Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
1 Samwiri 17:1

Dawudi ne Goliyaasi

17 (A)Awo Abafirisuuti ne bakuŋŋaanyiza eggye lyabwe e Soko ekya Yuda okulwana. Ne basiisira mu Efusudammimu ekiri wakati wa Soko ne Azeka.

1 Samwiri 17:4-11

(A)Mu lusiisira lw’Abafirisuuti ne muva essajja eddene nga lizira erinnya lyalyo Goliyaasi[a], ery’e Gaasi, ng’obuwanvu bwalyo lyali mita ssatu n’okusingawo. Lyalina enkuufiira ey’ekikomo ku mutwe gwalyo, nga lyambadde n’ekizibaawo eky’ekikomo, n’obuzito bwakyo bwali kilo ataano mu musanvu. (B)Lyali lyambadde eby’ebikomo ku magulu gaalyo, nga lirina effumu ery’ekikomo ku kibegabega kyalyo. (C)N’olunyago lw’effumu lyalyo lwali ng’omuti ogulukirwako engoye, n’omutwe gw’effumu ogw’ekyuma ng’obuzito bwagwo kilo musanvu. Eyasitulanga engabo ye yamukulemberangamu.

(D)Awo Goliyaasi n’ayimirira n’aboggolera eggye lya Isirayiri nti, “Lwaki mwetegeka okulwana? Siri Mufirisuuti, ate mmwe temuli baddu ba Sawulo? Mulonde omusajja mu mmwe aserengete gye ndi. Bw’anannwanyisa n’anzita, kale tunaafuuka baddu bammwe, naye bwe nnaamuwangula ne mutta, munaafuuka baddu baffe era munaatuweerezanga.” 10 (E)Era Omufirisuuti n’ayongera okwogera nti, “Leero, nsomooza eggye lya Isirayiri! Mumpeeyo omusajja tulwane.” 11 Sawulo ne Isirayiri yenna bwe baawulira ebigambo eby’Omufirisuuti, ne bakeŋŋentererwa ne batya nnyo.

1 Samwiri 17:19-23

19 Bali ne Sawulo n’abasajja ba Isirayiri bonna mu kiwonvu Era, balwana n’Abafirisuuti.”

20 Enkeera Dawudi n’agolokoka mu makya nnyo, endiga n’azirekera omusumba, n’ateekateeka ebintu bye yali atwala, n’agenda nga Yese bwe yamulagira. We yatuukira mu lusiisira, ng’eggye ligenda mu ddwaniro nga lirangirira olutalo. 21 Isirayiri n’Abafirisuuti baali basimbye ennyiriri, buli ggye nga lyolekedde linnaalyo. 22 Dawudi n’alekera omukuumi w’ebikozesebwa ebintu bye, n’adduka n’agenda eri eggye, n’alamusa ku baganda be. 23 (A)Awo bwe yali ng’aky’anyumya nabo, Goliyaasi, Omufirisuuti omuzira ow’e Gaasi, ne yeesowolayo okuva mu ggye ly’Abafirisuuti n’asoomooza Abayisirayiri mu bigambo bye bimu bye yayogeranga. Dawudi n’amuwulira.

1 Samwiri 17:32-49

32 (A)Awo Dawudi n’agamba Sawulo nti, “Waleme kubaawo muntu n’omu aggwaamu mwoyo olw’Omufirisuuti oyo. Omuweereza wo anaagenda n’amulwanyisa.” 33 (B)Sawulo n’amuddamu nti, “Toyinza kugenda kulwana na Mufirisuuti oyo; kubanga oli mulenzi bulenzi, songa ye abadde mulwanyi okuva mu buvubuka bwe.”

