Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
2 Bassekabaka 10

Ezadde lya Akabu Littibwa

10 (A)Mu Samaliya waaliyo batabani ba Akabu nsanvu. Awo Yeeku n’awandiika amabaluwa n’agaweereza e Samaliya[a] eri abakungu b’e Yezuleeri, n’eri abakadde ab’ekibuga, n’eri abakuza b’abaana ba Akabu. N’awandiika nti, “Amangwago ng’ebbaluwa eno ebatuuseeko, ng’abaana ba mukama wammwe bwe bali nammwe, ate nga mulina amagaali n’embalaasi, era n’ekibuga kiriko enkomera n’ebyokulwanyisa, mulonde ku batabani ba mukama wammwe asinga obulungi, ng’asaanira, mumuteeke ku ntebe ey’obwakabaka eya kitaawe, mulwanirire ennyumba ya mukama wammwe.” Naye ekyo ne bakitya nnyo, ne boogera nti, “Obanga bakabaka ababiri[b] tebaayinza kumwesimbamu, ffe tunaayinza tutya?”

(B)Awo eyavunaanyizibwanga ebyolubiri, n’omukulembeze ow’ekibuga, n’abakuza ab’abaana ne baweereza obubaka eri Yeeku nti, “Ffe tuli baddu bo era tunaakola byonna by’onootulagira. Tetujja kufuula muntu n’omu kabaka; gw’oba okola ky’olowooza nga kye kisinga obulungi.”

Awo Yeeku n’abawandiikira ebbaluwa eyookubiri ng’agamba nti, “Obanga muli ku lwange era nga muŋŋondera, mutemeeko emitwe gy’abatabani ba mukama wammwe, mugindetere e Yezuleeri, mugintuseeko enkya mu kiseera nga kino.”

Abalangira ensanvu baabeeranga n’abakuza baabwe abaali abaami abakulu mu kibuga ekyo. (C)Ebbaluwa bwe yabatuukako, ne bakwata abalangira ensanvu bonna ne babatta, ne bateeka emitwe gyabwe mu bisero, mwe baagiweerereza eri Yeeku e Yezuleeri. Omubaka n’agenda n’agamba Yeeku nti, “Emitwe gy’abalangira bagireese.” Yeeku n’alagira nti, “Mugituume entuumo bbiri ku mulyango gwa wankaaki okutuusa enkya.” Yeeku n’afuluma, n’ayimirira mu maaso g’abantu bonna n’ayogera nti, “Mmwe temuliiko musango, era nze nasalira mukama wange olukwe ne mutta, naye ani asse bano bonna? 10 (D)Kale mukitegeere nga tewali kigambo kya Mukama, kye yayogera ku nnyumba ya Akabu ekitalituukirira, kubanga Mukama akoze ekyo kye yayogerera mu muddu we Eriya.” 11 (E)Bw’atyo Yeeku n’atta ab’enju ya Akabu bonna abaali basigaddewo mu Yezuleeri; n’atta n’abakungu be, ne mikwano gye enfirabulago, ne bakabona be, obutalekaawo n’omu.

12 Awo Yeeku n’asitula n’ayolekera Samaliya. N’asisinkana baganda ba Akaziya kabaka wa Yuda mu kkubo okumpi n’ennyumba eyasalirwangamu endiga ebyoya, 13 (F)n’ababuuza nti, “Mmwe b’ani?” Ne bamuddamu nti, “Tuli baganda ba Akaziya, era tuzze okulamusa abaana ba kabaka n’abaana ba nnamasole.” 14 N’alagira nti, “Mubakwate.” Ne babakwata, abasajja amakumi ana mu babiri bonna ne babattira kumpi n’obunnya obw’ennyumba gye baasalirangamu endiga ebyoya. N’atalekaawo n’omu.

15 (G)Eyo bwe yavaayo, n’asanga Yekonadabu mutabani wa Lekabu[c] ng’ajja okumusisinkana. Yeeku n’amulamusa, n’amubuuza nti, “Ossa kimu nange, nga nze bwe nzisa ekimu naawe?”

