M’Cheyne Bible Reading Plan
Okutwalibwa kwa Eriya mu Ggulu
2 (A)Awo Mukama bwe yali ng’anaatera okutwala Eriya mu ggulu mu mbuyaga ey’amaanyi, nga Eriya ne Erisa bava e Girugaali, 2 (B)Eriya n’agamba Erisa nti, “Sigala wano, ŋŋende e Beseri[a] Mukama gy’antumye.” Naye Erisa n’amuddamu nti, “Mazima nga Mukama bw’ali omulamu, era nga nawe bw’oli omulamu, siireme kugenda naawe.”
Awo ne baserengeta bonna e Beseri. 3 (C)Ekibiina ekya bannabbi abaali e Beseri ne bagenda eri Erisa ne bamugamba nti, “Okimanyi nga Mukama anaatwala mukama wo olwa leero?”
Erisa n’abaddamu nti, “Nkimanyi, naye temukyogerako.”
4 (D)Eriya n’addamu omulundi ogwokubiri n’agamba Erisa nti, “Sigala wano, ŋŋende e Yeriko Mukama gy’antumye.” Naye Erisa n’amuddamu nti, “Mazima nga Mukama bw’ali omulamu, era nga nawe bw’oli omulamu, siireme kugenda naawe.”
Awo ne bagenda bonna e Yeriko.
5 (E)Awo ekibiina ekya bannabbi abaali e Yeriko ne batuukirira Erisa ne bamugamba nti, “Okimanyi nga Mukama anaatwala mukama wo olwa leero?” Erisa n’abaddamu nti, “Weewaawo nkimanyi, naye temukyogerako.”
6 (F)Eriya n’addamu nate n’amugamba nti, “Sigala wano, nserengete ku Yoludaani Mukama gy’antumye.” Naye Erisa n’amuddamu nti, “Mazima nga Mukama bw’ali omulamu, era nga nawe bw’oli omulamu, siireme kugenda naawe.”
Awo ne batambula bombi.
7 Ne waba ekibiina kya bannabbi amakumi ataano abaali bayimiridde akabanga okuva Eriya ne Erisa we baali ku lubalama lw’omugga Yoludaani. 8 (G)Awo Eriya n’addira omunagiro gwe n’aguzinga wamu n’akuba amazzi ne gaawulibwamu, agamu ne gadda ku luuyi olwa ddyo n’amalala ku luuyi olwa kkono, bombi ne bayita ku lukalu.
9 (H)Awo bwe baamala okusomoka, Eriya n’abuuza Erisa nti, “Kiki ky’oyagala nkukolere nga sinnaba kukuggyibwako?” Erisa n’amuddamu nti, “Nkusaba, nsikire emigabo ebiri egy’Omwoyo akuliko.” 10 N’amugamba nti, “Ky’osabye kigambo kizibu, naye bw’onondaba nga ntwalibwa, kale kinaaba nga bw’osabye, naye bw’otondabe tekiibe bwe kityo.” 11 (I)Awo bwe baali batambula nga bwe banyumya bokka na bokka, ne walabika eggaali ey’omuliro n’embalaasi ez’omuliro ne zibaawula, era mu kiseera kye kimu Eriya n’atwalibwa mu ggulu mu mbuyaga ey’amaanyi. 12 (J)Awo Erisa bwe yalaba ekyo, n’ayogerera waggulu nti, “Kitange, Kitange, amagaali n’abeebagala embalaasi aba Isirayiri!” Erisa n’ataddamu kumulaba nate. N’addira engoye ze yali ayambadde, n’aziyuzaayuza.
13 Waaliwo omunagiro ogwali gusuulibbwa Eriya ng’atwalibwa mu ggulu, era ogwo Erisa gwe yalonda n’addayo ku mugga Yoludaani n’ayimirira ku lubalama lw’omugga. 14 (K)N’addira omunagiro gwe yali alonze n’aguzinga n’akuba amazzi n’ayogera nti, “Kaakano Mukama, Katonda wa Eriya ali luuyi wa?” Bwe yakuba amazzi ne geeyawulamu, agamu ne gadda ku luuyi olwa ddyo n’amalala ku luuyi olwa kkono, n’asomoka.
