Revised Common Lectionary (Complementary)
EKITABO I
Zabbuli 1–41
1 (A)Alina omukisa omuntu
atatambulira mu kuteesa kw’ababi,
era atayimirira mu kibiina ky’ababi,
newaakubadde okutuula n’abo abanyooma ebya Katonda.
2 (B)Naye asanyukira okugondera amateeka ga Mukama,
era mu mateeka ago mw’alowooleza emisana n’ekiro.
3 (C)Afaanana ng’omuti ogwasimbibwa ku mabbali g’omugga,
ogubala ebibala byagwo mu ntuuko zaabyo,
n’ebikoola byagwo tebiwotoka.
Na buli ky’akola kivaamu birungi byereere.
4 (D)Naye abakola ebibi tebakola bwe batyo.
Bali ng’ebisusunku ebifuumuuliddwa.
5 (E)Noolwekyo abakola ebibi tebaligumira lunaku lwa kusalirako musango;
newaakubadde aboonoonyi okuyimirira mu kibiina ky’abatuukirivu.
6 (F)Kubanga Mukama alabirira ekkubo ly’abatuukirivu,
naye ekkubo ly’abakola ebibi liribula.
12 (A)Bwe munaakwatanga amateeka ago, ne mugagonderanga n’obwegendereza, ne Mukama Katonda wo agenda kukuumanga endagaano ye, gye yakola ne bajjajjaabo ey’okwagala kwe okutaggwaawo.
13 (B)Agenda kukwagalanga, akuwenga omukisa; era alikwaza ne weeyongera obungi. Aliwa omukisa ezzadde lyo n’ebibala eby’oku ttaka lyo, n’emmere yo ey’empeke, ne wayini wo, n’amafuta go, n’ennyana ez’ente zo, n’abaana ab’endiga zo, ng’oli mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajjaabo, okugikuwa. 14 (C)Onoofunanga omukisa okusinga amawanga amalala gonna; tewaabengawo musajja oba mukazi mugumba mu mmwe, wadde ente zammwe ezitaazaalenga. 15 (D)Mukama takkirizenga ndwadde yonna kukukwata. So taakuleeterenga ndwadde ezo ez’akabi, ze wamanyanga, ez’e Misiri, naye anaazireeteranga abo bonna abakukyawa. 16 (E)Onoozikirizanga abo bonna Mukama Katonda b’anaakuwanguzanga, tobatunuulizanga liiso lya kisa, tobabbiranga ku liiso. So toweerezanga bakatonda baabwe, kubanga ogwo gugendanga kukufuukira mutego.
Katonda Aliwangula Amawanga
17 (F)Oyinza okwebuuza mu mutima gwo nti, “Amawanga ag’amaanyi gatyo okutusinga, tulisobola tutya okugagoba mu nsi zaago?” 18 (G)Naye amawanga ago togatyanga; ojjukiranga Mukama Katonda wo kye yakola Falaawo ne Misiri yonna. 19 (H)Weerabirako n’amaaso go gennyini ebibonoobono, n’obubonero obw’ebyamagero, n’eby’ekyewuunyo, Mukama bye yakozesa okukuggya mu nsi y’e Misiri n’omukono gwe omuwanvu ogw’amaanyi. Mukama Katonda wo bw’atyo bw’anaakolanga amawanga ago gonna g’otya. 20 (I)Ate Mukama Katonda wo anaaweerezanga ennumba mu balabe bo ne zibaluma, okutuusa n’abo abanaabanga basigaddewo mu lutalo, nga beekwese, lwe ziribazikiririza ddala. 21 (J)Tobatyanga, kubanga Mukama Katonda wo abeera wakati mu mmwe, mukulu era wa ntiisa. 22 (K)Mukama Katonda wo amawanga ago anaagendanga agaggyawo linnalimu, mpola mpola. Toligazikiriza gonna mulundi gumu, si kulwa ng’ensolo ez’omu nsiko zaala ne zikuyitirira obungi. 23 Naye Mukama Katonda wo anaagagabulanga mu mukono gwo n’ageeraliikirizanga ng’agatabuddetabudde, okutuusa lwe ganaazikirizibwanga. 24 (L)Anaagabulanga bakabaka baago mu mukono gwo n’osangulira ddala amannya gaabwe okuva wansi w’eggulu. Tewaabengawo muntu n’omu anaayimiriranga mu maaso go okukwaŋŋanga, ojjanga kubazikiriza. 25 (M)Ebifaananyi ebyole ebya bakatonda baabwe munaabyokyanga mu muliro. Teweegombanga zaabu na ffeeza anaabibeerangako. So tomwetwaliranga alemenga kukufuukira mutego; kubanga ekikolwa ekyo kya muzizo eri Mukama Katonda wo. 26 (N)Toyingizanga mu nnyumba yo kintu kyonna ekyomuzizo, olemenga kuba mukolimire ng’ekintu ekyo bwe kiri. Onookikyayiranga ddala era onookitamirwanga ddala, kubanga kyakolimirwa.
7 (A)Tukiko owooluganda omwagalwa era omuweereza omwesigwa era muddu munnaffe mu Mukama waffe alibategeeza ebinfaako byonna. 8 (B)Kyenva mmutuma gye muli mulyoke mumanye ebitufaako, era abazzeemu n’amaanyi, 9 (C)awamu ne Onesimo owooluganda omwagalwa era omwesigwa, omu ku b’ewammwe; balibategeeza byonna ebifa eno.
10 (D)Alisutaluuko, musibe munnange, ne Makko omujjwa wa Balunabba, gwe baabagambako nti bw’aliba ng’aze gye muli mumusembezanga, babatumidde; 11 ne Yesu ayitibwa Yusito abalamusizza. Abo be Bayudaaya, bakozi bannange bokka mu bwakabaka bwa Katonda, abaanzizaamu amaanyi. 12 (E)Epafula ow’ewammwe, omuddu wa Kristo Yesu, afuba bulijjo ku lwammwe okubasabira, mulyoke muyimirirenga nga munywedde mu kukkiriza era nga mutegeereranga ddala mu byonna Katonda by’ayagala, abalamusizza. 13 (F)Kubanga mmuweera obujulirwa, nga bw’afuba ennyo ku lwammwe, n’ab’omu Lawodikiya, n’ab’omu Kiyerapoli. 14 (G)Lukka, omusawo omwagalwa ne Dema, babalamusizza. 15 (H)Mulamuse abooluganda ab’omu Lawodikiya, ne Nunfa, n’ekkanisa ekuŋŋaanira mu nnyumba ye.
16 (I)Ebbaluwa eno bw’emalanga okusomebwa mu mmwe, mulabe nti esomerwa n’ab’ekkanisa y’omu Lawodikiya, era nammwe musome ebbaluwa eriva e Lawodikiya.
17 (J)Era mugambe Alukipo nti, “Ssaayo omwoyo ku kuweereza kwe waweebwa mu Mukama waffe, okutuukirize.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.