M’Cheyne Bible Reading Plan
16 (A)Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeeku mutabani wa Kanani nga kyogera ku Baasa nti, 2 (B)“Nakugulumiza nga nkuggya mu nfuufu ne nkufuula mukulembeze w’abantu bange Isirayiri, naye watambulira mu ngeri za Yerobowaamu era n’oyonoonyesa abantu bange Isirayiri, ne bansunguwaza n’ebibi byabwe. 3 (C)Laba, ndisaanyizaawo ddala Baasa n’ennyumba ye, era ndifuula ennyumba ye okuba ng’eya Yerobowaamu mutabani wa Nebati. 4 (D)Omuntu yenna owa Baasa bw’alifiira mu kibuga, omulambo gwe guliriibwa embwa, n’abo abalifiira ku ttale, ennyonyi ez’omu bbanga zirirya emirambo gyabwe.”
5 (E)Ebyafaayo ebirala eby’omu mirembe gya Baasa, bye yakola, awamu n’ebintu ebirungi bye yakola, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri? 6 (F)Awo Baasa ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n’aziikibwa e Tiruza, mutabani we Era n’amusikira, n’alya obwakabaka.
7 (G)Ekigambo kya Mukama ne kituukirira, ekyajjira Yeeku mutabani wa Kanani ekikwata ku Baasa n’ennyumba ye olw’ebibi bye yakola mu maaso ga Mukama, ng’amusunguwaza olw’ebyo bye yakola, n’olw’okwonoona ng’afaanana ennyumba ya Yerobowaamu, ate era n’olw’okuba nga yagisaanyaawo.
Era Kabaka wa Isirayiri
8 Mu mwaka ogw’amakumi abiri mu omukaaga ogw’obufuzi bwa Asa kabaka wa Yuda, Era mutabani wa Baasa n’afuuka kabaka wa Isirayiri; n’afugira mu Tiruza emyaka ebiri. 9 (H)Awo Zimuli, omu ku bakungu be, eyakuliranga ekitundu ky’amagaali ge, n’amukolera olukwe. Mu kiseera ekyo Era yali Tiruza, ng’atamiirira mu maka ga Aluza, omusajja eyavunaanyizibwanga olubiri lw’e Tiruza. 10 Mu kiseera ekyo, Zimuli n’ayingira n’amukuba n’amutta, n’oluvannyuma n’alya obwakabaka. Gwali mwaka ogw’amakumi abiri mu omusanvu ogw’obufuzi bwa Asa kabaka wa Yuda.
11 (I)Awo olwatuuka nga kyajje atuule ku ntebe ey’obwakabaka n’atta abantu b’ennyumba ya Baasa bonna, obutalekaawo musajja n’omu wa luganda lwa Baasa wadde mikwano gye. 12 Bw’atyo Zimuli n’asaanyaawo ennyumba ya Baasa yonna, ng’ekigambo kya Mukama bwe kyali kye yayogera ku Baasa ng’ayita mu nnabbi Yeeku, 13 (J)olw’ebibi bya Baasa ne mutabani we Era bye baakola n’okwonoonyesa Isirayiri, nga basunguwaza Mukama Katonda wa Isirayiri olwa bakatonda beebeekolera abatagasa. 14 Eby’afaayo ebirala eby’omu mirembe gya Era, ne bye yakola byonna, tebyawandiikibwa mu kitabo ky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri?
