Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Complementary)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with thematically matched Old and New Testament readings.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 18:1-19

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi gye yayimbira Mukama bwe yamuwonya abalabe be ne Sawulo.

18 Nkwagala Ayi Mukama kubanga ggwe maanyi gange.

(A)Mukama lwe lwazi lwange, ky’ekigo kyange ekigumu era ye mununuzi wange,
    ye Katonda wange era lwe lwazi lwange mwe neekweka;
    ye ngabo yange era ye mulokozi wange ow’amaanyi, era kye kigo kyange ekinywevu.
(B)Nkoowoola Mukama asaana okutenderezebwa,
    era amponya eri abalabe bange.

(C)Emiguwa gy’okufa gyanneetooloola;
    embuyaga ez’okusaanawo zansaanikira.
(D)Ebisiba eby’amagombe byanneetooloola;
    n’emitego gy’okufa ne ginjolekera.
(E)Mu nnaku yange nakoowoola Mukama;
    ne nkaabirira Katonda wange annyambe.
Yawulira eddoboozi lyange ng’ali mu yeekaalu ye;
    omulanga gwange ne gutuuka mu matu ge.

(F)Emisingi gy’ensi ne gikankana ne giyuuguuma;
    ensozi ne zinyeenyezebwa ne ziseeseetuka,
    kubanga yali asunguwadde.
(G)Omukka ne gunyooka nga guva mu nnyindo ze.
    Omuliro ne guva mu kamwa ke,
    ne gukoleeza amanda ne gabuubuuka.
(H)Yayabuluza eggulu n’akka wansi;
    ebire ebikutte nga biri wansi w’ebigere bye.
10 (I)Yeebagala kerubi n’abuuka,[a]
    n’aseeyeeyeza ku biwaawaatiro by’empewo.
11 (J)Yafuula ekizikiza ekyamwetooloolanga
    okuba enkuufiira ey’ebire ebijjudde amazzi.
12 (K)Okumasamasa okwali mu maaso ge ne kuva mu bire bye,
    n’okumyansa kw’eggulu n’omuzira.
13 (L)Mukama yabwatuka ng’asinziira mu ggulu; oyo Ali Waggulu Ennyo yayogera;
    mu kamwa ke ne muvaamu omuzira n’okumyansa kw’eggulu.
14 (M)Yalasa obusaale bwe n’asaasaanya abalabe;
    n’okumyansa okw’eggulu n’abawangula.
15 (N)Ebiwonvu eby’omu nnyanja ne bibikkulwa
    n’emisingi gy’ensi ne gyeyerula
olw’okunenya kwo Ayi Mukama
    n’olw’okubwatuka kw’omukka ogw’omu nnyindo zo.

16 (O)Mukama yagolola omukono gwe ng’ali waggulu,
    n’ankwata n’annyinyulula mu mazzi amangi.
17 (P)Yamponya abalabe bange ab’amaanyi,
    abankyawa, abo abaali bansinza amaanyi.
18 (Q)Bannumba nga ndi mu buzibu,
    naye Mukama n’annyamba.
19 (R)N’antwala mu kifo ekigazi n’amponya,
    kubanga yansanyukira nnyo.

Olubereberye 19:1-29

Sodomu ne Ggomola

19 (A)Bamalayika ababiri ne batuuka mu Sodomu akawungeezi; Lutti yali atudde mu mulyango gwa Sodomu. Lutti bwe yabalaba n’agolokoka okubasisinkana, n’avuunama, (B)n’agamba nti, “Bakama bange mukyame mu nnyumba y’omuddu wammwe munaabe ku bigere, mbegayiridde n’okusula musule. Munaazuukuka mangu ku makya ne mukwata ekkubo lyammwe.”

Ne bagamba nti, “Nedda tunaasula mu luguudo.”

