Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Firipo n’Omwesiyopya
26 (A)Awo malayika wa Mukama n’agamba Firipo nti, “Kwata ekkubo eriraga mu bukiikaddyo, eriva e Yerusaalemi nga liyita mu ddungu okugenda e Ggaaza.” 27 (B)Firipo n’akwata ekkubo eryo. Mu kiseera ekyo waaliwo omusajja Omwesiyopya mu kkubo eryo ng’ava mu kusinza e Yerusaalemi. Yali mulaawe nga mukungu mu lubiri lwa Kandake, kabaka omukazi owa Esiyopya, era ye yali omuwanika we omukulu. 28 Yali atudde mu ggaali lye ng’addayo ewaabwe nga bw’asoma ekitabo kya nnabbi Isaaya. 29 (C)Awo Mwoyo Mutukuvu n’agamba Firipo nti, “Semberera eggaali eryo oligendereko.”
30 Firipo n’adduka n’atuuka ku ggaali, n’awulira Omwesiyopya ng’asoma mu kitabo kya nnabbi Isaaya. N’amubuuza nti, “By’osoma obitegeera?”
31 Omwesiyopya n’addamu nti, “Nnaabitegeera ntya nga sirina abinnyinnyonnyola?” N’asaba Firipo ayingire mu ggaali lye batuule bombi.
32 Ekyawandiikibwa kye yali asoma nga kigamba bwe kiti nti:
“Yatwalibwa ng’endiga egenda okuttibwa.
Ng’omwana gw’endiga bwe gusiriikirira nga bagusalako ebyoya,
naye bw’atyo teyayasamya kamwa ke.
33 (D)Yajoogebwa n’atalamulwa mu bwenkanya.
Ani alyogera ku bazzukulu be?
Kubanga ekiseera kye eky’obulamu bwe ku nsi kyakoma!”
34 Omulaawe kwe kubuuza Firipo nti, “Nnyinnyonnyola, munnange, nnabbi gw’ayogerako; yeeyogerako yekka oba ayogera ku mulala?” 35 (E)Awo Firipo n’atandika n’Ekyawandiikibwa ekyo n’amubuulira Enjiri ya Yesu Kristo.
36 (F)Bwe baali bagenda ne batuuka awali amazzi, omulaawe n’agamba nti, “Laba amazzi! Kale lwaki sibatizibwa?” 37 Awo Firipo n’amugamba nti, “Oyinza okubatizibwa, bw’oba ng’okkiriza n’omutima gwo gwonna.” Omulaawe n’addamu nti, “Nzikiriza nga Yesu Kristo Mwana wa Katonda.” 38 Awo n’alagira omugoba w’eggaali lye okuyimirira, ne bakka mu mazzi, Firipo n’amubatiza. 39 (G)Bwe baava mu mazzi amangwago Omwoyo wa Mukama n’atwala Firipo, Omulaawe n’ataddayo kumulaba nate, naye n’atambula olugendo lwe ng’ajjudde essanyu. 40 (H)Naye Firipo n’alabikira mu Azoto, n’agenda ng’abuulira Enjiri mu bibuga byonna eby’omu kitundu ekyo okutuukira ddala e Kayisaliya.
25 (A)Mu ggwe mwe muva ettendo lyange mu kibiina ekinene, ne nkutendereza olw’ebyo by’onkoledde.
Obweyamo bwange nnaabutuukirizanga mu maaso gaabo abakutya.
26 (B)Abaavu banaalyanga ne bakkuta,
abo abanoonya Mukama banaamutenderezanga.
Emitima gyabwe ginaajaguzanga emirembe gyonna.
7 (A)Abaagalwa, twagalanenga, kubanga okwagala kuva eri Katonda, era buli alina okwagala mwana wa Katonda, era amanyi Katonda. 8 (B)Naye buli atalina kwagala tamanyi Katonda, kubanga Katonda kwagala. 9 (C)Katonda yatulaga okwagala kwe, bwe yatuma mu nsi Omwana we omu yekka bw’ati, tulyoke tube abalamu ku bw’oyo. 10 (D)Mu kino mwe tutegeerera ddala okwagala kwennyini, kubanga teyakikola lwa kuba nti ffe twali twagala Katonda, naye ye yennyini ye yatwagala, n’awaayo Omwana we ng’omutango olw’ebibi byaffe. 11 (E)Kale abaagalwa, nga Katonda bwe yatwagala bw’atyo naffe tuteekwa okwagalananga. 12 (F)Tewali n’omu eyali alabye ku Katonda, naye bwe twagalana, Katonda abeera mu ffe, n’okwagala kwe ne kulabikira mu ffe. 13 (G)Mu ekyo mwe tutegeerera nti Katonda ali mu ffe era naffe tuli mu Ye, olwa Mwoyo gw’atuwadde. 14 (H)Era ffe twamulaba n’amaaso gaffe, kyetuva tutegeeza nti Kitaffe yatuma Omwana we okuba Omulokozi w’ensi.
15 (I)Kale buli ayatula nti Yesu Mwana wa Katonda, nga Katonda ali mu ye era nga naye ali mu Katonda. 16 (J)Ffe tumanyi okwagala kwa Katonda era tukkiririza mu kwagala kwe okwo kw’alina gye tuli.
Katonda kwagala, era buli abeera n’okwagala abeera mu Katonda, ne Katonda abeera mu ye. 17 (K)Bwe twagala bannaffe nga Kristo bwe yakola ng’ali mu nsi muno, tetulibaako kye tweraliikirira ku lunaku olw’okusalirako omusango. 18 (L)Mu kwagala temuliimu kutya, kubanga okwagala okutuukiridde kumalawo okutya; kubanga okutya kulimu okubonerezebwa, na buli atya, aba tannatuukirira mu kwagala.
19 (M)Tulina okwagala kubanga Ye ye yasooka okutwagala. 20 (N)Omuntu yenna bw’agamba nti, “Njagala Katonda,” naye n’akyawa muganda we, omuntu oyo mulimba. Kubanga buli atayagala muganda we gw’alabako, tasobola kwagala Katonda gw’atalabangako. 21 (O)Era Katonda yennyini yatulagira nti, “Buli ayagala Katonda ayagalenga ne muganda we.”
Yesu gwe Muzabbibu gwennyini
15 (A)“Nze muzabbibu ogw’amazima, ate Kitange ye mulimi. 2 Buli ttabi eriri ku Nze eritabala bibala aliggyako. Naye buli ttabi eribala ebibala, alirongoosa lyeyongerenga okubala. 3 (B)Mmwe kaakano muli balongoofu olw’ekigambo kye mbagambye; 4 (C)mubeere mu Nze era nange mbeere mu mmwe. Ng’ettabi bwe litayinza kubala bibala ku bwalyo nga teriri ku muzabbibu, bwe mutyo nammwe temuyinza kubala bibala bwe mutabeera mu Nze.
5 (D)“Nze muzabbibu, mmwe matabi. Buli abeera mu Nze nange ne mbeera mu ye oyo abala ebibala bingi. Kubanga awatali Nze temuliiko kye muyinza kukola. 6 (E)Omuntu bw’atabeera mu nze asuulibwa ebweru ng’ettabi erikaze. Amatabi ng’ago bagakuŋŋaanya ne bagasuula ku muliro ne gaggya. 7 (F)Naye bwe munywerera mu Nze ne munyweza ebigambo byange, buli kye munaasabanga kinaabakolerwanga. 8 (G)Bwe mubala ebibala ebingi, muba bayigirizwa bange, ne Kitange, agulumizibwa.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.