Zimuli Kabaka wa Isirayiri
15 (K)Mu mwaka ogw’amakumi abiri mu omusanvu ogw’obufuzi bwa Asa kabaka wa Yuda, Zimuli n’afugira e Tiruza ennaku musanvu. Eggye lyali lisiisidde okumpi ne Gibbesoni ekibuga ky’Abafirisuuti. 16 Ku lunaku olwo Abayisirayiri abaali mu nkambi bwe baawulira nti Zimuli yasala olukwe, n’atta kabaka, Isirayiri yonna ne balangirira Omuli omuduumizi w’eggye okuba kabaka wa Isirayiri. 17 Omuli n’Abayisirayiri bonna abaali awamu naye ne bava e Gibbesoni ne bambuka okuzingiza Tiruza. 18 Zimuli bwe yalaba ng’ekibuga kiwambiddwa, n’addukira mu lubiri olw’omunda, olubiri lwonna n’alukumako omuliro. N’afiira omwo. 19 Ekyo kyamutuukako olw’ebibi bye yakola mu maaso ga Mukama, n’okutambulira mu ngeri za Yerobowaamu, ne mu kibi kye yakola, ne bye yayonoonyesa Isirayiri.
20 Eby’afaayo ebirala eby’omu mirembe gya Zimuli, n’obujeemu bwe, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri?
Omuli Kabaka wa Isirayiri
21 Abantu ba Isirayiri ne baawukanamu ebibiina bibiri, ekitundu ekimu nga kiwagira Tibuni mutabani wa Ginasi okuba kabaka, nga n’ekitundu ekirala kiwagira Omuli. 22 Naye abagoberezi ba Omuli ne basinza aba Tibuni mutabani wa Ginasi amaanyi; Tibuni n’afa, Omuli n’afuuka kabaka.
23 (L)Mu mwaka ogw’amakumi asatu mu ogumu ogw’obufuzi bwa Asa kabaka wa Yuda, Omuli n’alya obwakabaka obwa Isirayiri era n’afugira emyaka kkumi n’ebiri, mukaaga ku gyo ng’ali mu Tiruza. 24 (M)Yagula olusozi lw’e Samaliya ku Semeri, ekilo nsanvu eza ffeeza, n’aluzimbako ekibuga, n’akituuma Samaliya, okukibbulamu Semeri eyali nannyini lusozi.
25 (N)Naye Omuli n’akola ebyali ebibi mu maaso ga Mukama, era n’ayonoona nnyo okusinga n’abo abaamusooka. 26 (O)N’atambulira mu ngeri zonna eza Yerobowaamu mutabani wa Nebati, ne mu kibi kye, kye yayonoonyesa Isirayiri era n’asunguwaza Mukama Katonda wa Isirayiri olwa bakatonda beebeekolera abatagasa. 27 Ebyafaayo ebirala eby’omu mirembe gya Omuli, ne bye yakola, n’ebyobuzira bye, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri? 28 Omuli ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n’aziikibwa mu Samaliya; Akabu n’amusikira, n’alya obwakabaka.
Akabu alya Obwakabaka bwa Isirayiri
29 Mu mwaka ogw’amakumi asatu mu omunaana ogw’obufuzi bwa Asa Kabaka wa Yuda, Akabu mutabani wa Omuli n’alya obwakabaka bwa Isirayiri, n’afugira Isirayiri mu Samaliya emyaka amakumi abiri mu ebiri. 30 (P)Akabu mutabani wa Omuli n’akola ebibi mu maaso ga Mukama okusinga bonna abaamusooka. 31 (Q)Teyakoma ku kukola bibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati, naye era n’awasa ne Yezeberi muwala wa Esubaali kabaka w’Abasidoni, era n’atandika okuweereza n’okusinza Baali. 32 (R)Yazimbira Baali ekyoto mu ssabo lya Baali lye yazimba mu Samaliya. 33 (S)Akabu n’akola n’empagi ya Baaseri, ne yeeyongera nnyo okusunguwaza Mukama Katonda wa Isirayiri, okusinga bakabaka abalala bonna aba Isirayiri abaamusooka.
34 (T)Ku mirembe gya Akabu, Kyeri Omubeseri n’addaabiriza era n’azimba Yeriko. Era olw’ekigambo kya Mukama kye yayogerera mu Yoswa mutabani wa Nuuni, Kyeri bwe yassaawo emisingi gyakyo, n’afiirwa Abiraamu mutabani we omukulu; bwe yazimba wankaaki waakyo, Segubi mutabani we asembayo obuto naye n’afa.
