Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
12 (A)Lirina omukisa eggwanga eririna Katonda nga ye Mukama waalyo,
ng’abantu baalyo yabalonda babeere bantu be.
13 (B)Mukama asinziira mu ggulu
n’alaba abaana b’abantu bonna;
14 (C)asinziira mu kifo kye mw’abeera
n’alaba abantu bonna abali ku nsi.
15 (D)Ye y’ategeka ebirowoozo byabwe bonna
ne yeetegereza byonna bye bakola.
16 (E)Tewali kabaka asobola kuwona olw’obunene bw’eggye lye;
era tewali mulwanyi ayinza kuwona olw’amaanyi ge amangi.
17 (F)Okusuubira embalaasi yokka okukuwanguza olutalo kuteganira bwerere;
newaakubadde erina amaanyi mangi naye tesobola kulokola.
18 (G)Naye amaaso ga Mukama galabirira abo abamutya;
abalina essuubi mu kwagala kwe okutaggwaawo,
19 (H)abawonya okufa,
era abawonya enjala.
Adamu ne Kaawa
4 Ebyo bye bifa ku ggulu n’ensi nga bwe byatondebwa, Mukama Katonda we yamalira okutonda eggulu n’ensi.
5 (A)Tewaaliwo muddo gwonna ku nsi wadde ekimera kyonna, kubanga Mukama Katonda yali tannatonnyesa nkuba ku nsi era nga tewali muntu ow’okulima ettaka. 6 Naye ensulo n’eva mu ttaka n’efukirira ensi yonna. 7 (B)Mukama Katonda n’akola omuntu okuva mu nfuufu ey’oku nsi n’amufuuwa mu nnyindo omukka ogw’obulamu. Omuntu n’aba omulamu.
42 (A)Era bwe kiri mu kuzuukira. Omubiri guziikibwa nga gwa kuvunda, ne guzuukizibwa nga si gwa kuvunda. 43 (B)Guziikibwa nga si gwa kitiibwa, naye ne guzuukizibwa nga gujjudde ekitiibwa. Guziikibwa nga munafu, naye guzuukizibwa nga gwa maanyi. 44 (C)Guziikibwa nga mubiri bubiri, naye guzuukizibwa nga mubiri gwa mwoyo.
Kale obanga waliwo omubiri obubiri, era waliwo omubiri ogw’omwoyo, 45 (D)kyekyava kiwandiikibwa nti, “Adamu, omuntu eyasooka, yatondebwa ng’alina obulamu.” Kyokka Adamu ow’oluvannyuma ye Mwoyo aleeta obulamu. 46 Naye eky’omwoyo si kye kyasooka, wabula eky’omubiri obubiri kye kyasooka, n’oluvannyuma eky’omwoyo ne kijja. 47 (E)Omuntu eyasooka yava mu ttaka, yakolebwa mu nfuufu. Ye omuntu owookubiri yava mu ggulu. 48 (F)Ng’eyakolebwa mu nfuufu bw’ali, n’abo abaakolebwa mu nfuufu bwe bali. 49 (G)Era nga bwe tufaanana oyo eyakolebwa mu nfuufu, era bwe tutyo bwe tulifaanana oyo eyava mu ggulu.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.