Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 21

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

21 (A)Ayi Mukama, kabaka ajaguliza mu maanyi go.
    Obuwanguzi bw’omuwadde nga bumuleetedde essanyu lingi!

(B)Omuwadde omutima gwe bye gwetaaga,
    era buli ky’asabye n’akamwa ke tokimummye.
(C)Ddala ddala wamwaniriza n’emikisa gyo egijjudde ebirungi,
    n’omutikkira engule eya zaabu omuka ennyo ku mutwe gwe.
(D)Yakusaba obulamu, era n’obumuwa,
    ennaku ennyingi ez’emirembe n’emirembe.
(E)Obuwanguzi bwe wamuwa bumuleetedde ekitiibwa kinene.
    Omuwadde ekitiibwa n’oyatiikirira.
(F)Ddala omuwadde emikisa gyo egy’olubeerera,
    n’omujjuza essanyu ng’oli naye buli kiseera.
Kubanga kabaka yeesiga Mukama,
    era olw’okwagala okutaggwaawo okw’oyo Ali Waggulu Ennyo,
    kabaka tagenda kunyeenyezebwa.

(G)Omukono gwo guliwamba abalabe bo bonna;
    omukono gwo ogwa ddyo gulikwata abo abakukyawa.
(H)Bw’olirabika, Ayi Mukama,
    olibasiriiza n’omuliro ng’ogw’omu kyoto ekyengeredde.
Mukama, ng’ajjudde obusungu, alibamira bonna,
    era alibamalirawo ddala.
10 (I)Olizikiriza ezzadde lyabwe ku nsi,
    n’abaana baabwe bonna n’obamalawo mu baana b’abantu.
11 (J)Newaakubadde nga bakusalira enkwe,
    ne bateekateeka ebikolwa ebibi, kyokka tewali kye basobola kutuukiriza.
12 (K)Balikyuka ne bakudduka bwe baliraba
    ng’obaleezeemu omutego gwo ogw’obusaale.

13 Ogulumizibwenga, Ayi Mukama, mu maanyi go.
    Tunaayimbanga nga tutendereza obuyinza bwo.

2 Samwiri 5:17-25

Dawudi Awangula Abafirisuuti

17 (A)Awo Abafirisuuti bwe baawulira nga Dawudi afukiddwako amafuta okuba kabaka wa Isirayiri, bonna ne bambuka okumunoonya, naye Dawudi n’akiwulira n’aserengeta mu kigo kye. 18 (B)Abafirisuuti baali bazze nga basaasaanye mu kiwonvu Lefayimu. 19 (C)Dawudi ne yeebuuza ku Mukama nti, “Ŋŋende nnumbe Abafirisuuti? Onoobagabula mu mukono gwange?” Mukama n’amuddamu nti, “Genda, kubanga nnaabagabula mu mukono gwo.”

20 (D)Awo Dawudi n’agenda e Baaluperazimu, era n’abawangula. N’ayogera nti, “Mukama abonerezza abalabe bange mu maaso gange, ng’embuyaga ez’amazzi bwe zita ne zikulukuta n’amaanyi.” Era ekifo ekyo kyekyava kituumibwa Baaluperazimu. 21 (E)Abafirisuuti ne baleka eyo balubaale baabwe be beekolera, Dawudi n’abasajja be ne babatwala.

22 Abafirisuuti ne badda, ne basaasaana mu kiwonvu kya Lefayimu. 23 Awo Dawudi bwe yeebuuza ku Mukama, n’amuddamu nti, “Tobatabaalirawo, naye beetooloole, obalumbe ng’obafuluma mu maaso g’emitugunda. 24 (F)Awo olunaatuuka bw’onoowulira abakumba ku masanso g’emitugunda, oyanguwe okulumba, kubanga ekyo kinaategeeza nti Mukama akukulembedde okuzikiriza eggye ly’Abafirisuuti.” 25 (G)Awo Dawudi n’akola nga Mukama bwe yamulagira, n’azikiriza Abafirisuuti okuva e Geba okutuuka e Gezeri.

Yokaana 7:1-9

Yesu ne Baganda be

(A)Oluvannyuma lw’ebyo, Yesu n’alaga e Ggaliraaya, kubanga teyayagala kubeera mu Buyudaaya, kubanga Abayudaaya baali bamunoonya okumutta. (B)Naye embaga y’Abayudaaya eyitibwa ey’Ensiisira yali eneetera okutuuka. (C)Baganda ba Yesu ne bamugamba nti, “Vva wano, olage mu Buyudaaya, abayigirizwa bo balabe ebyamagero by’okola. Tosobola kwatiikirira nga weekwese. Kale obanga, okola ebintu ebyo, weerage eri ensi.” (D)Baganda be nabo tebaamukkiriza. (E)Yesu n’abaddamu nti, “Ekiseera kyange eky’okugenda tekinnatuuka. Naye mmwe muyinza okugenda mu kiseera kyonna we mwagalira. (F)Mmwe ensi teyinza kubakyawa, naye Nze enkyawa kubanga ngitegeeza ebikolwa byayo ebibi. (G)Mmwe mwambuke ku mbaga. Nze sijja kwambuka ku mbaga eno, kubanga ekiseera kyange tekinnatuuka.” Bwe yamala okubagamba ebyo n’asigala mu Ggaliraaya.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.