Ebiragiro ku Butukuvu
3 Nga bwe mwazuukirira awamu ne Kristo, munoonyenga ebintu ebiri mu ggulu, Kristo gy’atudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda. 2 (A)Mulowoozenga ku ebyo ebiri mu ggulu, so si ebiri ku nsi, 3 (B)kubanga mwafa era n’obulamu bwammwe bukwekeddwa mu Kristo mu Katonda. 4 (C)Kristo atuwa obulamu, bw’alirabisibwa, nammwe ne mulyoka mulabisibwa wamu naye mu kitiibwa.
Obulamu obw’Edda n’Obulamu Obuggya
5 (D)Noolwekyo temufugibwa bikolwa byammwe eby’omubiri, byonna mubitte. Gamba nga: obwenzi, n’obutali bulongoofu, n’obukaba, n’okwegomba okw’ensonyi, n’okuyaayaana; kye kimu n’okusinza bakatonda abalala. 6 (E)Kubanga obusungu bwa Katonda bubuubuukira ku baana ab’obujeemu abakola ebintu ebyo, 7 (F)ate nga nammwe edda mwe mwatambuliranga, bwe mwabikolanga. 8 (G)Naye kaakano mweyambulemu ebintu ebyo byonna; obusungu, n’ekiruyi, n’ettima, n’okuvvoola, n’okunyumya emboozi ey’ensonyi. 9 (H)Temulimbagananga kubanga mweyambulako omuntu ow’edda n’ebikolwa bye, 10 (I)ne mwambazibwa omuntu omuggya, nga mufuulibwa abaggya mu kifaananyi ky’oyo eyamutonda, ate ne mu kweyongera okumutegeera. 11 Olwo tewaba kwawulamu, Muyonaani na Muyudaaya, eyakomolebwa n’ataakomolebwa, Omunnaggwanga, n’Omusukusi, omuddu n’ow’eddembe, wabula Kristo ye byonna, era abeera mu ffe ffenna.
12 Ng’abalonde ba Katonda abatukuvu era abaagalwa, mwambalenga omwoyo ogusaasira, n’ekisa, n’obuwombeefu, n’obuteefu, n’obugumiikiriza. 13 (J)Bwe wabangawo omuntu yenna alina ensonga ku munne, muzibiikirizaganenga, era musonyiwaganenga. Nga Mukama waffe bwe yabasonyiwa era nammwe musonyiwaganenga. 14 (K)Okwagala kwe kusinga ebintu ebirala byonna, kubanga kwe kunyweza ebintu byonna.
15 (L)N’emirembe gya Kristo gifugenga emitima gyammwe, kubanga emirembe egyo gye mwayitirwa mu mubiri ogumu; era mwebazenga.
Amateeka g’omu Nnyumba z’Abakristaayo
16 (M)Ekigambo kya Kristo mu bugagga bwakyo kibeerenga mu mmwe, mu magezi gonna nga muyigirizagananga era nga mubuuliragananga mwekka na mwekka mu Zabbuli, ne mu nnyimba, ne mu biyiiye eby’omwoyo nga muyimbira Katonda nga mujjudde ekisa mu mitima gyammwe. 17 (N)Na buli kye munaakolanga mu kigambo oba mu kikolwa, byonna mubikolenga mu linnya lya Mukama waffe Yesu nga muyita mu ye okwebaza Katonda Kitaffe.
18 (O)Abakazi, muwulirenga babbammwe kubanga ekyo kye kituufu mu Mukama waffe.