34 (C)Naye Dawudi n’addamu Sawulo nti, “Omuweereza wo amaze ebbanga ng’alunda endiga za kitaawe, era bwe waabangawo empologoma oba eddubu eyajjanga n’etwala omwana gw’endiga okuva mu kisibo, 35 nagigobereranga, ne ngikuba, ne mponya omwana gw’endiga nga nguggya mu kamwa k’ensolo eyo. Bwe yankyukiranga n’eyagala okunzita, nga ngikwata oluba ne ngikuba ne ngitta. 36 Omuweereza wo yattako ku mpologoma n’eddubu. Omufirisuuti ono atali mukomole anaaba ng’emu ku zo, kubanga asoomozezza eggye lya Katonda omulamu.” 37 (D)Dawudi n’ayogera nti, “Mukama eyamponya enjala z’empologoma n’enjala z’eddubu, alimponya ne mu mukono gw’Omufirisuuti oyo.”

Awo Sawulo n’agamba Dawudi nti, “Genda, era Mukama abeere naawe.” 38 Sawulo n’ayambaza Dawudi ebyambalo bye eby’olutalo; n’amuwa ekizibaawo eky’ekikomo, n’amuteeka n’enkuufiira ey’ekikomo ku mutwe. 39 Dawudi ne yeesiba ekitala kya Sawulo ku kyambalo, n’agezaako okutambula, naye n’alemererwa, kubanga yali tabimanyidde. Awo n’agamba Sawulo nti, “Siisobole kugenda na bino kubanga sibimanyidde.” N’abyeyambulamu. 40 N’akwata omuggo mu mukono gwe, n’alonda n’amayinja amaweweevu ataano mu kagga, n’agateeka mu nsawo ye ey’omusumba. N’addira n’envuumuulo ye mu mukono gwe n’asemberera Omufirisuuti.

41 Awo Omufirisuuti n’omusajja eyasitulanga ebyokulwanyisa bye nga yamukulembeddemu, ne basemberera Dawudi. 42 (E)Omufirisuuti n’atunuulira Dawudi n’amunyooma kubanga yali mulenzi bulenzi, ng’alabika bulungi ate n’amaaso ge nga malungi. 43 (F)N’agamba Dawudi nti, “Ndi mbwa olyoke ojje gye ndi n’emiggo?” Omufirisuuti n’akolimira Dawudi nga bwakoowoola balubaale be. 44 (G)Omufirisuuti n’agamba Dawudi nti, “Sembera wano, omubiri gwo nnaagugabira ennyonyi ez’omu bbanga n’ensolo ez’omu nsiko.”

45 (H)Naye Dawudi n’agamba Omufirisuuti nti, “Ojja gye ndi n’ekitala n’effumu, naye nze nzija gy’oli mu linnya lya Mukama ow’eggye, Katonda w’eggye lya Isirayiri gw’osoomooza. 46 (I)Olwa leero Mukama anaakuwaayo mu mukono gwange, ne nkukuba era ne nkusalako omutwe. Olwa leero nnaagabira emirambo egy’eggye ery’Abafirisuuti eri ebinyonyi eby’omu bbanga n’eri ensolo enkambwe ez’ensi, ensi yonna eryoke etegeere nga waliwo Katonda mu Isirayiri. 47 (J)Abo bonna abakuŋŋaanye wano banaategeera nga Mukama talokola na kitala wadde effumu, kubanga olutalo, lwa Mukama era mwenna agenda kubawaayo mu mukono gwaffe.”

48 Awo Omufirisuuti bwe yali ng’asembera okulumba Dawudi, Dawudi n’adduka mbiro okumusisinkana. 49 Dawudi n’aggya ejjinja mu nsawo ye n’alivuumuula ne likwasa Omufirisuuti mu kyenyi; n’agwa nga yeevuunise, n’ejjinja nga liyingidde mu kyenyi kye.

1 Samwiri 17:57-18:5

57 Amangu ddala nga Dawudi akomyewo ng’asse Omufirisuuti, Abuneeri n’amutwala mu maaso ga Sawulo, nga Dawudi asitudde omutwe gw’Omufirisuuti mu mukono gwe. 58 (A)Sawulo n’amubuuza nti, “Muvubuka, oli mwana w’ani?” Dawudi n’amuddamu nti, “Ndi mutabani wa muddu wo Yese Omubesirekemu.”