15 (L)Awo ekibiina ekya bannabbi abaali mu Yeriko ne bayogera nti, “Omwoyo wa Eriya ali ku Erisa.” Ne bagenda okumusisinkana ne bamuvuunamira. 16 (M)Ne bamugamba nti, “Laba, ffe abaddu bo tulina abasajja abazira amakumi ataano. Bagende banoonye mukama wo, osanga Omwoyo wa Mukama amututte n’amuteeka ku bumu ku busozi oba mu kiwonvu.”
Erisa n’abaddamu nti, “Temutawaana, era temubatuma.”
17 (N)Naye bwe baamuwaliriza, n’atendewalirwa, n’abagamba nti, “Kale, mubatume.” Awo ne batuma abasajja amakumi ataano, ne banoonya okumala ennaku ssatu naye ne batamulaba. 18 Bwe bakomawo gy’ali mu Yeriko, n’abagamba nti, “Saabalabudde obutagenda?”
Okutukuzibwa kwa Mazzi
19 Awo abasajja ab’omu kibuga ne bagenda eri Erisa ne bamugamba nti, “Mukama waffe, ekibuga kino kiri mu kifo kirungi, nga nawe bw’olaba, naye amazzi gaamu mabi, era n’ensi si njimu.” 20 N’abagamba nti, “Mundeetere ebbakuli empya nga mutaddemu omunnyo.” Ne bagimuleetera. 21 (O)N’aserengeta ku nsulo ey’amazzi, n’ayiwamu omunnyo, n’ayogera nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Nnoongosezza amazzi gano era tegakyaddamu kuleeta kufa wadde okufuula ensi obutaba njimu.’ ” 22 (P)Amazzi ne galongooka, ng’ekigambo kya Mukama kye yayogerera mu Erisa bwe kyali, n’okutuusa ku lunaku lwa leero.
Abavubuka basekerera Erisa
23 (Q)Erisa bwe yava eyo n’akwata ekkubo erigenda e Beseri. Naye ng’ali mu kkubo, n’asisinkana abavubuka ab’omu kibuga ekyo ne bamusekerera nga bwe boogera nti, “Mulabe ow’ekiwalaata! Mulabe ow’ekiwalaata!” 24 (R)N’akyuka n’abatunuulira, n’abakolimira mu linnya lya Mukama. Awo ebisolo ebinene bibiri eby’ekika eky’eddubu ne biva mu kibira ne bitaagulataagula abavubuka amakumi ana mu babiri ku bo. 25 (S)Ne yeeyongerayo n’alaga ku Lusozi Kalumeeri, oluvannyuma n’addayo e Samaliya[b].
Ebikolwa by’omulabe wa Kristo
2 (A)Kaakano abooluganda, ku by’okukomawo kwa Mukama waffe Yesu Kristo, era n’okukuŋŋaanyizibwa okumusisinkana, tubasaba 2 (B)muleme okweraliikirira wadde emitima okubeewanika newaakubadde olw’omwoyo, newaakubadde olw’ekigambo wadde olw’ebbaluwa, ebirabika ng’ebivudde gye tuli, nga biranga nti olunaku lwa Mukama lutuuse. 3 (C)Omuntu yenna tabalimbalimbanga mu ngeri yonna; kubanga okuggyako ng’obujeemu busoose okujja, n’omuntu oli ow’obujeemu, omwana w’okuzikirira ng’amaze okulabisibwa, 4 (D)oyo alivvoola Katonda ne yeegulumiza okusinga ebintu byonna nga yeeyita katonda oba ekissibwamu ekitiibwa atuule mu yeekaalu ya Katonda omwo nga yeefuula okuba Katonda.