19 Nammwe abaami mwagalenga bakyala bammwe era mubakwasenga kisa so si bukambwe.
20 Abaana, muwulirenga bazadde bammwe mu bintu byonna kubanga ekyo ky’ekisanyusa Katonda.
21 Nammwe bakitaabwe temunyiizanga baana bammwe baleme okuddirira mu mwoyo.
22 Abaddu, muwulirenga bakama bammwe ab’omu nsi mu bintu byonna, si kubasanyusa lwa kubanga babalaba, naye mubagonderenga n’omutima ogutaliimu bukuusa, nga mutya Mukama waffe. 23 Buli kye mukola mukikole ng’abakolera Mukama waffe so si abantu, 24 (P)nga mumanyi nga mulifuna empeera yammwe ey’omugabo gwammwe okuva eri Mukama waffe. Muweerezenga Mukama Kristo; 25 (Q)kubanga ayonoona, alisasulwa olw’ebikolwa bye, so tewaliba kusosola mu bantu.
46 (A)“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Omulyango ogw’oluggya olw’omunda olutunuulira Ebuvanjuba gunaabanga muggale ennaku mukaaga ezikolerwamu, naye ku lunaku olwa Ssabbiiti ne ku lunaku olw’omwezi ogwakaboneka gunaggulwanga. 2 (B)Omulangira anaayingiriranga mu kisasi okuva ebweru, n’ayimirira awali omufuubeeto ogw’omulyango. Bakabona banaateekateekanga ekiweebwayo kye ekyokebwa n’ebiweebwayo bye olw’emirembe. Anaasinzizanga awayingirirwa ku mulyango; n’oluvannyuma anaafulumanga, naye oluggi teluggalwenga okutuusa akawungeezi. 3 (C)Bwe batyo n’abantu ab’omu nsi bateekwa okusinzizanga ku luggi olw’omulyango mu maaso ga Mukama ku Ssabbiiti ne ku myezi egyakaboneka. 4 Ekiweebwayo ekyokebwa omulangira ky’anaaleetanga eri Mukama ku lunaku olwa Ssabbiiti kinaabanga abaana b’endiga ennume mukaaga nga tebaliiko kamogo n’endiga ennume enkulu emu eteriiko kamogo; 5 (D)n’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke ekinaaweebwangayo n’endiga ennume kinaabanga kilo kkumi na mukaaga, n’ekiweebwayo eky’obutta ekinaaweebwangayo n’abaana b’endiga ennume binaabanga ebirabo, awamu ne lita nnya ez’amafuta eza buli efa. 6 (E)Ku lunaku olw’omwezi ogwakaboneka anaawangayo ente ennume nga nto eteriiko kamogo, n’abaana b’endiga mukaaga n’endiga ennume nga nkulu, ebitaliiko kamogo; 7 (F)era anaawangayo ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke kilo kkumi na mukaaga ku lw’ente ennume, n’eky’emmere ey’empeke n’endiga ennume emu, n’abaana b’endiga nga bye birabo, awamu ne lita nnya ez’amafuta eza buli efa. 8 (G)Awo omulangira bw’anaayingiranga, anaayitanga mu kisasi ky’omulyango, era mu kkubo lye limu eryo mw’anaafulumiranga.
9 (H)“ ‘Abantu ab’omu nsi bwe banajjanga mu maaso ga Mukama ku mbaga ezaalagirwa, buli anaayingiranga mu mulyango ogw’Obukiikakkono okusinza, anaafulumiranga mu mulyango ogw’Obukiikaddyo; ne buli anaayingiriranga mu mulyango ogw’Obukiikaddyo anaafulumiranga mu mulyango ogw’Obukiikakkono; tewaabenga muntu addirayo mu kkubo ery’omulyango mwe yayingiridde, naye anaayitangamu buyisi n’aggukira ku luuyi olwolekera lwe yayingiriddeko. 10 (I)Omulangira anaabeeranga wakati mu bo, bwe banaayingiranga, naye anaayingiranga, bwe banaafulumanga, naye anaafulumanga. 11 (J)Ku mbaga ne mu biseera ebyalondebwa bino bye binaabanga ebiweebwayo: ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke nga kya kilo kkumi na mukaaga n’ente ennume emu ne kilo kkumi na mukaaga ez’emmere ey’empeke n’endiga ennume emu, awamu n’abaana b’endiga ng’omuntu bw’anaayinzanga, ng’okwo kw’otadde lita nnya ez’amafuta eza buli efa.