Omukwano gwa Yonasaani ne Dawudi

18 (B)Awo Dawudi bwe yamala okwogera ne Sawulo, Yonasaani n’aba bumu ne Dawudi, era n’amwagala nnyo nga bwe yali yeeyagala. Okuva ku lunaku olwo Sawulo n’atwala Dawudi okubeera naye, n’atamuganya kuddayo mu nnyumba ya kitaawe. (C)Awo Yonasaani n’atta omukago ne Dawudi kubanga yamwagala nnyo nga bwe yali yeeyagala yekka. (D)Yonasaani ne yeeyambulamu ekyambalo kye yali ayambadde n’ekanzu ye, ne yeesumulula n’ekitala kye, n’omutego gwe n’olukoba lwe, n’abiwa Dawudi.

Buli kintu Sawulo kye yatumanga Dawudi, Dawudi n’akituukirizanga bulungi nnyo, era Sawulo kyeyava amuwa ekifo ekyawaggulu mu magye. Ekyo ne kisanyusa abantu bonna, n’abakungu ba Sawulo.

1 Samwiri 18:10-16

10 (A)Olunaku olwaddirira omwoyo omubi okuva eri Katonda ne gujja ku Sawulo n’amaanyi mangi, n’ayogera eby’obunnabbi mu lubiri lwe, Dawudi nga bw’akuba entongooli nga bwe yakolanga buli lunaku. Sawulo yalina effumu mu ngalo ze, 11 (B)n’alikasuka, ng’ayogera mu mutima gwe nti, “Kanfumite Dawudi mmukwasize ku kisenge.” Naye Dawudi n’alyewoma emirundi ebiri.

12 (C)Awo Sawulo n’atya Dawudi, kubanga Mukama yali wamu naye, kyokka ng’avudde ku Sawulo. 13 (D)Sawulo kyeyava aziyiza Dawudi okujja mu maaso ge n’amufuula omuduumizi ow’abasajja olukumi, era olw’omulimu ogwo ne yeeyongera okwatiikirira mu bantu. 14 (E)Dawudi n’afuna omukisa mu buli kye yakolanga, kubanga Mukama yali wamu naye. 15 Awo Sawulo bwe yalaba Dawudi ng’afuna emikisa, n’amutya. 16 (F)Naye Isirayiri yenna ne Yuda ne baagala Dawudi, kubanga yakulemberanga bulungi.

Zabbuli 9:9-20

(A)Mukama kye kiddukiro ky’abo abanyigirizibwa;
    era kye kigo kyabwe mu biseera eby’akabi.
10 (B)Abo abamanyi erinnya lyo, Ayi Mukama, banaakwesiganga;
    kubanga abakunoonya tobaleka bokka.

11 (C)Muyimbe okutendereza Mukama, atudde ku ntebe ey’obwakabaka mu Sayuuni;
    mutegeeze amawanga gonna by’akoze.
12 (D)Ajjukira n’awoolera eggwanga
    era assaayo omwoyo eri abo abanyigirizibwa.

13 (E)Onsaasire, Ayi Mukama; otunuulire abalabe bange abangigganya,
    onzigye ku miryango gy’okufa.
14 (F)Ndyoke nkutenderezenga mu lwatu
    mu miryango[a] gy’omuwala wa Sayuuni:
    era njagulizenga mu bulokozi bwo.

15 (G)Abantu mu mawanga bagudde mu binnya bye baasima;
    era n’emitego gyabwe gimasuse ne gibakwasa.
16 Mukama yeeraze nga bw’asala emisango egy’ensonga.
    Omubi akwatiddwa mu mutego gw’emikono gye.
17 (H)Ababi balisuulibwa emagombe;
    ebyo bye bituuka ku mawanga gonna ageerabira Katonda.
18 (I)Kubanga abali mu kwetaaga tebalyerabirwa ennaku zonna,
    era n’ababonyaabonyezebwa tebaliggwaamu ssuubi emirembe gyonna.

19 Ogolokoke, Ayi Mukama, tokkiriza muntu kuwangula;
    leka amawanga gasalirwe omusango mu maaso go.
20 (J)Bakankanye n’okutya, Ayi Mukama;
    amawanga gonna galyoke gategeere nti bantu buntu.

Zabbuli 133

Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi.

133 (A)Laba bwe kiri ekirungi era nga kisanyusa,
    abooluganda okubeera awamu nga batabaganye.

