Add parallel Print Page Options

17 (A)“Mmulaba, naye si kaakano;
    mmutunuulira, naye tali kumpi.
Emmunyeenye eriva ewa Yakobo;
    omufuzi alisituka ng’ava mu Isirayiri.
Alibetenta Mowaabu,
    obuwanga bw’abatabani ba Seezi.
18 (B)Edomu[a] aliwangulwa;
    Seyiri, omulabe we, aliwangulwa,
    naye Isirayiri alyeyongera amaanyi.

Read full chapter

Footnotes

  1. 24:18 Edomu Abayedomu bazzukulu ba Esawu.

29 (A)Abantu bakuweerezenga,
    n’amawanga gakuvuunamirenga.
Fuganga baganda bo,
    ne batabani ba nnyoko bakuvuunamirenga.
Akolimirwe oyo anaakukolimiranga
    era aweebwenga omukisa oyo anaakusabiranga omukisa.”

Read full chapter

37 (A)Isaaka n’addamu Esawu nti, “Laba, mmufudde mukama wo, era mmuwadde baganda be bonna babe baweereza be, era mmusabidde abe n’emmere ey’empeke wamu n’envinnyo nga bingi ddala. Kale nnaakukolera ki mwana wange?”

38 (B)Esawu n’abuuza kitaawe nti, “Tolinaawo mukisa na gumu kitange? Nange mpa omukisa, ayi kitange.” Bw’atyo Esawu n’ayimusa eddoboozi lye n’akaaba.

39 (C)Awo Isaaka kitaawe n’amuddamu nti,

“Laba, onooberanga mu nsi enkalu,
    era toofunenga musulo guva waggulu mu ggulu.
40 (D)Ekitala kyo kye kinaakukuumanga,
    era onooweerezanga muganda wo.
Naye bw’olimwesimattulako,
    oliba weefunidde eddembe.”

Read full chapter

(A)Dawudi n’assa ebibinja eby’abaserikale mu Busuuli e Ddamasiko, Abasuuli ne bafuuka baddu be, era ne bamuwanga obusuulu. Mukama n’awa Dawudi obuwanguzi buli gye yagendanga.

Read full chapter