Yekonadabu n’addamu nti, “Weewaawo.” Yeeku n’amugamba nti, “Obanga weewaawo, mpa omukono gwo.” N’amuwa omukono gwe, Yeeku n’amulinnyisa gy’ali mu ggaali. 16 (H)Yeeku n’amugamba nti, “Jjangu tugende ffembi olabe obunyiikivu bwange eri Mukama.” Awo n’atambulira wamu naye mu ggaali lye.

17 (I)Awo Yeeku bwe yatuuka e Samaliya, n’atta bonna abaali basigaddewo ab’omu nnyumba ya Akabu, n’abazikiriza ng’ekigambo kya Mukama kye yayogera eri Eriya bwe kyali.

Okuttibwa kw’Abaweereza ba Baali

18 (J)Awo Yeeku n’akuŋŋaanya abantu bonna, n’abagamba nti, “Akabu yaweerezaako Baali ebbanga ttono naye Yeeku anaamuweereza okusingawo. 19 (K)Kale nno muyite bannabbi bonna aba Baali, bakabona be bonna, n’abaweereza be bonna, waleme okubulawo n’omu kubanga ŋŋenda okuwaayo ssaddaaka enkulu ennyo eri Baali, ne buli ataabeerewo alittibwa.” Naye okukola ekyo, Yeeku yasala lukwe alyoke azikirize abaasinzanga Baali.

20 (L)Yeeku n’alagira nti, “Mukole olukuŋŋaana olutukuvu eri Baali.” Ne balulangirira. 21 Awo n’aweereza obubaka okubuna Isirayiri yonna, abaweereza ba Baali bonna ne bajja, n’okusigala n’etasigala muntu n’omu. Ne bakuŋŋaanira mu ssabo lya Baali[d], ne lijjulira ddala okuva ku luuyi olumu okutuukira ddala ku luuyi olulala. 22 Yeeku n’agamba eyavunaanyizibwanga ebyambalo byabwe nti, “Leetera abaweereza ba Baali bonna ebyambalo.” Bonna n’abaleetera ebyambalo. 23 Awo Yeeku ne Yekonadabu mutabani wa Lekabu ne bagenda mu ssabo lya Baali. Yeeku n’agamba abaweereza ba Baali nti, “Mwetegereze nnyo mulabe nga mu mmwe temuliimu muweereza wa Mukama, wabula abasinza Baali bokka.” 24 (M)Ne bayingira okuwaayo ssaddaaka n’ebiweebwayo ebyokebwa. Naye Yeeku yali atadde abasajja kinaana ebweru w’essabo, ng’abalabudde nti, “Omuntu yenna anaataako n’omu ku basajja abo be ntadde mu mikono gyammwe, anaaliwa n’obulamu bwe ye.”

25 (N)Amangwago bwe yamala okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa, n’alagira abaserikale n’abaami nti, “Muyingire mubatte; waleme okuwonawo n’omu.” Bwe baamala okubatta n’ekitala, ne basuula emirambo gyabwe ebweru, ne bayingira munda mu ssabo ekkulu erya Baali. 26 (O)Ne bafulumya empagi ezaali mu ssabo lya Baali, ne bazookya. 27 (P)Ne bamenyaamenya empagi ya Baali, ne bamenyaamenya ne ssabo lya Baali, ne balifuula kabuyonjo ne leero.

28 (Q)Awo Yeeku n’amalirawo ddala okusinza kwa Baali mu Isirayiri. 29 (R)Naye teyaleka kukola ebibi ebya Yerobowaamu mutabani wa Nebati, bye yayonoonyesa Isirayiri, ng’okusinza ennyana eza zaabu ezaali mu Beseri ne mu Ddaani.

30 (S)Mukama n’agamba Yeeku nti, “Olw’okukola obulungi n’otuukiriza byonna mu maaso gange, n’okola ennyumba ya Akabu byonna ebyali ku mutima gwange bye nnali nteeseteese okukola, bazzukulu bo kyebaliva batuula ku ntebe ey’obwakabaka eya Isirayiri okutuusa ku muzzukulu owa nnakana.” 31 (T)Naye Yeeku n’atassaayo mwoyo okutambulira mu mateeka ga Mukama Katonda wa Isirayiri. Era teyakyuka okuva mu kkubo ery’ebibi erya Yerobowaamu, lye yayonoonyesa Isirayiri.

