Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Complementary)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with thematically matched Old and New Testament readings.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 138

Zabbuli Ya Dawudi.

138 (A)Nnaakutenderezanga Ayi Mukama, n’omutima gwange gwonna;
    ne mu maaso ga bakatonda abalala nnaayimbanga okukutendereza.
(B)Nvuunama nga njolekedde Yeekaalu yo Entukuvu,
    ne ntendereza erinnya lyo
    olw’okwagala kwo n’olw’obwesigwa bwo;
kubanga wagulumiza ekigambo kyo
    n’erinnya lyo okusinga ebintu byonna.
Olunaku lwe nakukoowoolerako wannyanukula;
    n’onnyongeramu amaanyi mu mwoyo gwange.

(C)Bakabaka bonna ab’omu nsi banaakutenderezanga, Ayi Mukama,
    nga bawulidde ebigambo ebiva mu kamwa ko.
Banaatenderezanga ebikolwa byo Ayi Mukama;
    kubanga ekitiibwa kya Mukama kinene.

(D)Newaakubadde nga Mukama asukkulumye,
    naye afaayo eri abo abeetoowaza; naye abeegulumiza ababeera wala.
(E)Newaakubadde nga neetooloddwa ebizibu,
    naye ggwe okuuma obulamu bwange;
ogolola omukono gwo eri abalabe bange abakambwe,
    era omukono gwo ogwa ddyo ne gumponya.
(F)Mukama alituukiriza ebyo by’anteekeddeteekedde;
    kubanga okwagala kwo, Ayi Mukama, kubeerera emirembe gyonna.
    Tolekulira ebyo bye watonda.

Ezeekyeri 31:15-18

15 “ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ku lunaku lwe gwaleetebwa wansi emagombe, enzizi zaagukaabira, era naziyiza n’emigga gyagwo, n’amazzi gaagwo amangi okukulukuta. Ku lulwe nayambaza Lebanooni obuyinike, n’emiti gyonna egy’oku ttale ne gikala. 16 (A)Naleetera amawanga okukankana olw’eddoboozi ery’okugwa kwagwo bwe naguserengesa emagombe n’abo abaserengeta wansi mu bunnya. Olwo emiti gyonna egya Adeni, egy’amaanyi era egisingayo obulungi egya Lebanooni emiti gyonna egyali gifukiriddwa obulungi amazzi, ne gizzibwamu amaanyi wansi mu nsi. 17 (B)Abo bonna ababeera mu kisiikirize kyagwo, n’amawanga agassanga ekimu nabo, bakirira nabo emagombe ne beegatta ku abo abattibwa n’ekitala.

18 (C)“ ‘Muti ki mu gy’omu Adeni ogw’enkana naawe mu bukulu mu kitiibwa kyo? Era naye, olisuulibwa wamu n’emiti egy’omu Adeni n’oserengeta emagombe, n’ogalamira eyo wamu n’abatali bakomole, n’abo abattibwa n’ekitala.

“ ‘Ono ye Falaawo n’ekibinja kye kyonna, bw’ayogera Mukama Katonda.’ ”

2 Abakkolinso 10:12-18

12 (A)Ffe tetwaŋŋanga kwebalira wadde okwegeraageranya n’abamu ku abo abeetendereza, naye bo bwe beepimamu bokka na bokka, ne beegeraageranya bokka na bokka tebaba na kutegeera. 13 (B)Naye ffe tetujja kwenyumiriza kusukka ku kigera kyaffe, naye tujja kwenyumiriza ng’ekigera ekyo ekyatuweebwa Katonda bwe kiri, ne tusobola n’okubatuukako mmwe. 14 (C)Kubanga tetukununkiriza kusinga kigera kye tulina, kubanga nammwe twabatuusaako Enjiri ya Kristo, 15 (D)nga tetwenyumiriza kusinga omulimu abalala gwe baakola, naye nga tulina essuubi nti ng’okukkiriza kwammwe bwe kugenda kweyongera, n’omulimu gwaffe gugenda gweyongera, 16 (E)era nga tubuulira Enjiri ne mu bitundu ebibali ewala, naye so si mu kitundu eky’omulala omwakolebwa edda omulimu waleme okubaawo eyeenyumiriza. 17 (F)Naye eyeenyumiriza yeenyumirizenga mu Mukama waffe; 18 (G)kubanga eyeetenda yekka, oyo si ye asiimibwa, wabula oyo Mukama gw’atenda.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.