5 Temujjukira ng’ebyo nabibategeeza bwe nnali nammwe? 6 Era ekikyamuziyizza mukimanyi kubanga tagenda kujja okutuusa ng’ekiseera kye kituuse. 7 Kubanga ekyama ky’obujeemu kyatandika dda okukola, naye ye yennyini tagenda kujja okutuusa oyo amuziyiza lw’aliva mu kkubo. 8 (E)Olwo omuntu ow’obujeemu alyoke alabisibwe, Mukama waffe Yesu gw’alimalawo n’omukka ogw’omu kamwa ke n’amuzikiriza n’okulabisibwa kw’okujja kwe. 9 (F)Omuntu oyo alijjira mu maanyi ga Setaani gonna n’akola obubonero n’eby’amagero, eby’obulimba, 10 (G)era n’obulimba obwa buli ngeri obw’obutali butuukirivu eri abo abazikirizibwa, kubanga bagaana okukkiriza amazima okulokolebwa. 11 (H)Katonda kyava abawaayo eri okubuzibwabuzibwa okw’amaanyi bakkirize eby’obulimba. 12 (I)Era bonna balyoke basalirwe omusango olw’okukkiriza obulimba, ne bagaana amazima ne basanyukira okukola ebitali bya butuukirivu.
13 (J)Naye kitugwanidde okwebazanga Katonda ennaku zonna ku lwammwe, abooluganda abaagalwa mu Mukama waffe, kubanga Katonda yabalondera obulokozi okuva ku lubereberye, ng’abatukuza olw’okukola kw’Omwoyo n’okukkiriza amazima, 14 ge yabayitira ng’ayita mu Njiri yaffe mulyoke mufune ekitiibwa kya Mukama waffe Yesu Kristo. 15 (K)Noolwekyo abooluganda, munywererenga ku ebyo bye twabayigiriza mu bbaluwa zaffe oba mu bigambo byaffe.
16 (L)Kale Mukama waffe Yesu Kristo yennyini, ne Katonda Kitaffe eyatwagala n’atuwa essanyu n’essuubi eddungi olw’ekisa kye, 17 (M)abazzeemu amaanyi, era abanywezenga mu buli kye mukola ne mu buli kigambo ekirungi.
Danyeri asuulibwa mu Mpuku y’Empologoma
6 Daliyo yalonda abaamasaza kikumi mu abiri mu bwakabaka bwonna, 2 (A)era mu abo n’alonda abaabakuliranga basatu, Danyeri nga y’omu ku bo. Abaamasaza baateekebwawo okutegeezanga ng’obwakabaka bwe, bwe bwaddukanyizibwanga, kabaka aleme kufiirizibwa. Era ekyo ne kisanyusa Daliyo. 3 (B)Mu biro ebyo Danyeri n’ayatiikirira nnyo okusinga abakulu abalala bonna n’abaamasaza bonna kubanga yalimu omwoyo omulungi, era kabaka n’ateekateeka okumukuza okuvunaanyizibwanga ensonga zonna z’obwakabaka bwonna. 4 Olwawulira ebyo, abakungu abalala ababiri n’abaamasaza ne basala amagezi okunoonya ensonga ku Danyeri ku nzirukanya ye ey’ebyemirimu egy’obwakabaka, naye ne batayinza kulaba nsonga nkyamu newaakubadde akabi konna, kubanga yali musajja mwesigwa ataalina kwonoona okw’engeri yonna newaakubadde obulagajjavu. 5 (C)Awo abasajja abo ne bayiiya ensonga endala, ne boogera nti, “Tetugenda kulaba nsonga evunaanyisa Danyeri wabula ng’ekwata ku tteeka lya Katonda we.”
6 (D)Abakungu abo n’abaamasaza kyebaava bagenda bonna eri kabaka mu kibiina ne boogera nti, “Ayi kabaka Daliyo, owangaale! 7 (E)Abakungu bonna, n’abamyuka baabwe, n’abaamasaza, n’abawi b’amagezi ab’oku ntikko, n’abakungu, bateesezza ne bakkiriziganya okusaba kabaka okuteeka etteeka, n’okuwa ekiragiro ekinywevu, nga buli anaasabanga eri katonda omulala oba omuntu omulala yenna mu nnaku amakumi asatu ezinaddirira, okuggyako ng’asinza ggwe, ayi kabaka, asuulibwe mu mpuku y’empologoma. 8 (F)Kaakano ayi kabaka teeka etteeka era liwandiikibwe, ng’amateeka g’Abameedi n’Abaperusi agatajjulukuka bwe gali, kireme okukyusibwa.”
