Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Mukama Ayita Samwiri
3 (A)Awo omuvubuka Samwiri n’aweerezanga mu maaso ga Mukama ng’alabirirwa Eri. Mu biro ebyo ekigambo kya Mukama kyali kya bbula, era nga n’okwolesebwa kwa bbalirirwe.
2 (B)Mu kiseera ekyo, Eri eyali akaddiye, n’amaaso ge nga gayimbadde, yali awumuddeko mu kisenge kye. 3 (C)Ettabaaza[a] ya Katonda yali tennazikira nga ne Samwiri yeebase mu yeekaalu[b] ya Mukama ng’aliraanye essanduuko ya Katonda we yali. 4 (D)Awo Mukama n’akoowoola Samwiri nti, “Samwiri, Samwiri!”
N’addamu nti, “Nze nzuuno.” 5 N’adduka n’agenda ewa Eri n’amugamba nti, “Nze nzuuno, ompise.” Naye Eri n’amuddamu nti, “Sikuyise, ddayo weebake.”
6 Mukama n’addamu n’amuyita, “Samwiri!” Samwiri n’asituka n’agenda eri Eri, n’amugamba nti, “Nze nzuuno, ompise.” Naye Eri n’amuddamu nti, “Sikuyise, mutabani, ddayo weebake.”
7 (E)Samwiri yali tannategeera nga Mukama y’amuyita, nga n’ekigambo kya Mukama tekimubikkulirwanga.
8 Mukama n’addamu n’akoowoola Samwiri omulundi ogwokusatu, Samwiri n’asituka n’agenda eri Eri n’amugamba nti, “Nzuuno, ompise.”
Awo Eri n’ategeera nti Mukama y’ayita omuvubuka. 9 Eri kyeyava agamba Samwiri nti, “Genda weebake, bw’anaddamu okukuyita, oddamu nti, Yogera, Mukama, kubanga omuweereza wo awulira.” Awo Samwiri n’agenda n’agalamira mu kifo kye.
10 Mukama n’ajja nate, n’amukoowoola ng’olubereberye nti, “Samwiri! Samwiri!” Samwiri n’addamu nti, “Yogera, Ayi Mukama kubanga omuweereza wo awulira.”
11 (A)Awo Mukama n’agamba Samwiri nti, “Laba, ndikumpi okukola ekigambo mu Isirayiri ekirireetera amatu ga buli muntu alikiwulira okuwaawaala. 12 (B)Ku lunaku olwo ndituukiriza ebyo byonna bye nnali njogedde ku nnyumba ya Eri. 13 (C)Namulabula nti ndibonereza ennyumba ye ennaku zonna, olw’obutali butuukirivu bwa batabani be abavvoola Katonda, n’akimanya naye n’atabaziyiza. 14 (D)Kyenva ndayirira ennyumba ya Eri nga ŋŋamba nti, ‘Omusango oguli ku nnyumba ya Eri tegulisonyiyibwa na ssaddaaka newaakubadde ekiweebwayo ennaku zonna.’ ”
15 Samwiri n’addayo n’agalamira okutuusa obudde lwe bwakya, n’aggulawo enzigi ez’ennyumba ya Mukama. N’atya okutegeeza Eri okwolesebwa kwe yafuna, 16 naye Eri n’amuyita n’amugamba nti, “Samwiri, mwana wange.” N’addamu nti, “Nze nzuuno.”
17 (E)Eri n’amubuuza nti, “Kiki kye yakugambye? Tokinkisa. Katonda akuleeteko ekibonerezo eky’amaanyi bw’onoobaako ekigambo kyonna ky’onkisizza ku ebyo bye yakugambye.” 18 (F)Awo Samwiri n’amutegeeza buli kimu, n’atabaako kigambo na kimu kye yamukisa. Eri n’ayogera nti, “Ye Mukama, akole nga bw’asiima.”
19 (G)Mukama n’abeera wamu ne Samwiri, n’akula. Buli kigambo kye yayogera ku nnyumba ya Eri ne kituukirira. 20 (H)Isirayiri yenna okuva mu Ddaani okutuuka e Beeruseba ne bategeera nga Samwiri ateekeddwawo okuba nnabbi wa Mukama.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
139 (A)Ayi Mukama, okebedde omutima gwange,
n’otegeera byonna ebiri munda yange.
2 (B)Bwe ntuula omanya, ne bwe ngolokoka omanya;
era otegeera byonna bye ndowooza, ne bwe mbeera ewala ennyo.
3 (C)Otegeera okutambula kwange kwonna n’okuwummula kwange.
Omanyi amakubo gange gonna.
4 (D)Ekigambo kye nnaayogera, Ayi Mukama,
okimanya nga sinnaba na kukyogera.