32 (U)Mu biro ebyo Mukama n’atandika okukendeeza ensalo za Isirayiri. Kazayeeri n’abawangula ng’atandikira 33 (V)ku luuyi olw’ebuvanjuba mu nsi ey’e Gireyaadi mu bitundu eby’Abagaadi, n’Abalewubeeni, n’Abamanase okuva ku Aloweri okuliraana ekiwonvu kya Alunoni n’okuyita e Gireyaadi okutuuka e Basani.

34 (W)Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Yeeku, n’ebintu byonna ebikulu bye yakola, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe egya bassekabaka ba Isirayiri?

35 Yeeku n’afa, n’aziikibwa mu Samaliya, Yekoyakaazi mutabani we n’amusikira. 36 Ebbanga Yeeku lye yafuga Isirayiri mu Samaliya lyali emyaka amakumi abiri mu munaana.

2 Timoseewo 1

(A)Nze, Pawulo, omutume wa Kristo Yesu olw’okwagala kwa Katonda, ng’okusuubiza bwe kuli okw’obulamu obuli mu Kristo Yesu, (B)nkuwandiikira ggwe Timoseewo omwana wange omwagalwa, nga nkwagaliza ekisa n’okusaasirwa, n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe, ne Kristo Yesu Mukama waffe.

Okwebaza n’Okugumya

(C)Neebaza Katonda gwe mpeereza mu mwoyo omulungi nga bajjajjange bwe baakola, nga nkujjukira obutayosa mu kusaba kwange emisana n’ekiro. (D)Bwe nzijukira amaziga go ne neegomba okukulaba ndyoke nzijule essanyu. (E)Nzijukira okukkiriza kwo okw’amazima olubereberye okwali mu jjajjaawo Looyi ne mukadde wo Ewuniike; era nga nkakasiza ddala nga naawe okulina. (F)Kyenva nkujjukiza okuseesanga ekirabo kya Katonda ekiri mu ggwe kye yakuwa, bwe nakussaako emikono gyange. (G)Kubanga Mwoyo wa Katonda, gwe yatuwa tatufuula bati, wabula atuwa amaanyi, n’okwagala era n’okwegendereza.

(H)Noolwekyo tokwatibwa nsonyi kwogera ku bya Mukama waffe, wadde ku nze omusibe we, wabula naawe bonaabona olw’Enjiri ng’oyambibwa amaanyi ga Katonda, (I)eyatulokola n’atuyita tubeere babe. Ekyo yakikola nga tasinziira ku bikolwa byaffe, wabula ng’asinziira mu kuyitibwa okutukuvu, si ng’ebikolwa byaffe bwe biri, naye olw’ekigendererwa kye ye, n’ekisa kye, kye yatukwatirwa ng’ayita mu Kristo Yesu okuva edda n’edda Lyonna. 10 (J)Kaakano ekisa ekyo kyolesebbwa mu kulabika kw’Omulokozi waffe Kristo Yesu eyaggyawo okufa, n’aleeta obulamu obutazikirizibwa ng’ayita mu Njiri, 11 (K)gye nalonderwa okugisaasaanya, n’okuba omutume, era omuyigiriza, 12 (L)era kyenva mbonaabona bwe ntyo. Kyokka sikwatibwa nsonyi, kubanga mmanyi gwe nakkiriza, era nkakasa nti ayinza okukuuma ekyo kye namuteresa okutuusa olunaku luli.

13 (M)Gobereranga ebigambo ebireeta obulamu bye wawulira njogera, mu kukkiriza ne mu kwagala mu Kristo Yesu. 14 (N)Ekintu ekirungi eky’omuwendo kye wateresebwa kikuumenga ng’oyambibwa Mwoyo Mutukuvu abeera mu ffe.

15 (O)Kino okimanyi, ng’ab’omu Asiya bonna banjabulira, mu abo mwe muli Fugero ne Kerumogene.

16 (P)Mukama akwatirwe ekisa ab’omu nnyumba ya Onesifolo, kubanga yambeesabeesa emirundi mingi era teyankwatirwa nsonyi kubanga ndi musibe; 17 bwe yatuuka e Ruumi, yafuba nnyo okunnoonya era n’anzuula. 18 (Q)Mukama amukwatirwe ekisa ku lunaku luli. Era gw’omanyi bulungi nnyo byonna bye yakola mu Efeso.