9 Awo kabaka Daliyo n’akola etteeka n’alissaako n’omukono gwe. 10 (G)Awo Danyeri bwe yamanya ng’etteeka liwandiikiddwa, n’agenda ewuwe mu nnyumba ye, n’ayambuka mu kisenge kye ekya waggulu ekyalina amadirisa nga goolekedde Yerusaalemi, n’afukamiranga emirundi esatu olunaku, n’asabanga era ne yeebazanga Katonda we nga bwe yakolanga bulijjo. 11 Awo abasajja bali ne bateekateeka okugenda ng’ekibiina ne basanga Danyeri ng’asaba era nga yeegayirira Katonda we. 12 (H)Ne bagenda eri kabaka ne bamujjukiza ekiragiro ne boogera nti, “Ayi kabaka, tewateeka etteeka nga buli anaasabanga katonda omulala oba omuntu omulala yenna mu nnaku amakumi asatu eziddirira wabula ng’asinza ggwe, alisuulibwa mu mpuku y’empologoma?”
Kabaka n’addamu nti, “Weewaawo, etteeka bwe liri, ng’amateeka g’Abameedi n’Abaperusi bwe gali agatajjulukuka.”
13 (I)Awo ne bagamba nti, “Danyeri omu ku baawaŋŋangusibwa okuva mu Yuda, takussaako mwoyo, ayi kabaka, newaakubadde etteeka ly’owandiise. Asaba eri Katonda we emirundi esatu buli lunaku.” 14 (J)Kabaka bwe yawulira ebigambo ebyo n’anakuwala nnyo, n’agezaako okuwonya Danyeri, era n’amala olunaku lwonna ng’afuba nnyo okumuwonya.
15 (K)Naye abasajja ne bagenda bonna ng’ekibiina eri kabaka ne bamugamba nti, “Jjukira, ayi kabaka, ng’etteeka ery’Abameedi n’Abaperusi kabaka ly’ataddeko omukono, terikyusibwa.”
16 (L)Awo kabaka n’alagira, Danyeri n’aleetebwa, n’asuulibwa mu mpuku y’empologoma. Kabaka n’agamba Danyeri nti, “Nkusabira eri Katonda wo, gw’oweereza bulijjo akulokole!”
17 (M)Ne baleeta ejjinja ne baliteeka ku mulyango gw’empuku, kabaka n’alissaako akabonero ke ye, n’abakungu be ne balissaako obubonero bwabwe, ekigambo kyonna kireme okukyusibwa ku nsonga ya Danyeri. 18 (N)Awo kabaka n’addayo mu lubiri lwe, naye n’atalya kintu na kimu ekiro ekyo, era n’atakkiriza kusanyusibwa, n’otulo ne tumubula.
19 Ku makya ennyo emambya ng’esaze, kabaka n’agolokoka n’ayanguwa okugenda ku mpuku ey’empologoma. 20 (O)Bwe yasembera okumpi ne Danyeri we yali, n’amukoowoola mu ddoboozi ery’ennaku ng’agamba nti, “Danyeri omuddu wa Katonda omulamu, Katonda wo, gw’oweereza bulijjo akuwonyezza empologoma?”
21 (P)Danyeri n’addamu nti, “Wangaala, ayi kabaka. 22 (Q)Katonda wange yatumye malayika we, n’aziba emimwa gy’empologoma zireme okunkolako akabi kubanga nasangiddwa nga sirina musango mu maaso ge. Ate ne mu maaso go sirina musango, ayi kabaka.”
23 (R)Kabaka n’asanyuka nnyo n’alagira Danyeri aggyibwe mu mpuku. Awo Danyeri n’aggyibwa mu mpuku, n’atasangibwako kiwundu na kimu, kubanga yeesiga Katonda we.