(C)Naye n’abawaliriza nnyo; awo ne bakyama ne bajja gy’ali ne bayingira mu nnyumba ye, n’abategekera ekijjulo n’emigaati egitali mizimbulukuse ne balya. Naye nga tebannaba kugenda kwebaka, abasajja ab’omu kibuga, abasajja ba Sodomu, abakulu n’abato, abantu bonna ne beetooloola ennyumba; (D)ne bayita Lutti nga bagamba nti, “Abasajja abazze gy’oli ekiro kino bali ludda wa? Batufulumize twebake nabo.”

(E)Lutti n’afuluma gye bali, n’aggalawo oluggi, n’abagamba nti, “Baganda bange mbasaba temukola kibi kifaanana bwe kityo. (F)Laba, nnina bawala bange embeerera babiri, ka mbabafulumize, mubakole kye mwagala; naye temubaako kye mukola basajja bano, bagenyi bange era nze mbalabirira.” (G)Naye ne bamugamba nti, “Tuviire! Omusajja omugwira ono, ate kati y’atulagira eky’okukola! Nedda, tujja kukukolako n’okusinga abagenyi bo.” Awo ne banyigiriza nnyo Lutti, era kaabula kata bamenye n’oluggi.

10 Naye abasajja ababiri abaali mu nnyumba ne bagolola emikono gyabwe ne bakwata Lutti ne bamuyingiza mu nnyumba ne baggalawo oluggi. 11 (H)Ne baziba amaaso g’abasajja abaali ebweru ku luggi lw’ennyumba, abato n’abakulu, ne bakoowa nga bawammanta oluggi.

12 (I)Awo abasajja bali ababiri ne babuuza Lutti nti, “Olina abantu bo abalala wano, batabani bo, oba bakoddomi bo, oba bawala bo, oba omuntu omulala yenna mu kibuga? Bafulumye mu kifo kino; 13 (J)kubanga tuli kumpi okukizikiriza. Kubanga okukaaba olw’abantu baamu eri Mukama kuyitiridde, era Mukama atutumye okukizikiriza.”

14 (K)Awo Lutti n’afuluma n’ategeeza bakoddomi be abaali ab’okuwasa bawala be ng’agamba nti, “Musituke, muve mu kifo kino, kubanga Mukama ali kumpi kukizikiriza.” Naye yafaanana ng’abalaata eri bakoddomi be. Lutti n’ab’ennyumba ye ne badduka.

15 (L)Naye obudde bwe bwali bunaatera okukya, bamalayika ne balagira Lutti nga bagamba nti, “Golokoka, otwale mukazi wo ne bawala bo ababiri abali wano muleme okuzikirira ng’ekibuga kibonerezebwa.”

16 Naye bwe yali akyekunya, abasajja ne bamukwata omukono, n’emikono gya mukazi we, n’emikono gy’abawala be bombi, Mukama ng’abakwatirwa ekisa, ne babafulumya ne babateeka ebweru w’ekibuga. 17 (M)Bwe baabafulumya ne babagamba nti, “Mudduke muwonye obulamu bwammwe, temutunula mabega wadde okuyimirira mu kiwonvu; muddukire ku nsozi, muleme okuzikirizibwa.”

18 Awo Lutti n’abagamba nti, “Nedda bakama bange; 19 Laba, omuddu wammwe alabye ekisa mu maaso gammwe, era mundaze ekisa kingi nga muwonya obulamu bwange; naye siyinza kuddukira ku nsozi akabi tekalwa kunzingiza ne nfa. 20 Laba, ekibuga kiri ekitono ekiri okumpi, kirungi okuddukira omwo. Leka nzirukire eyo. Era n’obulamu bwange bujja kuwona!” 21 N’amuddamu nti, “Laba, era nnyongedde okukukwatirwa ekisa, sijja kumalawo kibuga ky’oyogeddeko. 22 Yanguwa tolwa, ddukira eyo; kubanga siriiko kye nnaakola nga tonnatuuka eyo.” Erinnya ly’ekibuga kyeryava liba Zowaali.

