Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Oluyimba. Zabbuli ya Batabani ba Koola.
48 (A)Mukama mukulu, asaanira okutenderezebwa ennyo
mu kibuga kya Katonda waffe, ku lusozi lwe olutukuvu.
2 (B)Sayuuni lwe lusozi lwe olulungi olugulumivu,
olusanyusa ensi yonna.
Ku ntikko Zafoni kwe kuli
ekibuga kya Kabaka Omukulu;
3 (C)Katonda mw’abeera;
yeeraze okuba ekigo kye.
4 (D)Kale laba, bakabaka b’ensi baakuŋŋaana
ne bakyolekera bakirumbe;
5 (E)bwe baakituukako ne bakyewuunya,
ne batya nnyo ne badduka;
6 nga bakankana,
ne bajjula obulumi ng’omukazi alumwa okuzaala.
7 (F)Wabazikiriza ng’omuyaga ogw’ebuvanjuba
bwe guzikiriza ebyombo by’e Talusiisi.
8 (G)Ebyo bye twawuliranga obuwulizi,
kaakano tubirabye
mu kibuga kya Mukama ow’Eggye,
mu kibuga kya Katonda waffe,
kyalinywereza ddala emirembe gyonna.
9 (H)Ayi Katonda, tufumiitiriza ku kwagala kwo okutaggwaawo
nga tuli mu Yeekaalu yo.
10 (I)Erinnya lyo nga bwe liri ekkulu, Ayi Katonda,
bw’otyo bw’otenderezebwa mu nsi yonna.
Omukono gwo ogwa ddyo gujjudde obuwanguzi.
11 (J)Sanyuka gwe Sayuuni,
musanyuke mmwe ebibuga bya Yuda;
kubanga Katonda alamula bya nsonga.
12 Mutambule mu Sayuuni, mukibune;
mubale n’ebigo byakyo.
13 (K)Mwekalirize nnyo munda wa bbugwe waakyo
n’olusiisira lw’amaggye lwamu lwonna;
mulyoke mutegeeze ab’emirembe egiriddawo.
14 (L)Kubanga Katonda ono, ye Katonda waffe emirembe gyonna;
y’anaatuluŋŋamyanga ennaku zonna okutuusa okufa.
31 (A)Awo Dawudi n’agamba Yowaabu n’abantu bonna abaali naye nti, “Mwambale ebibukutu, mukungubagire mu maaso ga Abuneeri.” Kabaka Dawudi yennyini n’atambulira emabega w’essanduuko omwali omulambo. 32 (B)Abuneeri n’aziikibwa e Kebbulooni, kabaka n’akaaba n’eddoboozi ddene awamu n’abantu bonna ku ntaana ya Abuneeri.
33 (C)Kabaka n’akungubagira Abuneeri, ng’agamba nti,
“Abuneeri teyandifudde ng’omusirusiru bw’afa.
34 Emikono gyo tegyasibibwa, so
n’ebigere byo tebyateekebwa mu masamba.
Ng’omuntu bw’agwa mu maaso g’abo abatali batuukirivu, bwe wagwa bw’otyo.”
Abantu bonna ne bamukungubagira.
35 (D)Oluvannyuma bonna ne bagezaako okuwaliriza Dawudi alye ku mmere ng’obudde bukyalaba, naye n’alayira ng’agamba nti, “Katonda ankole bw’atyo n’okukirawo, bwe nnaakomba ku mmere oba ku kintu kyonna, okutuusa enjuba ng’emaze okugwa.”
36 Awo abantu bonna ne bakitegeera era ne kibasanyusa. Byonna kabaka bye yakolanga ne bisiimibwanga abantu. 37 (E)Era ku lunaku olwo abantu bonna ne Isirayiri yenna ne bategeera nga kabaka teyasiima kuttibwa kwa Abuneeri mutabani wa Neeri.
38 (F)Awo kabaka n’agamba abantu be nti, “Temumanyi nga leero mu Isirayiri mufuddemu omukungu era omusajja omuzira?
Okugoberera Yesu
18 (A)Awo Yesu bwe yalaba ng’ekibiina ekimwetoolodde kinene n’alagira bawunguke balage ku ludda olulala. 19 Omu ku bawandiisi b’amateeka n’amusemberera n’amugamba nti, “Omuyigiriza, nnaakugobereranga wonna w’onoogendanga!”
20 (B)Yesu n’amuddamu nti, “Ebibe birina obunnya mwe bisula, n’ennyonyi ez’omu bbanga zirina ebisu, naye Omwana w’Omuntu talina kifo kya kuwumulizaamu mutwe gwe.”
21 Omuyigirizwa we omu n’amugamba nti, “Mukama wange, nzikiriza mmale okugenda okuziika kitange.” 22 (C)Naye Yesu n’amuddamu nti, “Ngoberera! Leka abo abafu baziike abafu baabwe.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.