24 (S)Awo amangwago kabaka n’alagira, abasajja abaalumiriza Danyeri baleetebwe, era basuulibwe mu mpuku y’empologoma, wamu ne bakyala baabwe n’abaana baabwe. Baali tebanatuuka na ku ntobo y’empuku, empologoma ne zibasinza amaanyi ne zimenyaamenya amagumba gaabwe gonna.
25 (T)Awo kabaka Daliyo n’awandiikira abantu bonna, n’amawanga gonna n’abantu ab’ennimi zonna mu nsi yonna nti,
“Emirembe gibeere gye muli!
26 (U)“Nteeka etteeka mu buli kitundu ky’obwakabaka bwange bwonna nga ndagira nti abantu bateekwa okutya n’okussaamu Katonda wa Danyeri ekitiibwa.
“Kubanga ye Katonda omulamu,
abeerera emirembe gyonna;
n’obwakabaka bwe tebuliggwaawo,
n’okufuga kwe tekulikoma.
27 (V)Alokola era awonya:
akola obubonero n’ebyamagero
mu ggulu ne ku nsi.
Yalokodde Danyeri
mu mannyo[a] g’empologoma.”
28 (W)Awo Danyeri n’aba n’omukisa mu mirembe gya Daliyo era n’awangaala okutuusa ne mu mirembe gya Kuulo Omuperuzi.
Alina omukisa omuntu atya Katonda,
era asanyukira ennyo mu mateeka ge.
2 Abaana be baliba ba kitiibwa mu nsi;
omulembe gw’abalongoofu guliweebwa omukisa.
3 Ennyumba ye enejjulanga ebintu n’obugagga obungi;
era anaabanga mutuukirivu ennaku zonna.
4 (B)Ne mu kizikiza, ekitangaala kyakira omulongoofu,
alina ekisa, n’oyo alina okusaasira, era omutuukirivu.
5 (C)Omuntu oyo agabira abeetaaga, era tawolera magoba,
era akola emirimu gye gyonna n’obwenkanya, alifuna ebirungi.
6 (D)Omutuukirivu talinyeenyezebwa,
era anajjukirwanga ennaku zonna.
7 (E)Amawulire amabi tegaamutiisenga,
kubanga omutima gwe munywevu gwesiga Mukama.
8 (F)Omutima gwe guteredde, tewali ky’anaatyanga,
era oluvannyuma alitunuulira abalabe be n’amaaso ag’obuwanguzi.
9 (G)Agabidde abaavu bye beetaaga;
mutuukirivu ebbanga lyonna;
era bonna banaamussangamu ekitiibwa.
10 (H)Omubi anaabirabanga ebyo, n’asunguwala,
n’aluma abugigi, naye nga talina kya kukola.
Okwegomba kw’ababi tekuubengako kye kubagasa.
113 (I)Mutendereze Mukama!
Mumutendereze, mmwe abaweereza be,
mutendereze erinnya lya Mukama.
2 (J)Erinnya lya Mukama litenderezebwe
okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.
3 (K)Enjuba weeviirayo okutuusa bw’egwa,
erinnya lya Mukama litenderezebwenga.
4 (L)Mukama agulumizibwa okusinga amawanga gonna,
era n’ekitiibwa kye kisinga eggulu.
5 (M)Ani afaanana nga Mukama Katonda waffe,
atuula ku ntebe ye ey’obwakabaka eri waggulu ennyo,
6 (N)ne yeetoowaza
okutunuulira eggulu n’ensi?
7 (O)Abaavu abayimusa n’abaggya mu nfuufu;
n’abali mu kwetaaga n’abasitula ng’abaggya mu vvu,
8 (P)n’abatuuza wamu n’abalangira,
awamu n’abalangira abo abafuga abantu be.
9 (Q)Omukazi omugumba amuwa abaana,
n’abeera mu maka ge n’ezzadde lye ng’ajjudde essanyu.
Mutendereze Mukama!
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.