Revised Common Lectionary (Complementary)
8 (A)Nnaawulirizanga Mukama Katonda by’agamba;
asuubiza abantu be, be batukuvu be, okubawa emirembe;
naye tebaddayo mu byonoono byabwe.
9 (B)Ddala ddala obulokozi bwe busemberera abo abamutya,
ensi yaffe n’eryoka ejjula ekitiibwa kye.
10 (C)Okwagala n’obwesigwa bisisinkanye;
obutuukirivu n’emirembe binywegeraganye.
11 (D)Obwesigwa bulose mu nsi,
n’obutukuvu ne butunuulira ensi nga businzira mu ggulu.
12 (E)Ddala ddala Katonda anaatuwanga ebirungi,
n’ensi yaffe eneebalanga ebibala bingi.
13 Obutuukirivu bunaamukulemberanga,
era bunaateekateekanga ekkubo mw’anaayitanga.
17 (A)Akabu bwe yalaba Eriya, n’amubuuza nti, “Ggwe wuuyo, gwe ateganya Isirayiri?”
18 (B)Eriya n’addamu nti, “Sinnateganya Isirayiri, naye ggwe n’ennyumba ya kitaawo, muvudde ku biragiro bya Mukama ne mugoberera ba Baali. 19 (C)Kaakano kuŋŋaanya abantu bonna okuva mu Isirayiri yonna bajje ku lusozi Kalumeeri era oleete ne bannabbi ba Baali ebikumi ebina mu ataano wamu ne bannabbi ba Baaseri ebikumi ebina, abaliira ku mmeeza ya Yezeberi.”
30 (A)Awo Eriya n’alyoka agamba abantu bonna nti, “Musembere kumpi nange.” Bonna ne bamusemberera, n’addaabiriza ekyoto kya Mukama ekyali kisuuliddwa. 31 (B)N’addira amayinja kkumi n’abiri, buli limu n’aliteeka ku linnaalyo ng’ebika bya Yakobo bwe byali, Mukama gwe yayogerako nti, “Erinnya lye linaabanga Isirayiri.” 32 (C)N’azimba ekyoto mu linnya lya Mukama n’amayinja ago, n’asima olusalosalo okwetooloola ekyoto, ng’alugyamu lita kkumi na ttaano ez’amazzi. 33 (D)N’atindikira enku, n’atemaatema ente, n’agiteekako. N’alyoka abagamba nti, “Mujjuze ebibya bina amazzi, mugafuke ku kiweebwayo ne ku nku.” 34 N’abagamba baddemu bakole bwe batyo omulundi ogwokubiri, ne bakiddamu, ate era n’abagamba okuddamu omulundi ogwokusatu ne baddamu ogwokusatu nga bwe yalagira. 35 Amazzi ne gakulukuta okwetooloola ekyoto, n’okujjula ne gajjula olusalosalo.
36 (E)Mu kiseera eky’ekiweebwayo eky’akawungeezi, nnabbi Eriya n’asembera mu maaso n’asaba nti, “Ayi Mukama, Katonda wa Ibulayimu, owa Isaaka ne Isirayiri, olwa leero kimanyibwe nti ggwe Katonda mu Isirayiri, era nti nze muddu wo, era nkoze ebintu bino byonna olw’ekigambo kyo. 37 Onziremu, Ayi Mukama, onziremu, abantu bano bamanye, Ayi Mukama nti ggwe Katonda, era nti ggwe okyusa emitima gyabwe okudda gy’oli.”
38 (F)Omuliro gwa Mukama ne gulyoka gugwa ne gwokya ekiweebwayo, n’enku, n’amayinja, n’ettaka, ne gumalirawo ddala n’amazzi mu lusalosalo. 39 (G)Awo abantu bonna bwe baakiraba, ne bavuunama ne bakaaba nnyo nga bagamba nti, “Mukama, ye Katonda! Mukama, ye Katonda!” 40 (H)Eriya n’alyoka abalagira nti, “Mukwate bannabbi ba Baali, waleme okuba n’omu abaddukako.” Ne babakwata, Eriya n’abaserengesa ku kagga Kisoni, n’abattira eyo.
Apolo mu Efeso ne mu Kkolinso
24 (A)Waaliwo Omuyudaaya erinnya lye Apolo, nga yazaalibwa mu Alegezanderiya eky’omu Misiri, n’atuuka mu Efeso. Yali musajja muyigirize nnyo, era ng’amanyi nnyo Ebyawandiikibwa. 25 (B)Yali ayigirizibbwa Ekkubo lya Mukama, nga w’amaanyi mu mwoyo, era yayogeranga n’ayigiriza bulungi byonna ebifa ku Yesu, wabula ng’amanyi kubatizibwa kwa Yokaana kwokka. 26 N’atandika okubuulira n’obuvumu mu kkuŋŋaaniro. Awo Pulisikira ne Akula bwe baamuwulira, ne bamuyita mu maka gaabwe ne bamunnyonnyola bingi eby’Ekkubo lya Katonda.
27 (C)Awo Apolo n’ayagala okuwunguka agende mu Akaya mu Buyonaani, n’abooluganda ne bamuwagira nnyo mu kirowoozo ekyo. Ne bawandiikira bannaabwe abakkiriza mu Buyonaani bamwanirize n’essanyu. Era bwe yatuuka mu Buyonaani, Katonda n’amukozesa nnyo mu kunyweza Ekkanisa, 28 (D)kubanga yasambajja n’amaanyi mangi ensonga Abayudaaya ze baaleetanga nga bawakanya Enjiri mu bantu, n’asinziiranga mu Byawandiikibwa okulaga nti ddala Yesu ye Kristo.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.