Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 29

Zabbuli ya Dawudi.

29 (A)Mutendereze Mukama, mmwe abaana b’ab’amaanyi.
    Mutendereze Mukama n’ekitiibwa n’amaanyi.
(B)Mutendereze Mukama n’ekitiibwa ekisaanira erinnya lye;
    musinze Mukama mu kitiibwa eky’obutukuvu bwe.

(C)Eddoboozi lya Mukama liwulirwa ku mazzi;
    Katonda ow’ekitiibwa abwatuka,
    n’eddoboozi lye ne liwulirwa ku mazzi amangi.
(D)Eddoboozi lya Mukama ly’amaanyi;
    eddoboozi lya Mukama lijjudde ekitiibwa.
(E)Eddoboozi lya Mukama limenya emivule;
    Mukama amenyaamenya emivule gya Lebanooni.
(F)Aleetera Lebanooni okubuukabuuka ng’akayana,
    ne Siriyooni[a] ng’ennyana y’embogo.
Eddoboozi lya Mukama
    libwatukira mu kumyansa.
(G)Eddoboozi lya Mukama likankanya eddungu;
    Mukama akankanya eddungu lya Kadesi.
(H)Eddoboozi lya Mukama linyoolanyoola emivule,
    n’emiti mu bibira ne gitasigalako makoola.
Mu Yeekaalu ye, abantu bonna boogerera waggulu nti, “Ekitiibwa kibe eri Mukama!”

10 (I)Mukama atuula waggulu w’amataba ku ntebe ye ey’obwakabaka.
    Mukama ye Kabaka afuga emirembe gyonna.
11 (J)Mukama awa abantu be amaanyi;
    Mukama awa abantu be emirembe.

Isaaya 2:1-5

Olusozi lwa Mukama

(A)Kuno kwe kwolesebwa Isaaya omwana wa Amozi kwe yalaba ku Yuda ne Yerusaalemi.

(B)Olulituuka mu nnaku ez’oluvannyuma

olusozi okuli ennyumba ya Mukama Katonda
    lulinywezebwa lusinge ensozi zonna okugulumira,
luliyimusibwa lusukke ku ndala zonna,
    era amawanga gonna galilwolekera.

(C)Abantu bangi balijja bagambe nti,

Mujje twambuke tulinnye ku lusozi lwa Mukama,
    mu nnyumba ya Katonda wa Yakobo,
alyoke atuyigirize amakubo ge,
    tulyoke tutambulire mu mateeka ge.
Kubanga Mukama aliteeka amateeka ng’asinziira mu Sayuuni,
    era mu Yerusaalemi abayigirize ekigambo kye.
(D)Alisala enkaayana z’amawanga,
    aliramula emisango gy’abantu bangi,
era ebitala byabwe balibiwesaamu enkumbi,
    n’amafumu gaabwe bagaweeseemu ebiwabyo.
Eggwanga teririyimusa kitala ku ggwanga linnaalyo,
    so tebalyetegeka kulwana ntalo nate.

Mukama Ayita Ennyumba Ya Yakobo Okwenenya

(E)Ggwe ennyumba ya Yakobo,
    mujje tutambulire mu kitangaala kya Mukama Katonda.

Abaruumi 8:9-11

(A)Naye mmwe temufugibwa mubiri wabula mufugibwa Mwoyo, kubanga Omwoyo wa Katonda abeera mu mmwe. Era omuntu yenna bw’ataba na Mwoyo wa Kristo, oyo si wa Kristo. 10 (B)Era obanga Kristo ali mu mmwe, omubiri gwammwe mufu olw’ekibi, ate ng’omwoyo gwammwe mulamu olw’obutuukirivu. 11 (C)Era obanga Omwoyo w’oyo eyazuukiza Yesu okuva mu bafu abeera mu mmwe, oyo eyazuukiza Kristo mu bafu, alifuula emibiri gyammwe egifa okuba emiramu ku bw’Omwoyo we abeera mu mmwe.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.