Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Complementary)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with thematically matched Old and New Testament readings.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 18:1-3

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi gye yayimbira Mukama bwe yamuwonya abalabe be ne Sawulo.

18 Nkwagala Ayi Mukama kubanga ggwe maanyi gange.

(A)Mukama lwe lwazi lwange, ky’ekigo kyange ekigumu era ye mununuzi wange,
    ye Katonda wange era lwe lwazi lwange mwe neekweka;
    ye ngabo yange era ye mulokozi wange ow’amaanyi, era kye kigo kyange ekinywevu.
(B)Nkoowoola Mukama asaana okutenderezebwa,
    era amponya eri abalabe bange.

Zabbuli 18:20-32

20 (A)Mukama ankoledde ng’obutuukirivu bwange bwe buli,
    ansasudde ng’ebikolwa byange ebirungi bwe biri.
21 (B)Kubanga ntambulidde mu makubo ga Mukama,
    ne sikola kibi eri Katonda wange.
22 (C)Ddala ddala amateeka ga Mukama gonna ngagondedde,
    era ne siva ku biragiro bye.
23 Sisobyanga mu maaso ge
    era nneekuuma obutayonoona.
24 (D)Noolwekyo, Mukama ansasudde ng’obutuukirivu bwange bwe buli,
    era ng’ebikolwa byange ebirungi bwe biri by’alaba.

25 (E)Eri omwesigwa weeraga ng’oli mwesigwa,
    n’eri atalina musango weeraga nga tolina musango.
26 (F)Eri abalongoofu weeraga ng’oli mulongoofu,
    n’eri abakyamu weeraga ng’obasinza amagezi.
27 (G)Owonya abawombeefu,
    naye abeegulumiza obakkakkanya.
28 (H)Okoleezezza ettaala yange;
    Ayi Mukama Katonda wange, ekizikiza kyange okimulisizza.
29 (I)Bwe mbeera naawe nsobola okulumba abalabe bange;
    nga ndi ne Katonda wange nsobola okuwalampa bbugwe.

30 (J)Katonda byonna by’akola bigolokofu;
    Mukama ky’asuubiza akituukiriza;
era bwe buddukiro
    bw’abo bonna abamwekwekamu.
31 (K)Kale, ani Katonda, wabula Mukama?
    Era ani Lwazi, wabula Katonda waffe?
32 (L)Oyo ye Katonda ampa amaanyi era aluŋŋamya ekkubo lyange.

Ekyamateeka Olwokubiri 32:18-20

18 (A)Weerabira Olwazi eyakuzaala,
    weerabira Katonda eyakuzaala.

19 (B)Mukama Katonda bwe yakiraba n’abeegobako
    kubanga yasunguwazibwa batabani be ne bawala be.
20 (C)N’agamba nti, Nzija kubakweka amaaso gange
    ndabe ebinaabatuukako;
kubanga omulembe gwabwe mwonoonefu,
    abaana abatalinaamu bwesigwa.

Ekyamateeka Olwokubiri 32:28-39

28 Lye ggwanga omutali magezi,
    mu bo temuliimu kutegeera.
29 (A)Singa baali bagezi ekyo bandikitegedde,
    ne balowooza ku biribatuukako ku nkomerero.
30 (B)Omusajja omu yandisobodde atya okugoba abantu olukumi,
    oba ababiri okudumya omutwalo ne badduka,
wabula nga Lwazi waabwe y’abatunzeeyo,
    Mukama Katonda ng’abawaddeyo?
31 Kya mazima lwazi waabwe tali nga Lwazi waffe,
    abalabe baffe bakiriziganya naffe.
32 Wayini waabwe ava mu terekero lya wayini wa Sodomu,
    n’ennimiro z’emizabbibu za Ggomola;
ezzabbibu zaabwe zabbibu za butwa,
    ebirimba byazo bikaawa;
33 (C)wayini waazo bwe butwa bw’emisota
    obusagwa obukambwe obw’amasalambwa.

34 (D)Ekyo saakyeterekera,
    nga kuliko n’envumbo mu mawanika gange?
35 (E)Okuwoolera eggwanga kwange, nze ndisasula.
    Luliba lumu ebigere byabwe ne biseerera,
obudde bwabwe obw’okuzikirira busembedde,
    n’okubonerezebwa kwabwe kubafubutukirako.
36 (F)Mukama Katonda alisalira abantu omusango mu bwenkanya,
    alisaasira abaweereza be,
bw’aliraba ng’amaanyi gonna gabaweddemu,
    omuddu n’ow’eddembe nga tewasigadde n’omu.
37 (G)N’alyoka abuuza nti, Kale nno bakatonda baabwe bali ludda wa,
    olwazi mwe beekweka.
38 Baani abaalyanga amasavu ku ssaddaaka zaabwe,
    ne banywa envinnyo ey’ekiweebwayo ekyokunywa?
Basituke bajje babayambe,
    kale babawe obubudamo babakuume!

39 (H)Mulabe kaakano, nga nze kennyini, nze Ye!
    Tewali katonda mulala wabula Nze;
nzita era ne nzuukiza,
    nfumita era ne mponya;
    era tewali atangira mukono gwange nga gukola.

Abaruumi 11:33-36

33 (A)Kale nga Katonda wa kitalo,
    ng’amagezi ge mangi n’okutegeera kwe kungi era n’obugagga bungi;
    ensala ye ey’emisango nga tekeberekeka, n’amakubo ge tegekkaanyizika.
34 (B)“Kubanga ani ayinza okutegeera okulowooza kwa Mukama?
    Oba ani ayinza okumuluŋŋamya?”
35 (C)“Oba ani eyali asoose okumuwa ekintu,
    alyoke amuddizeewo?”
36 (D)Kubanga byonna biva gy’ali, era biyita mu ye era bidda gy’ali.
    Ekitiibwa kibe gy’ali emirembe gyonna. Amiina.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.