Koseya 2

(A)“Mwogere ku baganda bammwe nti, ‘bantu bange,’ mwogere ne ku bannyinammwe nti, ‘baagalwa bange.’ ”

Okubonerezebwa kwa Isirayiri, n’Okuzzibwa Obuggya kwabwe

(B)Munenye nnyammwe,
    mumunenye,
    kubanga si mukazi wange, so nange siri bba.
Aggyewo obukaba obuli mu maaso ge,
    n’obwenzi obuva wakati w’amabeere ge;
(C)nneme okumwambulira ddala
    ne mmulekeraawo nga bwe yali ku lunaku kwe yazaalibwa;
ne mmufuula ng’eddungu,
    ne mmulekawo ng’ensi enkalu eteriiko ky’egasa,
    ne mmussa ennyonta.
(D)Sirilaga kwagala kwange eri abaana be,
    kubanga baana ba bwenzi.
(E)Nnyabwe yakola obwenzi,
    n’abazaalira mu buwemu.
Yayogera nti, “Ndigenda eri baganzi bange abampa emmere n’amazzi,
    n’ebimbugumya n’ebyokwambala,
    n’amafuta n’ekyokunywa.”
(F)Kyendiva nziba ekkubo lye n’amaggwa,
    ne mmuzimbako bbugwe okumwetooloola, aleme okulaba ekkubo wayitira.
(G)Aligezaako okugoberera baganzi be abakwate,
    naye talibatuukako, alibanoonya naye talibalaba.
Oluvannyuma alyogera nti, “Naagenda eri bba wange eyasooka,
    kubanga mu biro ebyo nabanga bulungi
    okusinga bwe ndi kaakano.”
(H)Tajjukira nga nze namuwanga eŋŋaano,
    ne wayini n’amafuta,
era eyamuwa effeeza ne zaabu
    bye baakozesanga okuweerezanga Baali.
(I)“Kyendiva neddiza emmere yange ey’empeke ng’eyengedde,
    ne wayini wange ng’atuuse;
era nzija kumuggyako ebyambalo byange eby’ebbugumu n’ebyambalo byange ebya bulijjo,
    bye yayambalanga.
10 (J)Era kyenaava nyanika obukaba bwe
    mu maaso ga baganzi be,
    so tewaliba amuwonya mu mukono gwange.
11 (K)Ndikomya ebinyumu bye byonna, n’embaga ze eza buli mwaka,
    n’embaga ze ez’emyezi egyakaboneka, ne ssabbiiti ze,
    n’enkuŋŋaana ze zonna entukuvu.
12 (L)Ndizikiriza emizabbibu gye n’emitiini gye,
    gye yayogerako nti, ‘Guno gwe musaala baganzi bange gwe bansasula.’
Ndibizisa,
    era n’ensolo ez’omu nsiko ziribyonoona.
13 (M)Ndimubonereza olw’ennaku
    ze yayotereza obubaane eri Babaali,
ne yeeyambaza empeta n’ebintu eby’omuwendo ennyo,
    n’agenda eri baganzi be,
    naye nze n’aneerabira,”
    bw’ayogera Mukama.