(B)Kiri ng’amafuta ag’omuwendo omungi agafukibwa ku mutwe gwa Alooni
    ne gakulukutira mu kirevu;
gakulukutira mu kirevu kya Alooni,
    ne gakka ku kitogi ky’ebyambalo bye.
(C)Kiri ng’omusulo gw’oku lusozi Kerumooni,
    ogugwa ne ku nsozi za Sayuuni;
kubanga eyo Mukama gy’agabira omukisa
    n’obulamu emirembe gyonna.

2 Abakkolinso 6:1-13

(A)Ffe ng’abakolera awamu ne Katonda, tubeegayirira, ekisa kya Katonda kye mufunye, kireme kufa bwereere. (B)Kubanga agamba nti,

“Nakuwulira mu biro ebituufu,
    era ne nkuyamba ku lunaku olw’obulokozi.”

Laba kaakano kye kiseera ekituufu, era laba kaakano lwe lunaku olw’obulokozi.

Ebizibu bya Pawulo

(C)Tetuleeta kintu kyonna kyesittaza, obuweereza bwaffe buleme okunenyezebwa, naye mu buli kintu tweyoleka nga tuli baweereza ba Katonda, mu kugumiikiriza okungi okw’okubonaabona, mu bizibu byonna ebya buli ngeri, ne mu kunyolwa, (D)ne mu kukubibwa ne mu kusibibwa mu kkomera, ne mu busasamalo, ne mu kutakabana, ne mu kutunula, ne mu kusiiba, (E)ne mu bulongoofu, ne mu kumanya, ne mu bugumiikiriza, ne mu kisa, mu Mwoyo Omutukuvu, ne mu kwagala okutaliimu bukuusa, (F)ne mu kigambo eky’amazima, ne mu maanyi ga Katonda olw’ebyokulwanyisa eby’obutuukirivu ebiri mu mukono ogwa ddyo n’ogwa kkono, (G)wakati mu kitiibwa n’okunyoomebwa, wakati mu kutufeebya, ne wakati mu kututenda, nga tuyitibwa abalimba ate nga tuli ba mazima. (H)Ensi etusussa amaaso nga b’etemanyi, naye ate nga tumanyiddwa ng’abaafa, naye laba nga tuli balamu, nga tubonerezebwa naye ate nga tetuttibwa, 10 (I)nga tunakuwala naye ate nga tusanyuka bulijjo, nga tuli ng’abaavu naye nga tugaggawaza bangi, nga tuli ng’abatalina kintu naye ate nga tulina byonna.

11 (J)Twogedde lwatu gye muli Abakkolinso, n’omutima gwaffe gugaziye. 12 Musiriikiridde bingi naye ffe tubategeezezza byonna. 13 (K)Kaakano njogera nammwe nga bwe nandyogedde n’abaana, temutwekwekerera.

Makko 4:35-41

Yesu Akkakkanya Omuyaga

35 Ku lunaku olwo obudde nga buwungedde Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Tuwunguke tulage emitala.” 36 (A)N’aleka awo ekibiina, abayigirizwa be ne balinnya mu lyato Yesu mwe yali ne bagenda naye. Abantu abamu ne babagobera mu maato agaabwe. 37 Amangwago omuyaga mungi nnyo ne gukunta n’amayengo amagulumivu ne geeyiwa mu lyato ne libulako katono okujjula amazzi. 38 Yesu yali agalamidde emabega mu lyato nga yeezizise omutto yeebase. Awo abayigirizwa be ne bamuzuukusa nga bagamba nti, “Omuyigiriza, ggwe tofaayo nga ffenna tugenda okusaanawo?”

39 N’azuukuka n’aboggolera omuyaga n’agamba ennyanja nti, “Tteeka, sirika.” Omuyaga ne gusirika n’ennyanja n’eteekera ddala.

40 (B)N’ababuuza nti, “Lwaki mutidde? Temunnaba kubeera na kukkiriza?”

41 Ne batya nnyo, ne beebuuza nti, “Ono ye ani, embuyaga n’ennyanja gwe bigondera?”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.