Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
135 (A)Mutendereze Mukama.
Mutendereze erinnya lya Mukama.
Mumutendereze mmwe abaddu ba Mukama;
2 (B)mmwe abaweereza mu nnyumba ya Mukama,
mu mpya z’ennyumba ya Katonda waffe.
3 (C)Mutendereze Mukama, kubanga Mukama mulungi;
mutendereze erinnya lye kubanga ekyo kisanyusa.
4 (D)Kubanga Mukama yeerondera Yakobo okuba owuwe;
ye Isirayiri gwe yeeroboza okuba eky’omuwendo.
5 (E)Mmanyi nga Mukama mukulu wa kitiibwa,
era nga Mukama oyo y’asinga bakatonda bonna.
6 (F)Mukama kyonna ky’asiima ky’akola,
mu ggulu ne ku nsi;
mu nnyanja ne mu buziba bwayo.
7 (G)Alagira ebire ne byekuluumulula okuva ku nkomerero y’ensi;
atonnyesa enkuba erimu okumyansa,
n’asumulula empewo okuva mu mawanika ge.
8 (H)Ye yakuba ababereberye ab’e Misiri;
ababereberye b’abantu n’ebibereberye by’ebisolo.
9 (I)Ye yaweereza obubonero n’ebyewuunyo wakati wo, ggwe Misiri,
eri Falaawo n’abaweereza be bonna.
10 (J)Ye yakuba amawanga amangi,
n’atta bakabaka ab’amaanyi era be bano,
11 (K)Sikoni kabaka w’Abamoli,
ne Ogi kabaka w’e Basani
ne bakabaka bonna ab’e Kanani.
12 (L)Ensi yaabwe n’agiwaayo ng’obusika,
okuba obusika bw’abantu be Isirayiri.
13 (M)Ayi Mukama, erinnya lyo lya lubeerera,
era n’obukulu bwo bumanyibwa emirembe gyonna.
14 (N)Kubanga Katonda aliggyako abantu be omusango,
era alisaasira abaweereza be.
15 Abamawanga ebifaananyi byonna ebyole bye basinza,
ebyakolebwa n’emikono gy’abantu mu ffeeza ne zaabu,
16 birina emimwa, naye tebyogera;
birina amaaso, naye tebiraba;
17 birina amatu naye tebiwulira;
so ne mu kamwa kaabyo temuyitamu mukka.
18 Ababikola balibifaanana;
na buli abyesiga alibifaanana.
19 Ayi ennyumba ya Isirayiri mutendereze Mukama;
mmwe ennyumba ya Alooni mutendereze Mukama.
20 Mmwe ennyumba ya Leevi mutendereze Mukama;
mmwe abatya Mukama mutendereze Mukama.
21 (O)Mukama ali mu Sayuuni yeebazibwe;
yeebazibwe oyo abeera mu Yerusaalemi.
Mutendereze Mukama.
Oluyimba olw’Okutendereza
26 (A)Mu biro ebyo oluyimba luno luliyimbibwa mu nsi ya Yuda.
Tulina ekibuga eky’amaanyi;
Katonda assaawo obulokozi
okuba bbugwe waakyo n’ekigo kyakyo.
2 (B)Ggulawo wankaaki,
eggwanga ettukuvu liyingire,
eggwanga erikuuma okukkiriza.
3 Mukama alikuuma mirembe
oyo amaliridde okumwesiga mu mutima gwe.
4 (C)Weesigenga Mukama ennaku zonna,
kubanga emirembe giri waggulu mu Mukama, Mukama Katonda oyo atoowaza.
5 (D)Mukama lwe lwazi olutaggwaawo,
akkakkanya ekibuga eky’amalala,
akissa wansi ku ttaka,
n’akisuula mu nfuufu.
6 (E)Kirinnyirirwa
ebigere by’abanyigirizibwa,
n’ebisinde by’abaavu.
7 (F)Ekkubo ly’abatuukirivu ttereevu;
Ggwe atuukiridde, olongoosa olugendo lw’omutuukirivu.
8 (G)Weewaawo Mukama Katonda tukulindirira
nga tutambulira mu mateeka go,
era erinnya lyo n’okumanyibwa kwo
kwe kwegomba kw’emitima gyaffe.
9 (H)Omwoyo gwange gukuyaayaanira mu kiro,
omwoyo gwange gukunoonyeza ddala.
Bw’osalira ensi omusango,
abantu b’ensi bayiga obutuukirivu.
10 (I)Omukozi w’ebibi ne bw’akolerwa ebyekisa,
tayiga butuukirivu.
Ne bw’abeera mu nsi ey’abatuukiridde,
yeeyongera kukola bibi, era talaba kitiibwa kya Mukama Katonda.
11 (J)Mukama Katonda omukono gwo guyimusibbwa waggulu,
naye tebagulaba.
Ka balabe obunyiikivu bwo eri abantu bo baswazibwe,
omuliro ogwaterekerwa abalabe bo ka gubamalewo.
12 Mukama Katonda, otuteekerateekera emirembe,
n’ebyo byonna bye tukoze, ggw’obitukoledde.
13 (K)Ayi Mukama Katonda waffe, abafuzi abalala batufuze nga wooli naye erinnya lyo lyokka lye tussaamu ekitiibwa.
14 (L)Baafa, tebakyali balamu;
egyo emyoyo egyagenda tegikyagolokoka.
Wababonereza n’obazikiriza,
wabasaanyizaawo ddala bonna, ne watabaawo akyabajjukira.
15 (M)Ogaziyizza eggwanga, Ayi Mukama Katonda
ogaziyizza eggwanga.
Weefunidde ekitiibwa,
era ogaziyizza ensalo zonna ez’ensi.
Yesu Abuuzibwa ku by’Okuzuukira
18 (A)Awo Abasaddukaayo abagamba nti tewali kuzuukira, ne bamubuuza nti, 19 (B)“Omuyigiriza, Musa yatuwa etteeka erigamba nti omusajja omufumbo bw’afanga nga tazadde baana, muganda w’omufu awasenga nnamwandu wa muganda we oyo alyoke amuzaalire abaana. 20 Waaliwo abooluganda musanvu, mukulu waabwe n’awasa, Oluvannyuma n’afa nga tazadde baana. 21 Muto w’omufu kwe kuwasa nnamwandu wa mukulu we, waayitawo akabanga katono naye n’afa, nga naye tazadde mwana. Muganda w’omufu amuddako n’awasa nnamwandu oyo, naye n’atazaala. 22 Bonna omusanvu ne bafa ne baggwaawo. Oluvannyuma n’omukazi naye n’afa. 23 Kale, mu kuzuukira kw’abafu omukazi oyo aliba muka ani, kubanga bonna yabafumbirwako?”
24 (C)Yesu n’abaddamu nti, “Ekibaleetedde okukyama bwe butamanya byawandiikibwa, n’obutategeera maanyi ga Katonda. 25 (D)Kubanga bwe balizuukira mu bafu tebagenda kufumbiriganwa, kubanga bonna baliba nga bamalayika bwe bali mu ggulu. 26 (E)Ate ebifa ku kuzuukira kw’abafu, temusomanga mu kitabo Musa bwe yali ku kisaka Katonda n’amugamba nti, ‘Nze Katonda wa Ibulayimu era Katonda wa Isaaka era Katonda wa Yakobo?’ 27 Katonda si Katonda w’abafu, wabula ow’abalamu. Mukyamye nnyo.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.