Revised Common Lectionary (Complementary)
Mukama Alabikira Eriya
9 (A)Bwe yatuuka eyo, n’ayingira mu mpuku, n’asula omwo. Awo ekigambo kya Mukama ne kimujjira nga kigamba nti, “Okola ki wano, Eriya?” 10 (B)N’addamu nti, “Nyiikidde nnyo okuweereza Mukama Katonda ow’Eggye ne nkwatibwa n’obuggya ku lulwe. Abayisirayiri balese endagaano yo, bamenye ebyoto byo, era ne batta ne bannabbi bo n’ekitala. Nze nsigaddewo nzekka, ne kaakano bannoonya okunzita.”
11 (C)Mukama n’amugamba nti, “Ffuluma, oyimirire ku lusozi mu maaso ga Mukama, kubanga Mukama ali kumpi kuyitawo.”
Kale laba, embuyaga nnyingi ey’amaanyi n’emenya ensozi n’eyasa n’enjazi mu maaso ga Eriya, naye Mukama nga taliimu. Oluvannyuma lw’embuyaga, musisi ow’amaanyi n’ayita naye era Mukama nga taliimu. 12 (D)Oluvannyuma lwa musisi ne wajja omuliro, naye era Mukama teyaliimu mu muliro. Oluvannyuma lw’omuliro, ne wajja eddoboozi ttono nga lya ggonjebwa. 13 (E)Eriya bwe yaliwulira, n’abikka[a] amaaso ge n’omunagiro gwe n’afuluma n’ayimirira ku mulyango gw’empuku.
Awo Mukama n’amugamba nti, “Okola ki wano Eriya?”
14 (F)N’addamu nti, “Nyiikidde nnyo okuweereza Mukama Katonda ow’Eggye, naye Abayisirayiri balese endagaano yo, bamenyeemenye ebyoto byo, era ne batta ne bannabbi bo n’ekitala. Nze nsigaddewo nzeka, ne kaakano bannoonya okunzita.”
15 (G)Mukama n’amugamba nti, “Ddirayo mu kkubo lye wajjiddemu ogende mu ddungu lya Ddamasiko. Bw’onootuuka eyo ofuke amafuta ku Kazayeeri okuba kabaka w’e Busuuli, 16 (H)ne ku Yeeku mutabani wa Nimusi okuba kabaka wa Isirayiri, ate era ofuke n’amafuta ku Erisa mutabani wa Safati ow’e Aberumekola okudda mu kifo kyo. 17 (I)Era Yeeku anatta oyo yenna anadduka okuwona ekitala kya Kazayeeri, ate Erisa ye n’atta oyo yenna anadduka okuwona ekitala kya Yeeku. 18 (J)Wabula nesigaliza akasanvu mu Isirayiri, abatavuunamiranga Baali wadde okumunywegera.”
8 (A)Nnaawulirizanga Mukama Katonda by’agamba;
asuubiza abantu be, be batukuvu be, okubawa emirembe;
naye tebaddayo mu byonoono byabwe.
9 (B)Ddala ddala obulokozi bwe busemberera abo abamutya,
ensi yaffe n’eryoka ejjula ekitiibwa kye.
10 (C)Okwagala n’obwesigwa bisisinkanye;
obutuukirivu n’emirembe binywegeraganye.
11 (D)Obwesigwa bulose mu nsi,
n’obutukuvu ne butunuulira ensi nga businzira mu ggulu.
12 (E)Ddala ddala Katonda anaatuwanga ebirungi,
n’ensi yaffe eneebalanga ebibala bingi.
13 Obutuukirivu bunaamukulemberanga,
era bunaateekateekanga ekkubo mw’anaayitanga.
5 (A)Musa awandiika ku butuukirivu obuva mu mateeka nti, “Omuntu alikola ebintu ebyo aliba mulamu mu byo.” 6 (B)Naye okukkiriza okuva mu butuukirivu, kugamba nti, “Toyogeranga mu mutima gwo nti, ‘Ani alirinnya mu ggulu?’ (kwe kuggya Kristo mu ggulu) 7 newaakubadde okugamba nti, ‘Ani alikka emagombe?’ (kwe kuggya Kristo mu bafu.)” 8 (C)Abo bonna abalina okukkiriza mu Kristo bagamba nti, “Ekigambo kiri kumpi naawe, kiri mu kamwa ko era kiri mu mutima gwo,” kye kigambo eky’okukkiriza kye tubuulira. 9 (D)Bw’oyatula n’akamwa ko nti, Yesu ye Mukama, n’okkiriza n’omutima gwo nga Katonda yamuzuukiza mu bafu, olokoka. 10 Kubanga omuntu akkiriza na mutima gwe n’aweebwa obutuukirivu, era ayatula na kamwa ke n’alokoka. 11 (E)Kubanga Ebyawandiikibwa bigamba nti, “Buli amukkiriza taliswazibwa.” 12 (F)Tewali njawulo wakati wa Muyudaaya na Muyonaani, kubanga Mukama waabwe y’omu era ayanukula abo bonna abamukoowoola. 13 (G)Buli alikoowoola erinnya lya Mukama alirokoka. 14 Kale balikoowoola batya oyo gwe batakkiririzaamu? Era balikkiriza batya oyo gwe batawulirangako? Era baliwulira batya awatali abuulira? 15 (H)Era balibuulira batya nga tebatumiddwa? Ekyawandiikibwa nga bwe kigamba nti, “Ebigere by’abo abategeeza amawulire amalungi, nga birungi.”
Yesu Atambulira ku Mazzi
22 Amangwago Yesu n’alagira abayigirizwa be basaabale eryato bagende emitala w’ennyanja, ye asigale ng’akyasiibula abantu. 23 (A)Bwe yamala okusiibula ekibiina n’ayambuka ku lusozi yekka okusaba. Obudde ne buziba ng’ali eyo yekka. 24 Eryato abayigirizwa mwe baali bwe lyatuuka ebuziba, omuyaga mungi ne gubafuluma mu maaso eryato ne lyesunda.
25 Awo ku ssaawa nga mwenda ez’ekiro, Yesu n’ajja gye bali ng’atambula ku nnyanja. 26 (B)Naye abayigirizwa bwe baamulaba ng’atambulira ku nnyanja ne batya, nga balowooza nti muzimu.
27 (C)Awo amangwago Yesu n’abagamba nti, “Mugume, Nze nzuuno temutya.”
28 Peetero n’amugamba nti, “Obanga ye ggwe ddala Mukama waffe, ndagira nange nzije gy’oli nga ntambulira ku mazzi.”
29 Yesu n’amuddamu nti, “Kale jjangu.” Peetero n’ava mu lyato n’atambulira ku mazzi okugenda eri Yesu.
30 Naye Peetero bwe yalaba omuyaga ogw’amaanyi, n’atya n’atandika okusaanawo, n’akoowoola Yesu nti, “Mukama wange, ndokola!”
31 (D)Amangwago Yesu n’agolola omukono gwe n’amukwata, n’amugamba nti, “Ggwe alina okukkiriza okutono, lwaki obuusizzabuusizza?”
32 Bwe baalinnya mu lyato omuyaga gwonna ne guggwaawo. 33 (E)N’abo abaali mu lyato ne bamusinza nga bagamba nti, “Ddala ddala oli Mwana wa Katonda!”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.