Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 93

93 (A)Mukama afuga; ayambadde ekitiibwa.
    Mukama ayambadde ekitiibwa
    era yeesibye amaanyi.
Ensi yanywezebwa;
    teyinza kunyeenyezebwa.
(B)Entebe yo ey’obwakabaka yanywezebwa okuva edda n’edda.
    Ggwe, Ayi Katonda, oli wa mirembe na mirembe.

(C)Amayengo gatumbidde, Ayi Mukama;
    ennyanja ziyimusizza amaloboozi gaazo,
    n’amazzi g’ennyanja gayira.
(D)Mukama, Ali Waggulu Ennyo,
    oli wa maanyi okusinga okuyira kw’amazzi amangi;
    oli wa maanyi okusinga amayengo g’ennyanja.

(E)Ayi Mukama ebiragiro byo binywevu,
    n’obutukuvu bujjudde ennyumba yo,
    ennaku zonna.

Ekyamateeka Olwokubiri 7:1-11

Isirayiri n’Amawanga Amalala

(A)Mukama Katonda wo bw’akutuusanga mu nsi mw’ojja okuyingira, ogyetwalire okuba obutaka bwo, nga n’amawanga mangi amaze okugagobamu, n’amawanga gano omusanvu agakusinga obunene n’amaanyi: Abakiiti, n’Abagirugaasi, n’Abamoli, n’Abakanani, n’Abaperezi, n’Abakiivi, n’Abayebusi, (B)Mukama Katonda wo ng’amaze okugagabula mu mukono gwo, ng’obawangudde, kikugwanira obazikiririze ddala. Tokolanga nabo ndagaano, so tobakwatirwanga kisa. (C)Tofumbiriganwanga nabo. Towangayo muwala wo kufumbirwanga mutabani we, oba mutabani we okuwasanga muwala wo. (D)Kubanga bagenda kukyamya mutabani wo alekerengaawo okugoberera Mukama, baweerezenga bakatonda abalala; era obusungu bwa Mukama bunaababuubuukirangako n’akuzikiriza mangu. (E)Naye bwe muti bwe munaakolanga: Munaamenyanga ebyoto bya bakatonda baabwe, ne mwasaayasa amayinja gaabwe ge bawonga, ne mubetentabetenta empagi zaabwe eza Asera, ne mwokya bakatonda baabwe mu muliro. (F)Kubanga oli ggwanga ttukuvu eri Mukama. Mukama Katonda wo yakulonda okuva mu mawanga gonna agali ku nsi okubeeranga eggwanga lye, lye yeefunira ly’asuuta ennyo.

(G)Mukama okugenda okubalonda n’okubaagala ennyo bw’atyo; si lwa kubanga mwe mwali musinga amawanga amalala gonna obungi; nedda, mwe mwali musinga obutono mu mawanga gonna. (H)Naye lwa kubanga Mukama Katonda yabaagala, n’akuuma endagaano gye yakola ne bajjajjammwe, n’abanunula n’omukono gwe ogw’amaanyi ng’abaggya mu nsi ey’obuddu, n’abawonya obuyinza bwa Falaawo, ye kabaka w’e Misiri. (I)Noolwekyo osaananga okukitegeeranga nga Mukama Katonda wo ye Katonda; Katonda omwesigwa akuuma endagaano ye ey’okwagala okutaggwaawo eri abamwagala era abagondera ebiragiro bye okutuuka ku mirembe olukumi. 10 Naye

abo abamukyawa alibeesasuza n’okuzikirizibwa;
    tagenda kulwawo kwesasuza oyo amukyawa.

11 Noolwekyo weegenderezenga nnyo ogonderenga amateeka n’ebiragiro bye nkugamba olunaku lwa leero.

1 Timoseewo 6:11-12

Okulabula

11 (A)Naye ggwe, omuntu wa Katonda, ddukanga ebintu ebyo, ogobererenga obutuukirivu, n’okutya Katonda, n’okukkiriza, n’okwagala, n’okugumiikiriza, n’obuwombeefu. 12 (B)Lwananga okulwana okulungi okw’okukkiriza, nywezanga obulamu obutaggwaawo bwe wayitirwa, n’oyatula okwatula okulungi mu maaso g’abajulirwa abangi.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.