Revised Common Lectionary (Complementary)
EKITABO III
Zabbuli 73–89
Zabbuli ya Asafu.
73 (A)Ddala Katonda mulungi eri Isirayiri
n’eri abo abalina omutima omulongoofu.
2 Naye nze amagulu gange gaali kumpi okutagala
era n’ebigere byange okuseerera.
3 (B)Kubanga nakwatirwa ab’amalala obuggya;
bwe nalaba ababi nga bagaggawala nnyo.
4 Kubanga tebalina kibaluma;
emibiri gyabwe miramu era minyirivu.
5 (C)Tebeeraliikirira kabi konna ng’abalala.
So tebalina kibabonyaabonya.
6 (D)Amalala kyegavudde gabafuukira ng’omukuufu ogw’omu bulago,
n’obukambwe ne bubafuukira ekyambalo.
7 (E)Bagezze n’amaaso gaabwe ne gazimbagatana;
balina bingi okusinga bye beetaaga.
8 (F)Baduula era emboozi zaabwe zijjudde eby’okujooga.
Batiisatiisa abalala n’okubeeragirako.
9 Emimwa gyabwe gyolekedde eggulu;
n’ennimi zaabwe zoogera eby’okwewaanawaana buli wantu.
10 Abantu ba Katonda kyebava babakyukira
ne banywa amazzi mangi.
11 Era ne beebuuza nti, “Katonda bino abimanyi atya?
Ali Waggulu Ennyo abitegeera?”
12 (G)Aboonoonyi bwe bafaanana bwe batyo;
bulijjo babeera mu ddembe, nga beeyongera kugaggawala.
13 (H)Ddala omutima gwange ngukuumidde bwereere obutayonoona,
n’engalo zange ne nzinaaba obutaba na musango.
14 Naye mbonaabona obudde okuziba,
era buli nkya mbonerezebwa.
15 Singa ŋŋamba nti njogere bwe nti,
nandibadde mukuusa eri omulembe guno ogw’abaana bo.
16 (I)Bwe nafumiitiriza ntegeere ensonga eyo;
nakisanga nga kizibu nnyo,
17 (J)okutuusa lwe nalaga mu watukuvu wa Katonda,
ne ntegeera enkomerero y’ababi.
18 (K)Ddala obatadde mu bifo ebiseerera;
obasudde n’obafaafaaganya.
19 (L)Nga bazikirizibwa mangu nga kutemya kikowe!
Entiisa n’ebamalirawo ddala!
20 (M)Bali ng’omuntu azuukuse n’ategeera nti yaloose buloosi;
era naawe bw’otyo, Ayi Mukama,
bw’oligolokoka olinyooma embeera yaabwe omutali nsa.
21 Omutima gwange bwe gwanyiikaala,
n’omwoyo gwange ne gujjula obubalagaze,
22 (N)n’aggwaamu okutegeera ne nfuuka ataliiko kye mmanyi,
ne mba ng’ensolo obusolo mu maaso go.
23 Newaakubadde ebyo biri bwe bityo naye ndi naawe bulijjo;
gw’onkwata ku mukono gwange ogwa ddyo.
24 (O)Mu kuteesa kwo onkulembera,
era olintuusa mu kitiibwa.
25 (P)Ani gwe nnina mu ggulu, wabula ggwe?
Era tewali na kimu ku nsi kye neetaaga bwe mba naawe.
26 (Q)Omubiri gwange n’omutima gwange biyinza okulemwa;
naye Katonda ge maanyi g’omutima gwange,
era ye wange ennaku zonna.
Okwolesebwa ku by’Omusango
7 (A)Bino Mukama Katonda bye yandaga. Yali ateekateeka ebibinja by’enzige okusaanyaawo ebirime ebyalimwanga, nga baakakungula olukungula olusooka ssinziggu, kabaka kw’afuna omusolo. 2 (B)Enzige bwe zaalya buli kantu akaali mu nnimiro akalamu, ne nkaaba nti, “Mukama Katonda, sonyiwa abantu bo nkwegayiridde. Yakobo aliwona atya? Nga mutono nnyo.”
3 (C)Mukama bwe yawulira okukaaba kuno n’akyusa ekirowoozo kye.
N’agamba nti, “Ekyo tekiribaawo.”
4 (D)Bino Mukama bye yayongera okundaga. Yali ategeka okubonereza abantu n’omuliro. Gwalya ennyanja eyali wansi w’ensi ne gumalawo n’olukalu. 5 (E)Ne nkaaba nti, “Ayi Mukama Katonda nkwegayiridde osonyiwe abantu bo! Yakobo anaasobola atya okusigalawo? Nga mutono nnyo!”
6 (F)Awo Mukama bwe yawulira okukaaba kuno, n’akyusa ekirowoozo kye.
Era n’agamba nti, “Era n’ekyo tekijja kubeerawo.”
18 (A)Mwana wange Timoseewo, nkukubiriza ojjukire ebigambo bya bannabbi bye baakwogerako edda, olyoke olwane olutalo n’obuzira, 19 (B)ng’okukkiriza, n’omwoyo omulungi, bye byokulwanyisa byo. Kubanga abalala abagaana okuba n’omwoyo ogwo omulungi bafiirwa okukkiriza kwabwe. 20 (C)Mu abo mwe muli Kumenayo ne Alegezanda be n’awaayo eri Setaani bayige obutavumanga Katonda.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.