14 Kale kyendiva musendasenda,
    ne mmutwala mu ddungu,
    ne njogera naye n’eggonjebwa.
15 (N)Era eyo ndimuddiza ennimiro ze ez’emizabbibu,
    ne nfuula Ekiwonvu kya Akoli[a] oluggi olw’essuubi.
Alimpuliriza nga bwe yampulirizanga mu nnaku ez’obuvubuka bwe,
    era nga mu biro bye yaviira mu nsi ya Misiri.
16 “Ku lunaku olwo,” bw’ayogera Mukama,
    “olimpita nti, ‘mwami wange;’
    toliddayo nate kumpita, ‘Mukama wange.’ ”
17 (O)Ndiggya amannya ga Babaali mu kamwa ke,
    so taliddayo nate okwasanguza amannya gaabwe.
18 (P)Ku lunaku olwo ndibakolera endagaano
    n’ensolo ez’omu nsiko n’ennyonyi ez’omu bbanga,
    n’ebyewalula ku ttaka,
era ndiggyawo obusaale, n’ekitala, n’entalo mu nsi,
    bonna ne batuula mirembe.
19 (Q)Era ndikwogereza ennaku zonna,
    ndikwogereza mu butuukirivu, ne mu mazima,
    ne mu kwagala ne mu kusaasira.
20 (R)Ndikwogereza mu bwesigwa,
    era olimanya Mukama.
21 (S)“Ku lunaku olwo,
    ndyanukula eggulu,
nalyo ne lyanukula ensi;
22 (T)ensi erimeramu emmere ey’empeke,
    ne wayini n’amafuta,
nabyo ne bifunibwa Yezuleeri,[b]
    bw’ayogera Mukama.
23 (U)“Ndimwesimbira mu nsi,
    ndisaasira oyo eyayitibwanga nti, atasaasirwa,
era ndigamba abataali bantu bange nti, ‘Bantu bange,’
    era nabo balyogera nti, ‘Ggwe Katonda wange.’ ”

Zabbuli 119:97-120

מ Meemu

97 (A)Amateeka go nga ngagala nnyo!
    Ngafumiitirizaako olunaku lwonna.
98 (B)Amateeka go ganfuula mugezi okusinga abalabe bange,
    kubanga ge gannuŋŋamya bulijjo.
99 Ntegeera okusinga abasomesa bange bonna,
    kubanga nfumiitiriza nnyo ebyo bye walagira.
100 (C)Ntegeera okusinga abakadde;
    kubanga ŋŋondera ebyo bye walagira.
101 (D)Neekuumye obutatambulira mu kkubo lyonna ekyamu,
    nsobole okugondera ekigambo kyo.
102 Sivudde ku mateeka go,
    kubanga ggwe waganjigiriza.
103 (E)Ebisuubizo byo nga bimpoomera nnyo!
    Biwoomera akamwa kange okusinga omubisi gw’enjuki.
104 (F)Mu biragiro byo mwe nfunira okutegeera;
    kyenva nkyawa ekkubo lyonna ekyamu.

נ Nuuni

105 (G)Ekigambo kyo ye ttaala eri ebigere byange,
    era kye kimulisa ekkubo lyange.
106 (H)Ndayidde ekirayiro era nkikakasizza
    nga nnaakwatanga amateeka ag’obutuukirivu bwo.
107 Nnumizibwa nnyo;
    nzizaamu obulamu, Ayi Mukama, ng’ekigambo kyo bwe kiri.
108 (I)Okkirize Ayi Mukama ettendo akamwa kange lye kakuwa;
    era onjigirize amateeka go.
109 (J)Newaakubadde ng’obulamu bwange ntera okubutambuza nga bwe njagala,
    naye seerabira mateeka go.
110 (K)Abakola ebibi banteze omutego,
    naye sikyamye kuva ku ebyo bye walagira.
111 Ebiragiro byo gwe mugabo gwange emirembe gyonna;
    weewaawo, ebyo bye bisanyusa omutima gwange.
112 (L)Omutima gwange gweteeseteese okukwatanga ebiragiro byo
    ennaku zonna ez’obulamu bwange.

ס Sameki

113 (M)Nkyawa abalina emitima egisagaasagana,
    naye nze njagala amateeka go.
114 (N)Ggwe kiddukiro kyange era ggwe ngabo yange;
    essuubi lyange liri mu kigambo kyo.
115 (O)Muve we ndi mmwe abakola ebitali bya butuukirivu,
    mundeke nkwate ebiragiro bya Katonda wange.
116 (P)Onnyweze nga bwe wasuubiza, ndyoke mbeere omulamu;
    nneme kuswazibwa ne nzigwamu essuubi.
117 Onnyweze ndyoke nfuuke ow’eddembe,
    era nkwatenga ebiragiro byo bulijjo.
118 Onyooma abo bonna abaleka ebiragiro byo;
    weewaawo obugezigezi bwabwe tebuliimu kantu.
119 (Q)Abakola ebibi bonna mu nsi obalaba ng’ebisasiro;
    nze kyenva njagala ebyo bye walagira.
120 (R)Nkankana nzenna nga nkutya,
    era ntya amateeka go.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.