Add parallel Print Page Options

24 Yekolaamu n’afa n’aziikibwa ku biggya bya bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi. Akaziya mutabani we n’amusikira.

Read full chapter

29 (A)Awo kabaka Yolaamu n’addayo e Yezuleeri okumujjanjaba ebiwundu Abasuuli bye baamuleetako ng’ali e Lama, bwe yali ng’alwanagana ne Kazayeeri kabaka w’e Busuuli. Akaziya mutabani wa Yekolaamu kabaka wa Yuda n’aserengeta e Yezuleeri okulaba ku Yolaamu mutabani wa Akabu, kubanga yali afumitiddwa ebiwundu.

Read full chapter

(A)Awo Yeeku bwe yali ng’asalira ennyumba ya Akabu omusango, n’asanga abakungu ba Yuda, ne batabani ba baganda ba Akaziya, abaaweerezanga Akaziya, n’abatta.

Read full chapter

19 (A)Awo Basuseba bwe yagenda eri Kabaka Sulemaani, okwogererayo Adoniya, Kabaka n’agolokoka okumusisinkana, n’akutama n’oluvannyuma n’atuula ku ntebe ye ey’obwakabaka. N’atumya entebe ey’obwakabaka endala nnyina atuuleko[a], n’atuula ku mukono gwa kabaka ogwa ddyo.

Read full chapter

Footnotes

  1. 2:19 Mu nsi ezo ez’obuvanjuba Nnabagereka yalina emirimu egy’obwakabaka gye yakolanga, era yali wa kitiibwa nnyo mu mpya za kabaka.