Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
ס Sameki
113 (A)Nkyawa abalina emitima egisagaasagana,
naye nze njagala amateeka go.
114 (B)Ggwe kiddukiro kyange era ggwe ngabo yange;
essuubi lyange liri mu kigambo kyo.
115 (C)Muve we ndi mmwe abakola ebitali bya butuukirivu,
mundeke nkwate ebiragiro bya Katonda wange.
116 (D)Onnyweze nga bwe wasuubiza, ndyoke mbeere omulamu;
nneme kuswazibwa ne nzigwamu essuubi.
117 Onnyweze ndyoke nfuuke ow’eddembe,
era nkwatenga ebiragiro byo bulijjo.
118 Onyooma abo bonna abaleka ebiragiro byo;
weewaawo obugezigezi bwabwe tebuliimu kantu.
119 (E)Abakola ebibi bonna mu nsi obalaba ng’ebisasiro;
nze kyenva njagala ebyo bye walagira.
120 (F)Nkankana nzenna nga nkutya,
era ntya amateeka go.
ע Ayini
121 Nkoze eby’obwenkanya era eby’obutuukirivu;
tondeka mu mikono gy’abo abanjooga.
122 (G)Okakase okundaganga ekisa kyo bulijjo,
oleme kukkiriza ababi okunjooganga.
123 (H)Amaaso gange ganfuuyiririra, nga nnindirira obulokozi bwo
n’ebyo bye wasuubiza mu butuukirivu bwo.
124 (I)Nze omuddu wo nkolaako ng’okwagala kwo bwe kuli;
era onjigirize amateeka go.
125 (J)Ndi muddu wo, mpa okwawula ekirungi n’ekibi;
ndyoke ntegeere ebiragiro byo.
126 Ekiseera kituuse, Ayi Mukama, okubaako ky’okola,
kubanga amateeka go gamenyeddwa.
127 (K)Naye nze njagala amateeka go
okusinga zaabu, wadde zaabu omulongoose.
128 (L)Kubanga mmanyi ng’ebiragiro byo byonna bituufu;
nkyawa buli kkubo lyonna ekyamu.
8 Ne wagwawo olutalo nate, Dawudi n’agenda okulwana n’Abafirisuuti, n’abakuba n’atta bangi ku bo, abaasigalawo ne badduka.
9 (A)Awo omwoyo omubi okuva eri Mukama ne gujja ku Sawulo bwe yali ng’atudde mu nnyumba ye, ng’akutte effumu mu mukono, Dawudi bwe yali ng’akuba entongooli. 10 (B)Sawulo n’agezaako okumufumitira ku kisenge n’effumu, naye Dawudi n’alyewoma, ne likwasa ekisenge. Ekiro ekyo Dawudi n’adduka n’awona.
11 (C)Sawulo n’atuma ababaka bagende bakuume ennyumba ya Dawudi, bamutte enkeera. Naye Mikali mukyala wa Dawudi n’amulabula n’amugamba nti, “Bw’otodduke kiro kino, bwe bunaakya bajja kukutta.” 12 (D)Awo Mikali n’assiza Dawudi mu ddirisa, n’adduka n’agenda ne yeekweka. 13 Mikali n’addira ekifaananyi ekyole n’akiteeka ku kitanda, n’akibikkako olugoye, n’assa n’ebyoya eby’embuzi ku mutwe gwakyo.
14 (E)Awo Sawulo bwe yatumayo ababaka okuwamba Dawudi, Mikali n’abagamba nti, “Mulwadde.” 15 Sawulo n’abatuma baddeyo bamulabe era n’abalagira nti, “Mumundeetere mu kitanda kye, mmutte.” 16 Naye abasajja bwe bagenda yo, ne balaba ekifaananyi ekyole mu kitanda, nga ne ku mutwe kuliko ebyoya by’embuzi.
17 Sawulo n’abuuza Mikali nti, “Lwaki wannimbye bw’otyo, n’oleka omulabe wange okudduka, n’okuwona n’awona?” Mikali n’amuddamu nti, “Yaŋŋambye nti, ‘Bw’otondeke kugenda nzija kukutta.’ ”
Yesu Atambulira ku Mazzi
45 (A)Amangwago Yesu n’alagira abayigirizwa be basaabale mu lyato bawunguke bagende emitala w’ennyanja e Besusayida abasange eyo, ng’amaze okusiibula ebibiina by’abantu. 46 (B)Bwe yamala okubasiibula n’alinnya ku lusozi okusaba.
47 Awo obudde bwe bwawungeera, Yesu ng’asigadde yekka ku lukalu, 48 n’abalengera nga bategana n’eryato kubanga waaliwo omuyaga mungi n’amayengo amagulumivu ebyabafuluma mu maaso gye baali balaga. Awo obudde bwali bunaatera okukya nga ku ssaawa mwenda ez’ekiro, n’ajja gye bali ng’atambulira ku mazzi, n’aba ng’ayagala okubayitako. 49 (C)Naye bwe baamulaba ng’atambulira ku nnyanja ne baleekaana nnyo, bonna, nga batidde, kubanga baalowooza nti muzimu, 50 (D)kubanga bonna baamulaba ne batya.
Naye n’ayanguwa okwogera nabo, n’abagamba nti, “Mugume omwoyo. Ye Nze, temutya.” 51 (E)Awo n’alinnya mu lyato, omuyaga ne gulekeraawo okukunta! Abayigirizwa be ne bawuniikirira nnyo. 52 (F)Tebategeera kyamagero eky’emigaati kubanga emitima gyabwe gyali mikakanyavu.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.