Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
2 Samwiri 1:1

Dawudi ategeezebwa Okufa kwa Sawulo

(A)Oluvannyuma lw’okufa kwa Sawulo, Dawudi n’agenda n’abeera e Zikulagi n’amalayo ennaku bbiri, ng’amaze okusaanyaawo Abamaleki.

2 Samwiri 1:17-27

Dawudi Akungubagira Sawulo ne Yonasaani

17 (A)Dawudi n’akungubagira Sawulo ne Yonasaani mutabani we, 18 (B)n’alagira abantu ba Isirayiri bayigirizibwe oluyimba olw’omutego olw’okukungubaga olwawandiikibwa mu kitabo kya Yasali. Olugamba nti,

19 (C)“Ekitiibwa kyo, ayi Isirayiri, kifiiridde ku nsozi zo!
    Ab’amaanyi nga bagudde!

20 (D)“Temukyogeranga mu Gaasi,[a]
    temukyatuliranga mu nguudo za Asukulooni,[b]
abawala b’Abafirisuuti baleme okusanyuka,
    abawala b’abatali bakomole baleme okujaguza.

21 (E)“Mmwe ensozi za Girubowa,
    muleme okugwibwako omusulo newaakubadde enkuba,
    newaakubadde ennimiro okumeramu ensigo.
Kubanga eyo engabo[c] ey’ab’amaanyi gye yanyoomerwa
    n’engabo ya Sawulo, gye yafuukira ng’etafukibwangako mafuta.
22 (F)Omutego gwa Yonasaani tegwaddanga mabega
    n’ekitala kya Sawulo tekyaddanga nga kikalu,
olw’okubuna omusaayi gw’abattibwanga,
    n’amasavu g’ab’amaanyi.

23 (G)“Sawulo ne Yonasaani, mu bulamu bwabwe baali baagalwa nnyo era baali baakisa,
    ne mu kufa tebaayawukana.
Baali bangu okusinga empungu,
    era baali b’amaanyi n’okusinga empologoma.

24 “Mmwe abawala ba Isirayiri,
    mukaabire Sawulo,
eyabambaza engoye ezinekaaneka ez’okwesiima,
    eyabambaza ebyambalo ebyatonebwa ne zaabu.

25 “Ab’amaanyi nga bagudde wakati mu lutalo!
    Yonasaani attiddwa ku nsozi zammwe.
26 (H)Nnumwa nnyo ku lwa muganda wange Yonasaani,
    kubanga wali mukwano gwange ddala.
Okwagala kwe wanjagala kwali kwa kitalo,
    nga kwa kitalo n’okusinga okw’abakyala.

27 (I)“Ab’amaanyi nga bagudde,
    n’ebyokulwanyisa nga bizikiridde!”

Zabbuli 130

Oluyimba nga balinnya amadaala.

130 (A)Ayi Mukama, nkukaabira nga nsobeddwa nnyo.
    (B)Ayi Mukama, wulira eddoboozi lyange;
otege amatu go
    eri eddoboozi ly’okwegayirira kwange.

(C)Ayi Mukama, singa otubalira obutali butuukirivu bwaffe,
    ani eyandiyimiridde mu maaso go?
(D)Naye osonyiwa;
    noolwekyo ossibwamu ekitiibwa.

(E)Nnindirira Mukama, emmeeme yange erindirira
    era essuubi lyange liri mu kigambo kye.
(F)Emmeeme yange erindirira Mukama;
    mmulindirira okusinga ng’abakuumi bwe balindirira obudde okukya;
    okusingira ddala ng’abakuumi bwe balindirira obudde okukya.

(G)Ayi Isirayiri, weesigenga Mukama,
    kubanga Mukama y’alina okwagala okutaggwaawo;
    era y’alina okununula okutuukiridde.
(H)Mukama y’alinunula Isirayiri n’amuggya
    mu byonoono bye byonna.

2 Abakkolinso 8:7-15

(A)Naye nga bwe musukirira mu bintu byonna, mu kukkiriza, ne mu kigambo, ne mu kutegeera, ne mu kunyiikira kwonna, twagala okulaba nga ne mu kisa kino musukirira.

(B)Sibawa kiragiro, wabula olw’okunyiikira kw’abalala n’okugezesa okwagala kwammwe nga kw’amazima. (C)Kubanga mumanyi ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo nga bwe yafuka omwavu ku lwammwe, mwe mulyoke mugaggawale.

10 (D)Amagezi ge mbawa ge gano nti mumalirize ekyo kye mwatandikako mu mwaka ogwayita, kubanga si mmwe mwasooka okuleeta ekirowoozo ekyo ate era si mmwe mwali ababereberye mu kutandika okukikolerako. 11 (E)Naye kaakano mu bumalirivu bwammwe mu kwagala okukikola, mumalirize omulimu ogwo, okusinziira kw’ekyo kye mulina. 12 (F)Kuba obanga mulina obumalirivu nga buli muntu bw’alina, buli muntu aweeyo okusinziira ku ekyo ky’alina so si ky’atalina.

