Revised Common Lectionary (Complementary)
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
12 (A)Tuyambe, Ayi Mukama, kubanga tewakyali n’omu amanyi Katonda;
abantu abeesigwa bonna baweddewo.
2 (B)Buli muntu alimba munne;
akamwa kaabwe akawaana koogera bya bulimba.
3 (C)Mukama, osirise akamwa k’abo bonna abeewaanawaana,
na buli lulimi olwenyumiriza;
4 nga boogera nti, “Tujja kuwangula n’olulimi lwaffe, era tufune byonna bye twetaaga n’akamwa kaffe,
kubanga ani alitukuba ku mukono.”
17 (A)Okulya akamere akaluma awali emirembe,
kisinga okuba mu nnyumba ejjudde ebyassava nga mulimu entalo.
2 Omuddu omugezi alifuga omwana wa bowo akwasa ensonyi,
era alifuna ebyobusika ng’omu ku baana b’awaka.
3 (B)Entamu erongoosa yakolebwa lwa ffeeza, n’ekikoomi ky’okulongoosa lwa zaabu,
naye Mukama agezesa emitima.
4 Omubi assaayo omwoyo eri eby’obulimba,
era n’omulimba awuliriza olulimi olukuusa.
5 (C)Oyo akudaalira omwavu avvoola eyamutonda,
n’oyo asanyukira obuyinike bw’abalala talirema kubonerezebwa.
19 (A)Kubanga newaakubadde nga ndi wa ddembe eri abantu bonna, nfuuka omuddu wa bonna olw’okweyagalira, ndyoke ndeete bangi eri Kristo. 20 (B)Eri Abayudaaya nafuuka ng’Omuyudaaya ndyoke nsobole okubaleeta eri Kristo. N’eri abo abafugibwa amateeka nafuuka ng’afugibwa amateeka, newaakubadde nze nga ssifugibwa mateeka, ndyoke mbaleete eri Kristo. 21 (C)Eri abo abatalina mateeka ga Katonda, nafuuka ng’atafugibwa mateeka, newaakubadde nga ssaaleka mateeka ga Katanda, naye nga ndi mu mateeka ga Kristo, n’abo abatalina mateeka ndyoke mbaleete eri Kristo. 22 (D)Mu banafu nafuuka ng’omunafu ndyoke mbaleete eri Kristo. Eri abantu bonna nfuuse byonna, mu ngeri yonna ndyoke mbeeko beentusa ku kulokolebwa. 23 Byonna mbikola olw’enjiri, era nange ndyoke nfunire wamu nabo ebiva mu Njiri eyo.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.