Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
53 (A)Omusirusiru ayogera mu mutima gwe nti,
“Tewali Katonda.”
Boonoonefu, n’empisa zaabwe mbi nnyo;
tewali n’omu akola kirungi.
2 (B)Katonda atunuulira abaana b’abantu
ng’asinziira mu ggulu,
alabe obanga mulimu mu bo abamutegeera
era abamunoonya.
3 (C)Bonna bamukubye amabega
ne boonooneka;
tewali akola kirungi,
tewali n’omu.
4 Aboonoonyi tebaliyiga?
Basaanyaawo abantu bange, ng’abalya emmere;
so tebakoowoola Katonda.
5 (D)Balitya okutya okutagambika;
kubanga Katonda alisaasaanya amagumba g’abalabe be.
Baliswazibwa
kubanga Katonda yabanyooma.
6 Singa obulokozi bwa Isirayiri bufuluma mu Sayuuni,
Katonda n’akomyawo emirembe eri abantu be,
Yakobo asanyuka ne Isirayiri n’ajaguza.
10 Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Samwiri nti, 11 (A)“Nejjusizza okufuula Sawulo kabaka, kubanga avudde kukungoberera, n’atakolera ku biragiro byange.” Samwiri n’anyolwa nnyo, n’akabira Mukama ekiro kyonna.
12 (B)Enkeera ku makya Samwiri n’agolokoka n’agenda okusisinkana Sawulo, naye ne bamutegeeza nti, “Sawulo yazze e Kalumeeri gye yeezimbidde ekijjukizo, kyokka kaakano avuddeyo n’aserengeta e Girugaali.”
13 Awo Samwiri bwe yamutuukako, Sawulo n’ayogera nti, “Mukama akuwe omukisa. Ngoberedde ebiragiro bya Mukama.” 14 Naye Samwiri n’amuddamu nti, “Ate okubejjagala okw’endiga n’okuŋooŋa kw’ente bye mpulira biva wa?” 15 Sawulo n’amuddamu nti, “Abaserikale baaziggye ku Bamaleki. Baaleseewo ente n’endiga ezisinga obulungi okuba ebiweebwayo eri Mukama Katonda wo, naye ebirala byonna twabizikiririzza ddala.”
16 Awo Samwiri n’agamba Sawulo nti, “Sirika! Ka nkutegeeze Mukama kye yaŋŋambye ekiro.” Sawulo n’amuddamu nti, “Ntegeeza.” 17 (C)Samwiri n’amugamba nti, “Newaakubadde nga wali weeraba ng’oli mutono, tewafuuka mukulu wa bika bya Isirayiri? Mukama yakufukako amafuta okuba kabaka wa Isirayiri. 18 Naakutuma omulimu, ng’agamba nti, ‘Genda ozikiririze ddala abalina ebibi abo Abamaleki, obalwanyise okutuusa lw’olibamalirawo ddala.’ 19 (D)Lwaki tewagondedde ddoboozi lya Mukama? Lwaki mwalulunkanidde omunyago ne mukola ekibi mu maaso ga Mukama?”
20 (E)Sawulo n’addamu Samwiri nti, “Nagondedde eddoboozi lya Mukama, era nagenze ku mulimu Mukama gwe yantumye. Nazikiririzza ddala Abamaleki era ne ndeeta Agagi kabaka waabwe. 21 Abaserikale baatute endiga n’ente, ebisinga obulungi ku ebyo ebyali biteekeddwa okuzikirizibwa, babiweeyo eri Mukama Katonda wo e Girugaali.”
22 (F)Naye Samwiri n’amugamba nti,
“Mukama asanyukira nnyo ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka,
okusinga okugondera eddoboozi lya Mukama?
Okugonda kusinga ssaddaaka,
era n’okuwuliriza kusinga amasavu g’endiga ennume.
23 (G)Kubanga obujeemu buli ng’ekibi eky’okusamira,
era n’obukakanyavu buli ng’ekibi eky’okusinza bakatonda abalala.
Kubanga ojeemedde ekigambo kya Mukama,
naye akugaanye okuba kabaka.”
22 (A)Mu kibuga ekyo saalabamu yeekaalu, Mukama Katonda Ayinzabyonna awamu n’Omwana gw’Endiga, bo ye yeekaalu yaakyo. 23 (B)Era ekibuga ekyo tekyetaaga njuba wadde omwezi okukyakira, kubanga ekitiibwa kya Katonda kye kikimulisa, era Omwana gw’Endiga ye ttabaaza yaakyo. 24 (C)Ekitangaala kyakyo kye kinaamulisanga amawanga ag’omu nsi, era abafuzi ab’omu nsi balijja ne bakireetera ekitiibwa. 25 (D)Emiryango gyakyo tegiggalwenga emisana, era yo teriba kiro. 26 Kirifuna ekitiibwa n’ettendo eby’amawanga. 27 (E)Tewali ekitali kirongoofu ekirikkirizibwa okuyingira mu kyo, wadde abo abatambulira mu mpisa ezitali nnongoofu oba abalimba, wabula abalikibeeramu, beebo bokka, amannya gaabwe agaawandiikibwa mu kitabo eky’obulamu eky’Omwana gw’Endiga.
Omugga ogw’Obulamu
22 (F)Awo malayika n’andaga omugga ogw’amazzi ag’obulamu agamasamasa ng’endabirwamu, nga gukulukuta okuva mu ntebe ey’obwakabaka eya Katonda, n’ey’Omwana gw’Endiga, 2 (G)nga gukulukutira wakati mu luguudo olunene. Ku mbalama zombi ez’omugga kwaliko emiti egy’obulamu, gumu ku buli ludda, egibala ebibala ekkumi n’ebibiri era nga buli mwezi kubeerako ebibala eby’engeri endala; n’amakoola gaagwo nga gakozesebwa ng’eddagala okuwonya amawanga. 3 (H)Mu kibuga ekyo tewalibaayo kikolimo nate. Entebe ey’obwakabaka eya Katonda n’ey’Omwana gw’Endiga ziribeera eyo, n’abaddu be balimuweereza, 4 (I)era banaalabanga amaaso ge, n’erinnya lye liriwandiikibwa mu byenyi byabwe. 5 (J)Teribaayo kiro, noolwekyo ettabaaza oba enjuba tebiryetaagibwa, kubanga Mukama Katonda y’anaabaakiranga era banaafuganga emirembe n’emirembe.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.