12 (K)“ ‘Awo omulangira bw’anaateekateekanga ekyo ky’asiimye ku bubwe n’akiwaayo eri Mukama, ng’ekiweebwayo ekyokebwa oba ng’ebiweebwayo olw’emirembe, anaaggulirwangawo omulyango ogutunuulira obuvanjuba, era nnaawangayo ekiweebwayo kye ekyokebwa oba ekiweebwayo kye olw’emirembe nga bw’akola ku lunaku olwa Ssabbiiti. N’oluvannyuma ng’amaze anaafulumanga, omulyango ne guggalwa.
13 (L)“ ‘Munaawangayo omwana gw’endiga ogw’omwaka ogumu ogutaliiko kamogo okuba ekiweebwayo eri Mukama buli lunaku; ekyo munaakikolanga buli nkya. 14 (M)Munaakiweerangayo n’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke buli nkya, ekiri kilo bbiri n’obutundu musanvu n’ekitundu awamu ne lita ennya ez’amafuta okunnyikiza obutta obulungi okuwangayo ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke eri Mukama ekya buli lunaku; kinaabanga ekiragiro ekitaliggwaawo. 15 (N)Noolwekyo omwana gw’endiga n’ekiweebwayo eky’obutta, n’amafuta binaaweebwangayo buli nkya okuba ekiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo.
16 (O)“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti; Omulangira bw’anaagabiranga omu ku batabani be ekirabo okuva ku by’omugabo gwe, kinaabanga busika bwa bazzukulu be; era nga bwansikirano. 17 (P)Naye omulangira bw’anaddiranga ekirabo okuva ku by’omugabo gwe n’akiwa omu ku baddu be, kinaabanga kikye okutuuka ku mwaka ogw’eddembe, n’oluvannyuma kinaddizibwanga omulangira kubanga omugabo gunaabanga gugwe n’abaana be bokka. 18 (Q)Omulangira taatwalenga ttaka ly’abantu okubagoba mu butaka bwabwe; anaagabiranga abaana be omugabo gwabwe okuva ku butaka bwe, waleme okubaawo omuntu yenna ku bantu bange aggyibwako obutaka bwe.’ ”
19 (R)Awo omusajja n’ampisa mu mulyango ku luuyi olw’omulyango wakati w’ebisenge ebitukuvu ebya bakabona olutunuulira Obukiikakkono, n’andaga ekifo ku luuyi olusembayo Ebugwanjuba. 20 (S)N’aŋŋamba nti, “Kino kye kifo bakabona we banaafumbiranga ekiweebwayo olw’omusango n’ekiweebwayo olw’ekibi, era gye banaafumbiranga emigaati egy’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke, baleme okubifulumya mu luggya olw’ebweru okutukuza abantu.”
21 N’oluvannyuma omusajja n’antwala mu luggya olw’ebweru, n’annambuza ensonda ennya ez’oluggya, mu buli nsonda ne ndabamu oluggya olulala. 22 Mu nsonda ennya ez’oluggya mwalimu empya entonotono obuwanvu mita amakumi abiri mu emu n’obugazi mita kkumi na ttaano ne desimoolo musanvu, era nga za kigera kimu. 23 Munda okwetooloola empya mwalimu ebifo eby’okuweesezaamu nga mulimu n’ebyoto wansi w’embu enjuuyi zonna. 24 N’aŋŋamba nti, “Gano ge mafumbiro abaweereza gye banaafumbiranga sssaddaaka abantu ze banaawangayo mu yeekaalu.”
Okusaba kw’oyo ali mu buyinike ng’ayigganyizibwa nga yeeyongedde okunafuwa, n’afukumula byonna ebimuli ku mutima mu maaso ga Mukama.
102 (A)Wulira okusaba kwange, Ayi Mukama,
okkirize okukoowoola kwange kutuuke gy’oli.
