Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
99 (A)Mukama afuga,
amawanga gakankane;
atuula wakati wa bakerubi,
ensi ekankane.
2 (B)Mukama mukulu mu Sayuuni;
agulumizibwa mu mawanga gonna.
3 (C)Amawanga gonna gatendereze erinnya lyo ekkulu era ery’entiisa.
Mukama mutukuvu.
4 (D)Ye Kabaka ow’amaanyi, ayagala obwenkanya.
Onywezezza obwenkanya;
era by’okoledde Yakobo bya bwenkanya
era bituufu.
5 (E)Mumugulumize Mukama Katonda waffe;
mumusinzize wansi w’entebe y’ebigere bye.
Mukama mutukuvu.
6 (F)Musa ne Alooni baali bamu ku bakabona be;
ne Samwiri yali mu abo abaakoowoolanga erinnya lye;
baasabanga Mukama
n’abaanukula.
7 (G)Yayogera nabo mu mpagi ey’ekire;
baagondera amateeka ge n’ebiragiro bye, bye yabawa.
8 (H)Ayi Mukama Katonda waffe,
wabaanukulanga;
n’obeeranga Katonda asonyiwa eri Isirayiri,
newaakubadde wababonerezanga olw’ebikolwa byabwe ebibi.
9 Mugulumizenga Mukama Katonda waffe,
mumusinzizenga ku lusozi lwe olutukuvu,
kubanga Mukama Katonda waffe mutukuvu.
11 (A)Awo Erukaana n’addayo ewuwe e Lama, naye omwana n’asigala ng’aweereza Mukama Katonda, ng’alabirirwa Eri.
Batabani ba Eri
12 (B)Batabani ba Eri baali basajja ba mpisa mbi, nga tebatya Mukama Katonda. 13 (C)Omuntu yenna bwe yawangayo ssaddaaka, omuweereza wa kabona yajjanga, ng’akutte ewuuma ey’amannyo asatu ng’ennyama ekyatokosebwa, 14 n’asonseka ewuuma mu nsaka oba mu bbinika, oba mu ntamu, oba mu sefuliya, era ebyo byonna ewuuma bye yakwasanga, kabona bye yeetwaliranga. Bwe batyo bwe baakolanga Abayisirayiri bonna abajjanga okusinziza e Siiro. 15 Ate amasavu bwe gaabanga tegannayokebwa, omuweereza wa kabona yajjanga n’agamba omuntu awaayo ssaddaaka nti, “Kabona muwe ku nnyama ayokye, kubanga tajja kukkiriza kutwala nnyama nfumbe ayagala mbisi yokka[a].”
16 Omusajja bwe yamuddangamu nti, “Leka bamale okwokyako amasavu, olyoke otwale yonna gy’oyagala,” omuweereza yaddangamu nti, “Nedda, oteekwa okugimpa kaakano, bwe kitaba bwe kityo, nzija kugitwala lw’amaanyi.”
17 (D)Ekibi ky’abavubuka abo ne kiba kinene nnyo mu maaso ga Mukama, kubanga baanyoomanga ekiweebwayo kya Mukama Katonda.
19 (A)Omu akyayinza okumbuuza nti, Lwaki Katonda atunenya, obanga y’atuleetera okukola nga bw’asiima? 20 (B)Naye ggwe omuntu obuntu, ggwe ani addamu ng’owakanya Katonda? Ekibumbe kiyinza okubuuza eyakibumba nti, “Lwaki wammumba bw’oti?” 21 (C)Oba omubumbi talina buyinza ku bbumba, okubumbamu ekibya eky’omugaso, oba okubumbamu ekitali kya mugaso?
22 (D)Katonda yayagala okulaga obusungu bwe, n’amaanyi ge eri abo bonna abaali basaanira okuzikirizibwa, kyokka n’abalaga obugumiikiriza. 23 (E)Ekyo yakikola alyoke amanyise obugagga bw’ekitiibwa kye, eri abo bonna be yeerondera okugabanira awamu ekitiibwa kye. 24 (F)Naffe yatuyita, si Bayudaaya bokka naye n’Abaamawanga. 25 (G)Ne mu Koseya agamba nti,
“Abataali bantu bange ndibayita abantu bange,
Ne gwe nnali ssaagala, ndimwagala.”
26 (H)Mu kifo omwo mwe baayitirwa nti,
“Temuli bantu bange,
mwe baliyitirwa abaana ba Katonda omulamu.”
27 (I)Isaaya ayogera eri Isirayiri mu ddoboozi ery’omwanguka nti,
“Omuwendo gw’abaana ba Isirayiri ne bwe gulyenkana ng’omusenyu gw’ennyanja,
ekitundu ekirisigalawo kye kirirokolebwa.
28 (J)Kubanga Mukama alisalawo
era alituukiriza mangu ekyo kye yagamba okukola ku nsi.”
29 (K)Era nga Isaaya bwe yayogera edda nti,
“Singa Mukama ow’Eggye
teyatulekerawo zzadde,
twandifuuse nga Sodomu,
era twandifaananye nga Ggomola.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.