Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 138

Zabbuli Ya Dawudi.

138 (A)Nnaakutenderezanga Ayi Mukama, n’omutima gwange gwonna;
    ne mu maaso ga bakatonda abalala nnaayimbanga okukutendereza.
(B)Nvuunama nga njolekedde Yeekaalu yo Entukuvu,
    ne ntendereza erinnya lyo
    olw’okwagala kwo n’olw’obwesigwa bwo;
kubanga wagulumiza ekigambo kyo
    n’erinnya lyo okusinga ebintu byonna.
Olunaku lwe nakukoowoolerako wannyanukula;
    n’onnyongeramu amaanyi mu mwoyo gwange.

(C)Bakabaka bonna ab’omu nsi banaakutenderezanga, Ayi Mukama,
    nga bawulidde ebigambo ebiva mu kamwa ko.
Banaatenderezanga ebikolwa byo Ayi Mukama;
    kubanga ekitiibwa kya Mukama kinene.

(D)Newaakubadde nga Mukama asukkulumye,
    naye afaayo eri abo abeetoowaza; naye abeegulumiza ababeera wala.
(E)Newaakubadde nga neetooloddwa ebizibu,
    naye ggwe okuuma obulamu bwange;
ogolola omukono gwo eri abalabe bange abakambwe,
    era omukono gwo ogwa ddyo ne gumponya.
(F)Mukama alituukiriza ebyo by’anteekeddeteekedde;
    kubanga okwagala kwo, Ayi Mukama, kubeerera emirembe gyonna.
    Tolekulira ebyo bye watonda.

1 Samwiri 5

Abafirisuuti n’Essanduuko ya Mukama mu Asudodi ne Ekuloni

(A)Awo Abafirisuuti bwe bawamba essanduuko ya Katonda, ne bagiggya Ebenezeri ne bagitwala mu Asudodi; (B)ne bagisitula ne bagiteeka mu ssabo lya Dagoni[a], okuliraana Dagoni. (C)Awo abantu ba Asudodi bwe baagolokoka enkeera, baasanga Dagoni agudde mu maaso g’essanduuko ya Mukama. Ne basitula Dagoni ne bamuzzaawo. (D)Era ne bwe baagolokoka enkeera ku lunaku olwaddirira, baasanga Dagoni agudde mu maaso g’essanduuko ya Mukama, ng’omutwe gwe n’emikono gye bikutuseeko nga bigudde mu mulyango, ng’ekiwuduwudu kye, kye kisigaddewo. (E)Bakabona ba Dagoni n’abo bonna abayingira mu ssabo lya Dagoni kyebava balema okulinnya ku mulyango gw’essabo lye, ne leero.

(F)Omukono gwa Mukama ne gubonereza abantu b’e Asudodi n’emiriraano, n’abaleetako entiisa era ne bakwatibwa ebizimba. Awo abantu b’e Asudodi bwe baalaba ebyabatuukako ne boogera nti, “Essanduuko ya Katonda wa Isirayiri teteekwa kusigala wano naffe, kubanga omukono gwe gutuliko era guli ne ku lubaale waffe Dagoni.” (G)Ne bakuŋŋaanya abakungu bonna ab’Abafirisuuti ne bababuuza nti, “Tunaakola tutya essanduuko ya Katonda wa Isirayiri?” Ne baddamu nti, “Essanduuko ya Katonda wa Isirayiri etwalibwe e Gaasi.” Awo ne batwala eyo essanduuko ya Katonda wa Isirayiri.

(H)Naye bwe baagituusa eyo, omukono gwa Mukama ne gulwana n’ekibuga ekyo, ne waba okutya kungi nnyo nnyini mu batuuze b’ekibuga ekyo. Abakulu n’abato n’abaleetako ebizimba ku bitundu byabwe eby’ekyama. 10 Kyebaava baweereza essanduuko ya Katonda mu Ekuloni.

Naye essanduuko ya Katonda bwe yali ng’eneetera okutuuka mu Ekuloni, Abaekuloni ne bakaaba nga boogera nti, “Batuleetedde essanduuko ya Katonda wa Isirayiri, okututta n’abantu baffe.” 11 (I)Awo ne bakuŋŋaanya abakungu bonna ab’Abafirisuuti, ne babagamba nti, “Muzzeeyo essanduuko ya Katonda wa Isirayiri mu kifo kyayo, ereme kututta ffe n’abantu baffe.” Omukono gwa Katonda gwali gubazitooweredde nnyo era nga bajjudde entiisa ey’okufa. 12 Abo abataafa baalwala ebizimba, okukaaba mu kibuga ne kutuuka mu ggulu.

2 Abakkolinso 5:1-5

(A)Kubanga tumanyi ng’ennyumba yaffe ey’ensiisira ey’oku nsi bw’erisaanyizibwawo, tulina ennyumba okuva eri Katonda, ennyumba etaakolebwa na mikono, ey’olubeerera ey’omu ggulu. (B)Kubanga tusindira mu nnyumba eno, nga twegomba okwambazibwa ennyumba yaffe eriva mu ggulu. Kubanga bwe tulyambazibwa, tetulisangibwa nga tuli bwereere. (C)Kubanga ffe abali mu nsiisira eno tusinda, nga tuzitoowererwa, nga tetwagala kusangibwa nga tetwambadde, wabula nga twambadde, omubiri ogufa gumiribwe obulamu. (D)Oyo eyatuteekerateekera ekintu ekyo kyennyini ye Katonda oyo eyatuwa amazima g’Omwoyo.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.