13 Abalala baleme kuyambibwa ate nga mmwe munyigirizibwa, walyoke wabeewo, okwenkanankana. 14 (G)Kaakano bye mulina ebingi biyambe abo abali mu kwetaaga, ate ebyabwe bye baliba nabyo ebingi biribayamba nga muli mu kwetaaga. 15 (H)Nga bwe kyawandiikibwa nti, “Oyo eyakuŋŋaanyanga ennyingi teyasigazangawo, n’eyakuŋŋaanyanga entono ng’emumala bumazi.”

Makko 5:21-43

Omuwala Eyali Afudde, n’Omukazi Omulwadde

21 (A)Awo Yesu n’awunguka mu lyato nate n’atuuka emitala w’ennyanja. Abantu bangi ne bakuŋŋaanira w’ali ku lubalama lw’ennyanja. 22 (B)Omukulu w’ekkuŋŋaaniro erinnya lye Yayiro n’ajja n’agwa w’ali, 23 (C)n’amwegayirira nnyo ng’agamba nti, “Muwala wange abulako katono okufa. Nkwegayiridde jjangu omukwateko omuwonye.”

24 Awo Yesu n’agenda naye n’ekibiina ky’abantu kinene ne kimugoberera nga bagenda bamunyigiriza. 25 (D)Mu kibiina omwo mwalimu omukazi eyali amaze emyaka kkumi n’ebiri nga mulwadde ekikulukuto ky’omusaayi. 26 Yali yeewuubye mu basawo bangi abaamujanjabanga okumala emyaka egyo gyonna; ne byonna bye yalina nga bimuweddeko, obulwadde ne butawona wabula okweyongera obweyongezi. 27 Yali awulidde ebikwata ku Yesu. Bw’atyo n’ajja nga yeenyigiriza mu kibiina ky’abantu n’atuuka emabega wa Yesu, n’akoma ku kyambalo kye. 28 (E)Kubanga yagamba mu mutima gwe nti, “Ne bwe nnaakoma obukomi ku kyambalo kye nzija kuwona.” 29 (F)Awo olwakikomako, amangwago ekikulukuto ky’omusaayi ne kikalira n’ategeerera ddala ng’awonye.

30 (G)Amangwago Yesu n’awulira ng’amaanyi agamuvuddemu, n’akyukira ekibiina ky’abantu n’abuuza nti, “Ani akutte ku kyambalo kyange?”

31 Naye abayigirizwa be ne bamuddamu nti, “Ku bantu abangi bati abakunyigiriza oyinza otya okubuuza nti, ‘Ani ankutteko?’ ”

32 Naye Yesu ne yeetoolooza amaaso ge mu bonna alabe oyo amukutteko. 33 Awo omukazi bwe yategeera ekituuseewo n’ajja eri Yesu ng’atidde nnyo era ng’akankana, n’agwa awo mu maaso ga Yesu n’amutegeeza amazima gonna. 34 (H)Yesu n’agamba omukazi nti, “Omuwala, okukkiriza kwo kukuwonyezza, genda mirembe obulwadde bwo buwonedde ddala.”

35 (I)Naye yali akyayogera n’omukazi ababaka ne batuuka nga bava mu maka g’omukulu w’ekuŋŋaaniro, ne babikira Yayiro nti, “Omuwala afudde, noolwekyo tekikyetaagisa kuteganya Muyigiriza.”

36 Yesu n’awulira ebigambo ebyayogerwa wabula n’agamba omukulu w’ekkuŋŋaaniro nti, “Totya, ggwe kkiriza bukkiriza.”

37 (J)Awo Yesu n’aziyiza ekibiina kyonna okugenda naye, okuggyako Peetero ne Yakobo ne Yokaana muganda wa Yakobo. 38 (K)Bwe baatuuka mu nju y’omukulu w’ekkuŋŋaaniro, n’alaba okwaziirana ng’abantu bakaaba nga bakuba ebiwoobe. 39 (L)Bwe yayingira mu nju n’agamba abantu nti, “Mwaziiranira ki n’okukuba ebiwoobe? Omwana tafudde naye yeebase bwebasi!” 40 Awo abantu bonna ne bamusekerera nnyo.

Naye n’abagamba bonna bafulume mu nju. N’atwala abazadde b’omwana n’abayigirizwa be abasatu n’ayingira nabo mu kisenge omwana mwe yali. 41 (M)Yesu n’akwata omwana ku mukono n’amugamba nti, “Talisa kumi!” amakulu nti, “Omuwala golokoka!” 42 Amangwago omuwala eyali aweza emyaka kkumi n’ebiri, n’ayimirira n’atambulatambula. Abaaliwo ne bawuniikirira nnyo. 43 (N)Naye Yesu n’abakuutira nnyo baleme okubuulirako omuntu yenna. Awo n’abalagira bawe omwana ekyokulya.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.