Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Ebikolwa by’Abatume 10:44-48

44 Awo Peetero bwe yali akyayogera ebigambo ebyo, Mwoyo Mutukuvu n’akka ku abo bonna abali bawuliriza ekigambo! 45 (A)Abakkiriza abakomole bangi abaawerekera ku Peetero ne beewuunya nnyo okulaba ng’ekirabo kya Mwoyo Mutukuvu kifukibbwa ne ku baamawanga. 46 (B)Kubanga baabawulira nga boogera mu nnimi endala nga batendereza Katonda.

Awo Peetero n’agamba nti, 47 (C)“Waliwo ayinza okuziyiza abantu bano okubatizibwa n’amazzi abafunye Mwoyo Mutukuvu nga ffe bwe twamufuna?” 48 (D)Bw’atyo n’alagira babatizibwe mu linnya lya Yesu Kristo. Ne basaba Peetero agira abeera nabo okumala ennaku ntonotono.

Zabbuli 98

Zabbuli.

98 (A)Muyimbire Mukama oluyimba oluggya,
    kubanga akoze eby’ekitalo.
Omukono gwe ogwa ddyo,
    era omukono omutukuvu, gumuwadde obuwanguzi.
(B)Mukama ayolesezza obulokozi bwe,
    era abikkulidde amawanga obutuukirivu bwe.
(C)Ajjukidde okwagala kwe okutakoma
    n’obwesigwa bwe eri ennyumba ya Isirayiri.
Enkomerero z’ensi yonna zirabye
    obulokozi bwa Katonda waffe.

(D)Muyimbire Mukama n’essanyu lingi mwe ensi yonna;
    muyimbe ennyimba mu maloboozi ag’essanyu.
(E)Mutendereze Mukama n’ennanga ez’enkoba;
    n’ennanga ez’enkoba n’amaloboozi ag’okuyimba,
(F)n’amakondeere n’eddoboozi ly’eŋŋombe.
    Muyimbe n’essanyu mu maaso ga Mukama era Kabaka.

(G)Ennyanja eyire ne byonna ebigirimu,
    n’ensi ne byonna ebigirimu bijaguze.
(H)Emigga gikube mu ngalo
    n’ensozi zonna ziyimbire wamu olw’essanyu;
(I)byonna biyimbe mu maaso ga Mukama,
    kubanga ajja okulamula ensi.
Aliramula ensi mu butuukirivu;
    aliramula amawanga mu bwenkanya.

1 Yokaana 5:1-6

Obuwanguzi bwaffe

(A)Buli akkiriza nti Yesu ye Kristo, oyo aba mwana wa Katonda, era buli ayagala kitaawe w’omwana ayagala n’omwana we. Ku ekyo kwe tutegeerera nga twagala abaana ba Katonda, bwe twagala Katonda ne tukola by’atulagira. (B)Kubanga okwagala kwa Katonda kwe kukola ebyo by’atulagira okukola. Okukola by’atulagira si kizibu, kubanga buli mwana wa Katonda awangula ekibi n’okwegomba ensi, era kuno kwe kuwangula okwawangula ensi, kwe kukkiriza kwaffe. Naye ani ayinza okuwangula ensi okuggyako oyo akkiriza nti Yesu Mwana wa Katonda?

Yesu Kristo

(C)Yesu Kristo oyo yennyini ye yajja n’amazzi n’omusaayi, si na mazzi, naye n’amazzi n’omusaayi. Era ne Mwoyo ekyo akikakasa kubanga Mwoyo ye mazima.

Yokaana 15:9-17

(A)“Mbaagadde nga Kitange bw’anjagala. Noolwekyo munywererenga mu kwagala kwange. 10 (B)Bwe munaagonderanga ebiragiro byange olwo munaabanga munyweredde mu kwagala kwange, nga nange bwe ŋŋondera ebiragiro bya Kitange ne mbeera mu kwagala kwe. 11 (C)Mbategeezezza ebyo mulyoke mujjule essanyu lyange. Era essanyu lyammwe liryoke lituukirire. 12 (D)Kye mbalagira kye kino nti mwagalanenga nga Nze bwe mbaagala. 13 (E)Tewali kwagala kusinga okw’omuntu awaayo obulamu bwe olwa mikwano gye. 14 (F)Muba mikwano gyange bwe mukola bye mbalagira. 15 (G)Olwo nga sikyabayita baddu, kubanga omuddu tamanya bifa ku mukama we. Kaakano mmwe muli mikwano gyange, kubanga mbategeezezza byonna Kitange bye yaŋŋamba. 16 (H)Si mmwe mwannonda! Wabula Nze nabalonda, mulyoke mubale ebibala ate ebibala eby’olubeerera. Olwo buli kye munaasabanga Kitange mu linnya lyange anaakibawanga. 17 (I)Kye mbalagira kye kino nti mwagalanenga.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.