Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Ebikolwa by’Abatume 4:32-35

Abakkiriza Okugabanira Awamu Ebyabwe

32 (A)Abakkiriza bonna baalina omwoyo gumu n’omutima gumu; nga tewali agamba nti kino kye nnina kyange ku bwange, wazira nga bonna bagabanira wamu. 33 (B)Awo abatume ne babuulira nnyo n’amaanyi mangi ku kuzuukira kwa Mukama waffe Yesu, era bonna ne bajjula ekisa kingi. 34 (C)Mu bo temwali baali mu kwetaaga, kubanga abo abaalina ettaka oba amayumba, baabitundanga, ensimbi ezivudde mu bye batunze 35 (D)ne bazireeta ku bigere by’abatume bagabireko buli muntu ng’okwetaaga kwe bwe kwalinga.

Zabbuli 133

Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi.

133 (A)Laba bwe kiri ekirungi era nga kisanyusa,
    abooluganda okubeera awamu nga batabaganye.

(B)Kiri ng’amafuta ag’omuwendo omungi agafukibwa ku mutwe gwa Alooni
    ne gakulukutira mu kirevu;
gakulukutira mu kirevu kya Alooni,
    ne gakka ku kitogi ky’ebyambalo bye.
(C)Kiri ng’omusulo gw’oku lusozi Kerumooni,
    ogugwa ne ku nsozi za Sayuuni;
kubanga eyo Mukama gy’agabira omukisa
    n’obulamu emirembe gyonna.

1 Yokaana 1:1-2:2

Kigambo Aleeta Obulamu

(A)Tubawandiikira ku Kigambo ow’obulamu, eyaliwo okuva ku lubereberye, gwe twawulira, gwe twalaba n’amaaso gaffe, era gwe twakwatako n’engalo zaffe. (B)Obulamu bwalabisibwa, era tubulabye, tubuweerako obujulirwa, era tubategeeza obulamu obutaggwaawo obwali ne Kitaffe, era ne bulabisibwa gye tuli. (C)Tubategeeza ekyo kye twawulira era kye twalaba, mulyoke mutwegatteko, mubeere bumu naffe, era mussekimu ne Kitaffe awamu n’Omwana we Yesu Kristo. (D)Era tubawandiikira ebintu bino essanyu lyaffe liryoke lituukirire.

Okutambulira mu Musana

(E)Buno bwe bubaka bwe twafuna okuva gy’ali: tubategeeza nti, Katonda musana; mu ye temuliimu kizikiza n’akatono. (F)Noolwekyo bwe twogera nti tussakimu naye, ate ne tutambulira mu kizikiza, tuba balimba era tetuba ba mazima. (G)Naye bwe tutambulira mu musana nga ye bw’ali omusana, olwo tussakimu buli muntu ne munne, n’omusaayi gwa Yesu Omwana we, gutunaazaako buli kibi kyonna. (H)Bwe twogera nti tetulina kibi, twerimba ffekka, era n’amazima tegaba mu ffe. (I)Naye bwe twatula ebibi byaffe, ye mwesigwa era mutuukirivu okutusonyiwa n’okutunaazaako obutali butuukirivu bwonna. 10 (J)Bwe tugamba nti tetulina kibi, tumufuula mulimba era nga n’ekigambo kye tekiri mu ffe.

Kristo Omuwolereza Waffe

(K)Baana bange abaagalwa, ebintu bino mbibawandiikidde mulemenga okukola ekibi. Naye omuntu yenna bw’akolanga ekibi tulina omuwolereza eri Kitaffe, ye Yesu Kristo Omutuukirivu. (L)Ye, ye mutango olw’ebibi byaffe, naye si lwa bibi byaffe byokka, wabula ne ku lw’ebibi by’abantu bonna.

Yokaana 20:19-31

Yesu Alabikira Abayigirizwa be

19 (A)Akawungeezi ako abayigirizwa baali bakuŋŋaanidde mu kisenge ng’enzigi nsibe olw’okutya Abayudaaya, Yesu n’ajja n’ayimirira wakati mu bo. N’abagamba nti, “Emirembe gibe mu mmwe.” 20 (B)Bwe yamala okwogera ebyo n’abalaga ebibatu bye n’embiriizi ze. Abayigirizwa bwe baalaba Mukama ne basanyuka nnyo.

21 (C)N’addamu nti, “Emirembe gibe mu mmwe. Nga Kitange bwe yantuma, nange bwe mbatuma mmwe.” 22 (D)Bwe yamala okwogera ebyo n’abassiza omukka, n’abagamba nti, “Mufune Mwoyo Mutukuvu. 23 (E)Buli muntu gwe munaasonyiwanga ebibi bye anaabanga asonyiyiddwa. Abo be munaagaananga okusonyiwa, banaabanga tebasonyiyiddwa.”

Yesu Alabikira Tomasi

24 (F)Naye Tomasi, omu ku bayigirizwa ekkumi n’ababiri, ayitibwa Didumo, teyali na banne Yesu bwe yajja. 25 (G)Bayigirizwa banne ne bamugamba nti, “Tulabye Mukama waffe.”

Ye n’abagamba nti, “Okuggyako nga ndabye enkovu ez’emisumaali mu bibatu bye, ne nteeka olunwe lwange mu nkovu ezo era ne nteeka ekibatu kyange mu mbiriizi ze, sigenda kukkiriza.”

26 (H)Bwe waayitawo ennaku munaana, abayigirizwa ba Yesu, era bali mu nnyumba, Tomasi yali nabo. Yesu n’ajja, enzigi nga nsibe, n’ayimirira wakati mu bo n’abagamba nti, “Emirembe gibe mu mmwe,” 27 (I)Awo n’agamba Tomasi nti, “Kale teeka engalo zo wano, laba ebibatu byange. Teeka ekibatu kyo mu mbiriizi zange. Lekeraawo okuba atakkiriza, naye kkiriza.”

28 Tomasi n’amuddamu nti, “Ggwe Mukama wange era Katonda wange.”

29 (J)Yesu n’amugamba nti, “Okkirizza kubanga ondabye. Balina omukisa abakkiriza nga tebaliiko kye balabye.”

30 (K)Yesu yakola ebyamagero ebirala bingi ng’abayigirizwa be balaba, ebitaawandiikibwa mu kitabo kino. 31 (L)Naye bino byawandiikibwa mulyoke mukkirize nti Yesu ye Kristo Omwana wa Katonda era olw’okumukkiriza mulyoke mube n’obulamu mu linnya lye.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.