Revised Common Lectionary (Complementary)
4 (A)Muwulire bino mmwe abalinnyirira abateesobola,
era abasaanyaawo abanaku b’omu nsi,
5 (B)nga mwogera nti,
“Ennaku enkulu ez’Omwezi ogwa kaboneka ziggwaako ddi,
tulyoke tutunde emmere yaffe ey’empeke,
era ne Ssabbiiti eggwaako ddi,
tutunde eŋŋaano yaffe?”
Mukozesa minzaani enkyamu
ne mwongera emiwendo
ne mukozesa n’ebipimo ebitatuuse,
6 (C)mmwe abagula abaavu n’effeeza
n’abanaku ne mubagula n’omugogo gw’engatto,
ne mutundira ebisaaniiko mu ŋŋaano.
7 (D)Mukama yeeweredde amalala ga Yakobo ng’agamba nti, “Sigenda kwerabira bintu bye bakoze.
113 (A)Mutendereze Mukama!
Mumutendereze, mmwe abaweereza be,
mutendereze erinnya lya Mukama.
2 (B)Erinnya lya Mukama litenderezebwe
okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.
3 (C)Enjuba weeviirayo okutuusa bw’egwa,
erinnya lya Mukama litenderezebwenga.
4 (D)Mukama agulumizibwa okusinga amawanga gonna,
era n’ekitiibwa kye kisinga eggulu.
5 (E)Ani afaanana nga Mukama Katonda waffe,
atuula ku ntebe ye ey’obwakabaka eri waggulu ennyo,
6 (F)ne yeetoowaza
okutunuulira eggulu n’ensi?
7 (G)Abaavu abayimusa n’abaggya mu nfuufu;
n’abali mu kwetaaga n’abasitula ng’abaggya mu vvu,
8 (H)n’abatuuza wamu n’abalangira,
awamu n’abalangira abo abafuga abantu be.
9 (I)Omukazi omugumba amuwa abaana,
n’abeera mu maka ge n’ezzadde lye ng’ajjudde essanyu.
Mutendereze Mukama!
Okusaba
2 Okusookera ddala, mbasaba, musabenga, mwegayirirenga, era mwebazenga Katonda ku lw’abantu bonna. 2 (A)Era musabirenga bakabaka n’abafuzi abalala bonna, tulyoke tube bulungi nga tuli mirembe, nga tussaamu Katonda ekitiibwa, era nga twegendereza mu buli ngeri. 3 Ekyo kirungi era ekisiimibwa mu maaso ga Katonda Omulokozi waffe, 4 (B)ayagala abantu bonna balokolebwe, era bategeere amazima. 5 (C)Kubanga Katonda ali omu, era omutabaganya w’abantu ne Katonda ali omu, ye muntu Kristo Yesu, 6 (D)eyeewaayo abe omutango olwa bonna. Ekyo kyakakasibwa mu kiseera kyakyo ekituufu. 7 (E)Era nze kye nateekebwawo mbeere omutume era omuyigiriza w’Abamawanga, mbategeeze eby’okukkiriza n’eby’amazima; njogera bituufu sirimba.
Omuwanika Omukalabakalaba
16 (A)Awo Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Waaliwo omusajja omugagga ng’alina omuwanika we amulabiririra ebintu bye. Ne wabaawo abaamuloopera nti omuwanika oyo yali asaasaanya ebintu bye, ng’abidiibuuda. 2 Mukama we n’amuyita n’amubuuza nti, ‘Biki ebyo bye nkuwulirako? Kale genda otegeke lipoota y’ebintu byange nga bwe biri ogindeetere. Omulimu gukufudde.’
3 “Omuwanika n’alowooza mu mutima gwe, nga yeebuuza nti, ‘Kale kaakano nkole ntya? Mukama wange wuuno angoba ku mulimu. Sirina maanyi galima, n’okusabiriza kunkwasa ensonyi. 4 Ekinaasobozesa abantu okunsembeza mu maka gaabwe, nga bwe ngobeddwa ku mulimu, nkifunye.’
5 “N’agenda ng’ayita buli eyalina ebbanja ku mukama we. Gwe yasookerako n’amubuuza nti, ‘Ebbanja mukama wange ly’akubanja lyenkana wa obunene?’ ”
6 “Omusajja n’addamu nti, ‘Ammanja endebe z’omuzigo kikumi mu ataano.’ Omuwanika n’amugamba nti, ‘Kwako empapula zo kw’obanjirwa ogende owandiike endebe amakumi ataano.’
7 “Omuwanika n’adda ku wookubiri n’amubuuza nti, ‘Ggwe obanjibwa ki?’
“N’addamu nti, ‘Ebigera by’obuwunga bw’eŋŋaano kikumi.’ ”
“Omuwanika n’amugamba nti, ‘Kwako empapula zo kw’obanjirwa, owandiike endala osseeko ebigera kinaana.’
8 (B)“Mukama we n’atenda nnyo omuwanika we atali mwesigwa olw’obukalabakalaba bwe. Kubanga abaana b’omulembe guno bagezigezi okusinga abaana b’omusana ab’omu mulembe gwabwe.”
Enkozesa y’Obugagga Entuufu
9 (C)“Era mbategeeza nti mwefunire emikwano mu bugagga obutali butuukirivu, bwe buliggwaawo balyoke babasembeze mu weema ezitaggwaawo. 10 (D)Omuntu omwesigwa mu kintu ekitono, abeera mwesigwa ne mu kinene; n’oyo ataba mwesigwa mu kitono era ne mu kinene taba mwesigwa. 11 (E)Kale obanga temwesigibwa mu bugagga obutali butuukirivu, ani agenda okubeesiga mu bugagga obw’amazima? 12 Obanga toli mwesigwa ku by’omulala, kale ani alikwesiga n’akukwasa ebibyo?
13 (F)“Tewali muddu ayinza kuweereza bakulu babiri. Kubanga alikyawako omu n’ayagala omulala, oba aliwulirako omu n’anyooma omulala. Toyinza kuweereza Katonda na mamona.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.