5 (E)Ondi mu maaso n’emabega,
era ontaddeko omukono gwo.
6 (F)Okumanya okw’engeri eyo kunsukkiridde,
era nkwewuunya nnyo, kunnema okutegeera.
13 (A)Ggwe watonda byonna ebiri munda mu nze;
ggwe wammumbira mu lubuto lwa mmange.
14 (B)Nkutendereza, kubanga wankola mu ngeri ey’entiisa era ey’ekitalo;
emirimu gyo gya kyewuunyo;
era ekyo nkimanyidde ddala bulungi.
15 (C)Wammanya nga ntondebwa,
bwe nakolerwa mu kyama;
bwe natondebwa mu buziba bw’ensi n’amagezi go amangi.
16 Wandaba nga si natondebwa.
Ennaku zange zonna ze wanteekerateekera
zawandiikibwa mu kitabo kyo.
17 (D)By’ondowooleza nga bya muwendo munene, Ayi Katonda!
Omuwendo gwabyo munene!
18 Singa ngezaako okubibala
bisinga omusenyu obungi.
Ne bwe ngolokoka mu makya
oba okyandowoozaako.
5 (A)Kubanga tetweyogerako wabula Kristo Yesu Mukama, naffe tuli baddu bammwe ku lwa Yesu. 6 (B)Kubanga Katonda oyo ye yagamba nti, “Omusana gwake mu kizikiza,” ye yayaka mu mitima gyaffe, okuleetera abantu ekitangaala eky’okumanya ekitiibwa kya Katonda ekirabikira mu Yesu Kristo.
7 (C)Naye kaakano tulina ekyobugagga kino mu bibya eby’ebbumba, okulaga nti obuyinza bwonna bwa Katonda, so si bwaffe. 8 Tunyigirizibwa erudda n’erudda, naye ne tutabetenteka. Ne tweraliikirira, naye ne tutazirika. 9 (D)Tuyigganyizibwa, naye Katonda tatuleka. Tusuulibwa wansi, naye ne tutabetentuka, 10 nga tulaga okufa kwa Yesu bulijjo mu mibiri gyaffe, okufa kwa Yesu kulyoke kulabisibwe mu mibiri gyaffe. 11 Kubanga ffe abalamu tuweebwayo eri okufa olwa Yesu, obulamu bwa Yesu bulyoke bulabisibwe mu mibiri gyaffe. 12 Kale nno okufa kukolera mu ffe, naye obulamu bukolera mu mmwe.
Yesu ye Mukama wa Ssabbiiti
23 (A)Awo mu biro ebyo Yesu yali ayita mu nnimiro y’emmere ey’empeke ku Ssabbiiti, abayigirizwa be ne batandika okunoga ku birimba by’emmere ey’empeke. 24 (B)Abafalisaayo ne bagamba Yesu nti, “Lwaki abayigirizwa bo bakola ekitakkirizibwa ku Ssabbiiti.” 25 Yesu n’abaddamu nti, “Temusomanga ku Dawudi kye yakola bwe yalina okwetaaga n’enjala ng’emuluma, ye ne be yali nabo, 26 (C)bwe yayingira mu nnyumba ya Katonda mu biro bya Abiyasaali kabona omukulu, n’alya emigaati egy’okulaga n’awaako n’abo be yali nabo, egitakkirizibwa kuliibwako bantu balala okuggyako bakabona.” 27 (D)N’abagamba nti, “Ssabbiiti yateekebwawo lwa muntu, so si omuntu ku lwa Ssabbiiti. 28 (E)Noolwekyo Omwana w’Omuntu ye Mukama wa Ssabbiiti.”
3 (F)Awo Yesu n’ayingira nate mu kkuŋŋaaniro, nga mulimu omusajja eyalina omukono ogukaze. 2 (G)Baali balindirira okulaba obanga anaamuwonya ku Ssabbiiti balyoke bamuwawaabire. 3 Yesu n’agamba omusajja eyalina omukono ogukaze nti, “Yimirira wakati.” 4 N’abagamba nti, “Kikkirizibwa okukola ekirungi ku Ssabbiiti oba okukola ekibi? Okuwonya bulamu oba okubuzikiriza?” Naye ne batamuddamu. 5 Yesu n’abatunuulira ng’akambuwadde era nga munakuwavu nnyo olw’obukakanyavu bw’emitima gyabwe, n’agamba omusajja nti, “Golola omukono gwo.” N’agolola omukono gwe, ne guwona. 6 (H)Amangwago Abafalisaayo ne bafuluma ne bateesa n’Abakerodiyaani nga bwe banaamuzikiriza.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.