Revised Common Lectionary (Complementary)
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi gye yayimbira Mukama bwe yamuwonya abalabe be ne Sawulo.
18 Nkwagala Ayi Mukama kubanga ggwe maanyi gange.
20 (A)Mukama ankoledde ng’obutuukirivu bwange bwe buli,
ansasudde ng’ebikolwa byange ebirungi bwe biri.
21 (B)Kubanga ntambulidde mu makubo ga Mukama,
ne sikola kibi eri Katonda wange.
22 (C)Ddala ddala amateeka ga Mukama gonna ngagondedde,
era ne siva ku biragiro bye.
23 Sisobyanga mu maaso ge
era nneekuuma obutayonoona.
24 (D)Noolwekyo, Mukama ansasudde ng’obutuukirivu bwange bwe buli,
era ng’ebikolwa byange ebirungi bwe biri by’alaba.
25 (E)Eri omwesigwa weeraga ng’oli mwesigwa,
n’eri atalina musango weeraga nga tolina musango.
26 (F)Eri abalongoofu weeraga ng’oli mulongoofu,
n’eri abakyamu weeraga ng’obasinza amagezi.
27 (G)Owonya abawombeefu,
naye abeegulumiza obakkakkanya.
28 (H)Okoleezezza ettaala yange;
Ayi Mukama Katonda wange, ekizikiza kyange okimulisizza.
29 (I)Bwe mbeera naawe nsobola okulumba abalabe bange;
nga ndi ne Katonda wange nsobola okuwalampa bbugwe.
14 (A)Noolwekyo muwulire ekigambo kya Mukama Katonda mmwe abantu abanyoomi,
mmwe abafuga abantu ababeera mu Yerusaalemi ne mubanyooma.
15 (B)Weewaawo mwewaana nga bwe mugamba nti, “Twakola endagaano n’okufa, era twalagaana n’amagombe. Ekikangabwa eky’amaanyi ne bwe kijja, tekirina kye kiyinza kutukola, kubanga tufudde obulimba ekiddukiro kyaffe, era mu bukuusa mwe twekwese.”
16 (C)Mukama Katonda Ayinzabyonna kyava agamba nti,
“Laba, nteeka mu Sayuuni ejjinja,
ejjinja eryagezesebwa, ery’oku nsonda,
ery’omuwendo, okuba omusingi;
oyo alyesiga taliterebuka.
17 (D)Ndifuula obwenkanya okuba omuguwa ogupima,
n’obutuukirivu okuba omuguwa ogutereeza,
era omuzira gulyera ekiddukiro ekyobulimba,
n’amazzi galyanjaala ku kifo eky’okwekwekamu.
18 (E)N’endagaano gye walagaana n’okufa erijjulukuka,
n’endagaano gye walagaana n’amagombe terinywera.
Ekikangabwa eky’amaanyi bwe kirijja,
kiribagwira.
19 (F)Weewaawo buli lwe kinaayitanga,
kinaabagwiranga
buli lukya emisana n’ekiro.”
Era okutegeera obubaka buno
kirireeta ntiisa njereere.
20 (G)Weewaawo ekitanda kimpi okwegololerako,
ne bulangiti nnyimpi okwebikka.
21 (H)Weewaawo Mukama aligolokoka nga bwe yagolokoka ku Lusozi Perazimu,
era alisunguwala nga bwe yasunguwalira mu Kiwonvu eky’e Gibyoni,
alyoke akole omulimu gwe, omulimu gwe ogwewuunyisa,
atuukirize omulimu gwe, omulimu gwe ogwewuunyisa.
22 (I)Noolwekyo mulekeraawo okunyooma, enjegere zammwe zireme kweyongera kubazitoowerera.
Nawulira okuva eri Mukama Katonda ow’Eggye
ng’awa ekiragiro ekizikiriza ensi yonna.
6 (A)Awo Yesu bwe yali mu nnyumba ya Simooni Omugenge e Besaniya, 7 ng’ali ku mmeeza, omukazi n’ajja gy’ali ng’alina eccupa y’amafuta ag’akaloosa ag’omuwendo omungi,[a] n’agafuka ku mutwe gwa Yesu.
8 Abayigirizwa be bwe baakiraba ne banyiiga. Ne bagamba nti, “Lwaki okwonoona amafuta ag’omuwendo gatyo! 9 Kubanga yandisobodde okugatundamu ensimbi nnyingi n’azigabira abaavu.”
10 Yesu bwe yamanya ebirowoozo byabwe, n’abagamba nti, “Lwaki mutawanya omukazi? Ankoledde ekintu ekirungi. 11 (B)Bulijjo abaavu muli nabo, naye nze sijja kuba nammwe bulijjo. 12 (C)Anfuseeko amafuta gano okuteekateeka omubiri gwange okuguziika. 13 Ddala ddala mbagamba nti, bulijjo ajjanga kujjukirwa olw’ekikolwa kino. Ekikolwa ky’omukazi ono kijjanga kwogerwako wonna wonna mu nsi Enjiri gy’eneebuulirwanga.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.