2 (B)Tonneekweka
mu biseera eby’obuyinike bwange.
Ntegera okutu kwo
onnyanukule mangu bwe nkukoowoola!
3 (C)Kubanga ennaku zange zifuumuuka ng’omukka,
n’amagumba gange gaaka ng’amanda.
4 (D)Omutima gwange gulinnyirirwa ng’omuddo, era guwotose;
neerabira n’okulya emmere yange.
5 Olw’okwaziirana kwange okunene,
nzenna nfuuse ŋŋumbagumba.
6 (E)Ndi ng’ekiwuugulu eky’omu ddungu,
era ng’ekiwuugulu eky’omu nsiko.
7 (F)Nsula ntunula,
nga ndi ng’ekinyonyi ekitudde kyokka ku kasolya k’ennyumba.
8 Abalabe bange banvuma olunaku lwonna;
abo abanduulira bakozesa linnya lyange nga bakolima.
9 (G)Kubanga ndya evvu ng’alya emmere,
n’amaziga gange ne geegattika mu kyokunywa kyange.
10 (H)Olw’obusungu n’okunyiiga kwo;
onneegobyeko n’onsuula eyo.
11 (I)Ennaku zange ziri ng’ekisiikirize ky’olweggulo nga buziba;
mpotoka ng’omuddo.
12 (J)Naye ggwe, Ayi Mukama, obeera mu ntebe yo ey’obwakabaka emirembe n’emirembe;
erinnya lyo linajjukirwanga ab’omu mirembe gyonna.
13 (K)Olisituka n’osaasira Sayuuni,
kino kye kiseera okulaga Sayuuni omukwano;
ekiseera kye wateekateeka kituuse.
14 Kubanga amayinja gaakyo abaweereza bo bagaagala nnyo,
n’enfuufu y’omu kibuga ekyo ebakwasa ekisa.
15 (L)Amawanga gonna ganaatyanga erinnya lya Mukama;
ne bakabaka bonna ab’ensi banaakankananga olw’ekitiibwa kyo.
16 (M)Kubanga Mukama alizimba Sayuuni buto,
era n’alabika mu kitiibwa kye.
17 (N)Alyanukula okusaba kw’abanaku;
talinyooma kwegayirira kwabwe.
18 (O)Bino leka biwandiikirwe ab’omu mirembe egirijja,
abantu abatannatondebwa bwe balibisoma balyoke batendereze Mukama.
19 (P)Bategeere nti Mukama yatunula wansi ng’asinziira waggulu mu kifo kye ekitukuvu;
Mukama yasinzira mu ggulu n’atunuulira ensi,
20 (Q)okuwulira okusinda kw’abasibe,
n’okusumulula abo abasaliddwa ogw’okufa.
21 (R)Erinnya lya Mukama, liryoke litenderezebwe mu Sayuuni,
bamutenderezenga mu Yerusaalemi;
22 abantu nga bakuŋŋaanye, awamu n’obwakabaka,
okusinza Mukama.
23 Mukama ammazeemu amaanyi nga nkyali muvubuka;
akendeezezza ku nnaku z’obulamu bwange.
24 (S)Ne ndyoka mmukaabira nti,
“Ayi Katonda wange, tontwala nga nkyali mu makkati g’emyaka gy’obulamu bwange,
ggw’abeera omulamu emirembe gyonna.
25 (T)Ku ntandikwa wassaawo omusingi gw’ensi;
n’eggulu gy’emirimu gy’emikono gyo.
26 (U)Byonna biriggwaawo, naye ggwe oli wa lubeerera.
Byonna birikaddiwa ng’ebyambalo.
Olibikyusa ng’ebyambalo, ne bisuulibwa.
27 (V)Naye ggwe tokyuka oli wa lubeerera
n’emyaka gyo tegirikoma.
28 (W)Abaana b’abaweereza bo baliba mu ddembe;
ne bazzukulu baabwe banaabeeranga w’oli nga tebalina kye batya.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.