23 Lutti we yatuukira mu Zowaali enjuba yali evuddeyo, Sodomu ne Ggomola ne bizikirizibwa. 24 (N)Awo Mukama n’atonnyesa ku Sodomu ne Ggomola omuliro n’obuganga okuva mu ggulu; 25 (O)n’azikiriza ebibuga ebyo, n’ekiwonvu kyonna n’abantu bonna abaali mu bibuga, ne buli kintu ekyalimu. 26 (P)Naye mukazi wa Lutti bwe yatunula emabega, n’afuuka empagi ey’omunnyo. 27 (Q)Awo ku makya ennyo Ibulayimu n’agenda mu kifo mwe yayimiririra mu maaso ga Mukama; 28 (R)n’atunula wansi okwolekera Sodomu ne Ggomola n’okwolekera ekitundu kyonna eky’olusenyi, n’alaba, era laba, ekitundu kyonna nga kijjudde omukka.

29 (S)Bwe kityo bwe kyali Katonda bwe yazikiriza ebibuga eby’omu kiwonvu. Katonda n’ajjukira Ibulayimu n’afulumya Lutti ebweru n’amuggya wakati mu kuzikirizibwa, bwe yazikiriza ebibuga Lutti mwe yabeeranga.

Abaruumi 9:14-29

14 (A)Kale tunaagamba ki? Ddala ddala Katonda talina bwenkanya? Kikafuuwe. 15 (B)Agamba Musa nti,

“Ndisaasira oyo gwe ndisaasira,
    era ndikwatirwa ekisa oyo gwe ndikwatirwa ekisa.”

16 (C)Noolwekyo tekiva ku ebyo omuntu by’ayagala newaakubadde by’akola, wabula ku kusaasira kwa Katonda. 17 (D)Ebyawandiikibwa kyebyava byogera ku Falaawo nti, “Kyennava nkuyimusa, ndyoke njolese amaanyi gange mu ggwe, erinnya lyange liryoke litegeezebwe mu nsi zonna.” 18 (E)Noolwekyo Katonda asaasira oyo gw’ayagala okusaasira, ate n’akakanyaza omutima gw’oyo gw’ayagala okukakanyaza.

19 (F)Omu akyayinza okumbuuza nti, Lwaki Katonda atunenya, obanga y’atuleetera okukola nga bw’asiima? 20 (G)Naye ggwe omuntu obuntu, ggwe ani addamu ng’owakanya Katonda? Ekibumbe kiyinza okubuuza eyakibumba nti, “Lwaki wammumba bw’oti?” 21 (H)Oba omubumbi talina buyinza ku bbumba, okubumbamu ekibya eky’omugaso, oba okubumbamu ekitali kya mugaso?

22 (I)Katonda yayagala okulaga obusungu bwe, n’amaanyi ge eri abo bonna abaali basaanira okuzikirizibwa, kyokka n’abalaga obugumiikiriza. 23 (J)Ekyo yakikola alyoke amanyise obugagga bw’ekitiibwa kye, eri abo bonna be yeerondera okugabanira awamu ekitiibwa kye. 24 (K)Naffe yatuyita, si Bayudaaya bokka naye n’Abaamawanga. 25 (L)Ne mu Koseya agamba nti,

“Abataali bantu bange ndibayita abantu bange,
    Ne gwe nnali ssaagala, ndimwagala.”

26 (M)Mu kifo omwo mwe baayitirwa nti,

“Temuli bantu bange,
    mwe baliyitirwa abaana ba Katonda omulamu.”

27 (N)Isaaya ayogera eri Isirayiri mu ddoboozi ery’omwanguka nti,

“Omuwendo gw’abaana ba Isirayiri ne bwe gulyenkana ng’omusenyu gw’ennyanja,
    ekitundu ekirisigalawo kye kirirokolebwa.
28 (O)Kubanga Mukama alisalawo
    era alituukiriza mangu ekyo kye yagamba okukola ku nsi.”

29 (P)Era nga Isaaya bwe yayogera edda nti,

“Singa Mukama ow’Eggye
    teyatulekerawo zzadde,
twandifuuse nga Sodomu,
    era twandifaananye nga Ggomola.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.