ne babalumira obujiji.
13 (B)Naye Mukama asekerera ababi,
    kubanga amanyi ng’entuuko zaabwe ziri kumpi.

14 (C)Ababi basowoddeyo ebitala byabwe
    ne baleega emitego gy’obusaale,
batte abaavu n’abali mu kwetaaga
    era basaanyeewo abo abatambulira mu kkubo eggolokofu.
15 (D)Naye ebitala byabwe birifumita mitima gyabwe gyennyini,
    n’emitego gyabwe egy’obusaale girimenyebwa.

16 (E)Ebitono omutuukirivu by’alina
    bisinga obugagga bw’ababi abangi;
17 (F)kubanga amaanyi g’abakola ebibi galikoma,
    naye Mukama anaawaniriranga abatuukirivu.

18 (G)Ennaku z’abataliiko kya kunenyezebwa, zimanyibwa Mukama,
    era omugabo gwabwe gunaabanga gwa lubeerera.
19 Mu biseera eby’akabi ebyakatyabaga tebaayongoberenga,
    ne mu biro eby’enjala banakkusibwanga.

20 (H)Naye ababi balizikirira;
    abalabe ba Mukama balifaanana ng’obulungi bwe ttale,
    era baliggwaawo, baliggwaawo ng’omukka.

21 (I)Ababi beewola, ne batasasula;
    naye abatuukirivu basaasira era bagaba bingi.
22 (J)Abo Mukama b’awa omukisa baligabana ensi,
    naye abo b’akolimira balizikirizibwa.

2 Samwiri 11:14-21

14 (A)Enkeera Dawudi n’awandiikira Yowaabu ebbaluwa n’agiwa Uliya agitwale. 15 (B)Yawandiika mu bbaluwa nti, “Uliya muteeke mu maaso ddala olutalo we luli olw’amaanyi, mumwabulire, afumitibwe afe.”

16 Awo Yowaabu bwe yali ng’ataayizza ekibuga, n’addira Uliya n’amuteeka mu kifo kye yamanya nga waaliyo abalabe ab’amaanyi. 17 Abasajja ab’ekibuga bwe baafuluma okulwana ne Yowaabu, abamu ku basajja ba Dawudi ne battibwa, ne Uliya Omukiiti yali omu ku abo abattibwa.

18 Awo Yowaabu n’aweereza Dawudi amawulire gonna agafudde mu lutalo, 19 n’alagira gwe yatuma nti, “Bw’onoomala okutegeeza kabaka amawulire gonna agafudde mu lutalo, 20 n’alabika nga munyiivu, n’abuuza nti, ‘Lwaki mwasemberedde nnyo ekibuga nga mulwana? Temwamanya nga bajja kulasa nga basinziira ku Bbugwe? 21 (C)Ani eyatta Abimereki mutabani wa Yerubbesesi? Teyali mukazi e Sebezi eyamukanyugako ejjinja eddene, kwe baseera emmere ey’empeke, ng’asinziira ku bbugwe, n’afiirawo? Lwaki mwasembedde okumpi ennyo ne bbugwe?’ Awo onoomutegeeza nti, ‘Omuddu wo Uliya Omukiiti naye afudde.’ ”

Abafiripi 4:10-20

Okwebaza

10 (A)Nasanyuka nnyo mu Mukama waffe, kubanga kaakano oluvannyuma lw’ebbanga muzzeemu okundowoozaako buggya, kubanga mwali munzisaako nnyo omwoyo, naye temwalina mukisa ku kiraga. 11 (B)Soogera kino olwokubanga Ndiko kye nneetaaga, kubanga mu buli mbeera gye mbaamu nayiga okumalibwanga. 12 (C)Mmanyi okubeera nga sirina kantu, era mmanyi okuba nga nnina buli kimu. Mu buli ngeri ne mu bintu byonna nayiga ekyama ekiri mu kukkusibwa ne mu kuba omuyala, mu kuba n’ebingi ne mu bwetaavu. 13 (D)Nnyinza okukola byonna mu oyo ampa amaanyi.

14 (E)Kyokka mukola bulungi okulumirirwa awamu nange mu kubonaabona kwange. 15 (F)Mmwe, Abafiripi, mumanyi nti bwe nava e Makedoniya nga nakatandika okubuulira Enjiri, tewali Kkanisa n’emu eyampaayo akantu olw’ebyo bye yafuna okuggyako mmwe mwekka. 16 (G)Kubanga ddala ddala bwe nnali mu Sessaloniika mwampeereza emirundi ebiri. 17 (H)Soogera kino lwa kubanga njagala okufuna ekirabo, wabula kye njagala kwe kulaba ng’ekibala kyeyongera ku lwammwe. 18 (I)Naye kaakano nfunye bingi okusinga bye neetaaga, kino kisinzidde mu ebyo bye mwampeereza, Epafuladito bye yandeetera. Biri ng’akaloosa akalungi ennyo aka ssaddaaka esanyusa era esiimibwa Katonda. 19 (J)Kale ne Katonda wange alibawa buli kye mwetaaga ng’obugagga bwe obungi obuli mu Kristo Yesu bwe buli.

20 (K)Katonda Kitaffe aweebwenga ekitiibwa emirembe n’emirembe. Amiina.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.