Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Complementary)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with thematically matched Old and New Testament readings.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 12

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

12 (A)Tuyambe, Ayi Mukama, kubanga tewakyali n’omu amanyi Katonda;
    abantu abeesigwa bonna baweddewo.
(B)Buli muntu alimba munne;
    akamwa kaabwe akawaana koogera bya bulimba.

(C)Mukama, osirise akamwa k’abo bonna abeewaanawaana,
    na buli lulimi olwenyumiriza;
nga boogera nti, “Tujja kuwangula n’olulimi lwaffe, era tufune byonna bye twetaaga n’akamwa kaffe,
    kubanga ani alitukuba ku mukono.”

(D)Mukama ayogera nti, “Olw’okujoogebwa kw’abanafu,
    n’olw’okusinda kw’abali mu bwetaavu,
nnaasituka kaakano
    ne nnwanirira abo abalumbibwa.”
(E)Ebigambo bya Mukama bya bwesigwa era bya mazima.
    Bigeraageranyizibwa n’effeeza
    erongoosebbwa obulungi emirundi musanvu mu kyoto eky’ebbumba.

(F)Ayi Mukama, tukwesiga ng’onootukuumanga,
    n’otuwonya abantu abali ng’abo emirembe gyonna.
(G)Ababi beeyisaayisa
    nga bagulumiza ebitaliimu nsa.

Engero 14:12-31

12 (A)Waliwo ekkubo erirabika nga ttuufu eri omuntu,
    naye ng’enkomerero yaalyo kufa.

13 (B)Enseko zandibaawo naye ng’omutima gujjudde ennaku,
    era n’enkomerero y’essanyu eyinza okufuuka obuyinike.

14 (C)Omuntu atalina kukkiriza alisasulwa empeera emusaanira olw’ebikolwa bye,
    n’omuntu omulungi naye alisasulwa eyiye.

15 Ow’amagezi amatono amala gakkiriza buli kigambo ky’awulira,
    naye omuntu omutegeevu yeegendereza amakubo ge.

16 (D)Omuntu ow’amagezi atya Mukama n’aleka okukola ebibi,
    naye omusirusiru yeepankapanka era teyeegendereza.

17 (E)Omuntu asunguwala amangu akola eby’obusirusiru,
    n’omukalabakalaba akyayibwa.

18 Abatalina magezi basikira butaliimu,
    naye abategeevu batikkirwa engule ey’okumanya.

19 (F)Abakozi b’ebibi balivuunamira abatuukirivu,
    n’aboonoonyi ne bavuunama mu miryango gy’abatuukirivu.

Omugagga n’Omwavu

20 (G)Omwavu alagajjalirwa abantu nga ne muliraanwa we omutwaliddemu,
    naye abagagga baba n’emikwano mingi.

21 (H)Anyooma muliraanwa we akola kibi,
    naye alina omukisa oyo asaasira abaavu.

22 Abateekateeka okukola ebibi, tebawaba?
    Naye okwagala n’amazima binaabeeranga n’abo abateesa okukola obulungi.

23 Buli mulimu ogukolebwa n’amaanyi gubaako amagoba,
    naye okwogera obwogezi kireeta bwavu bwokka.

24 Abagezi bafuna engule ey’obugagga,
    naye obusirusiru bw’abatalina magezi buzaala busirusiru.

25 (I)Omujulizi ow’amazima awonya obulamu bw’abantu,
    naye omujulizi ow’obulimba aba mulimba.

26 (J)Atya Mukama alina ekiddukiro eky’amaanyi,
    era n’abaana be balibeera n’obuddukiro.

27 (K)Okutya Mukama ye nsulo y’obulamu,
    kuleetera omuntu okwewala emitego gy’okufa.

28 Ekitiibwa kya kabaka kiri mu kuba n’abantu bangi,
    naye omukulembeze ataba n’abantu abeera mu kabi.

29 (L)Omuntu omugumiikiriza aba n’okutegeera kungi,
    naye oyo asunguwala amangu ayolesa obusirusiru.

30 (M)Omutima ogulina emirembe guwangaaza omuntu,
    naye obuggya buvunza amagumba ge.

31 (N)Omuntu atulugunya abaavu anyooma oyo eyabatonda,
    naye buli abakwatirwa ekisa, agulumiza Katonda.

Ebikolwa by’Abatume 4:1-12

Peetero ne Yokaana mu Lukiiko lw’Abayudaaya Olukulu

(A)Awo Peetero ne Yokaana baali bakyayogera eri abantu, bakabona, n’omukulu w’abakuumi ba Yeekaalu n’Abasaddukaayo ne bajja gye bali, (B)nga basunguwadde nnyo okuwulira nga Peetero ne Yokaana bayigiriza abantu, ku bwa Yesu, okuzuukira mu bafu. (C)Ne bakwata Peetero ne Yokaana, naye olwokubanga obudde bwali buyise ne babaggalira mu kkomera okutuusa enkeera. (D)Kyokka abantu bangi ku abo abaali bawuliriza abatume ne bakkiriza, era omuwendo gw’abasajja bokka abakkiriza ne guba ng’enkumi ttaano!

(E)Enkeera, abafuzi n’abakulembeze b’Abayudaaya, n’abannyonnyozi b’amateeka ne bakuŋŋaanira mu Yerusaalemi. (F)Baali ne Ana Kabona Asinga Obukulu, ne Kayaafa, ne Yokaana, ne Alegezanda n’abalala bangi abaalina oluganda ne Kabona Asinga Obukulu. Awo abatume bombi ne baleetebwa ne basimbibwa mu maaso g’Olukiiko. Ne bababuuza nti, “Buyinza ki oba linnya ly’ani kwe musinzidde okukola kino?”

(G)Awo Peetero bwe yajjuzibwa Mwoyo Mutukuvu n’agamba nti, “Abafuzi, n’abakulembeze b’abantu, (H)obanga tubuuzibwa nsonga ey’omusajja eyawonyezeddwa, 10 (I)mutegeere mmwe mwenna n’abantu bonna mu Isirayiri, omusajja ono ayimiridde mu maaso gammwe mu linnya lya Yesu Kristo Omunnazaaleesi, gwe mwakomerera naye Katonda n’amuzuukiza, era kaakano mulamu.

11 (J)“ ‘Oyo ly’Ejjinja abazimbi lye baagaana,
    lye lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.’

12 (K)Tewali mu mulala yenna bulokozi, era tewali linnya ddala na limu mu mannya gonna agaaweebwa abantu, wansi w’eggulu, mwetugwanira okulokolebwa.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.