M’Cheyne Bible Reading Plan
Abafirisuuti Bagaana Dawudi Okubeegattako mu Lutalo
29 (A)Awo Abafirisuuti ne bakuŋŋaanyiza eggye lyabwe lyonna e Afeki, n’Abayisirayiri ne basiisira ku luzzi oluli mu Yezuleeri. 2 (B)Abakulembeze b’Abafirisuuti bwe baali nga bakumba n’ebibinja byabwe eby’ebikumi n’eby’enkumi, Dawudi n’abasajja be ne babagoberera nga babavaako emabega wamu ne Akisi. 3 (C)Abaduumizi b’Abafirisuuti ne babuuza nti, “Ate bano Abaebbulaniya bakola ki wano?”
Akisi n’abaddamu nti, “Oyo ye Dawudi, omukungu wa Sawulo kabaka wa Isirayiri. Abadde nange okusukka mu mwaka, era okuva ku lunaku lwe yayabulira Sawulo n’okutuusa leero, sirabanga nsonga ku ye.” 4 (D)Naye abaduumizi b’Abafirisuuti ne bamunyiigira ne bamugamba nti, “Sindika omusajja oyo addeyo mu kifo kye wamuwa. Tasaanye kugenda naffe mu lutalo, si kulwa nga atwefuukira wakati mu lutalo. Olowooza waliwo ekkubo eddala erisinga lino okumusobozesa okufuna okuganja eri mukama we bw’amutwalira emitwe gy’abasajja baffe? 5 (E)Oyo si ye Dawudi gwe baayimbangako, nga bazina, nga boogera nti,
“ ‘Sawulo asse enkumi ze,
ne Dawudi asse emitwalo gye?’ ”
6 (F)Awo Akisi n’ayita Dawudi n’amugamba nti, “Amazima ddala nga Mukama bw’ali omulamu, obadde mwesimbu era eyeesigibwa, era nandyagadde oweerereze wamu nange mu magye. Okuva ku lunaku lwe wajja gye ndi n’okutuusa leero sirabanga bukyamu mu ggwe, naye abakulu tebakusiimye. 7 Noolwekyo ddayo kaakano, ogende mirembe oleme okwemulugunyizisa abafuzi b’Abafirisuuti.”
8 Awo Dawudi n’amubuuza nti, “Naye nkoze ki? Nsonga ki gy’olabye etali nnungi mu muweereza wo okuva ku lunaku lwe natandika okukuweereza n’okutuusa leero? Kiki ekindobera okugenda okulwanyisa abalabe ba mukama wange kabaka?”
9 (G)Akisi n’amuddamu nti, “Mmanyi nga tolina nsonga n’emu mu maaso gange nga malayika wa Katonda, naye abaduumizi b’Abafirisuuti bagambye nti, ‘Tosaana kugenda naffe mu lutalo.’ 10 (H)Kaakano obudde bwe bunaakya onoogolokoka ggwe wamu n’abasajja ba mukama wo, be wazze nabo, mugende ku makya obudde nga bwakalaba.”
11 Awo Dawudi ne basajja be ne bagolokoka ku makya nnyo ne baddayo mu nsi ey’Abafirisuuti, Abafirisuuti bo ne bambuka e Yezuleeri.
Dawudi Azikiriza Abamaleki
30 (I)Awo Dawudi ne basajja be bwe baatuuka e Zikulagi, nga wayiseewo ennaku ssatu, baasanga Abamaleki baalumbye obukiikaddyo mu ddungu; ne Zikulagi, baali bakikumyeko omuliro. 2 Baali batutte abakazi nga basibe, ne bonna abaalimu, abato era n’abakulu. Tewaali n’omu ku bo gwe batta, wabula okubawamba ne babatwala.
3 Dawudi ne basajja be bwe baatuuka mu kibuga, baasanga kyokebbwa, era abakazi baabwe n’abaana baabwe aboobulenzi n’aboobuwala nga nabo bawambiddwa. 4 Awo Dawudi ne bonna abaali awamu naye ne bakaaba nnyo okutuusa lwe baggweeramu ddala agakaaba. 5 (J)Abakyala ba Dawudi bombi, Akinoamu Omuyezuleeri ne Abbigayiri nnamwandu wa Nabali Omukalumeeri, nabo baali babatutte. 6 (K)Mu kiseera ekyo Dawudi n’anakuwala nnyo kubanga basajja be baali boogera ku kumukuba amayinja, buli omu nga munyiikaavu mu mutima olwa batabani baabwe ne bawala baabwe abaali batwalibbwa. Naye Dawudi n’afuna amaanyi okuva eri Mukama Katonda we.
7 (L)Dawudi n’agamba Abiyasaali kabona, mutabani wa Akimereki nti, “Ndeetera ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi.” Awo Abiyasaali n’agimuleetera. 8 (M)Dawudi ne yeebuuza ku Mukama nti, “Ngoberere ekibinja ekyo, nnaabakwata?” N’amuddamu nti, “Bagoberere, kubanga ojja kusobola okununula abawambe bonna.”
9 (N)Awo Dawudi n’abasajja lukaaga ne batuuka ku kagga Besoli, abamu ku bo ne basigala awo, 10 (O)kubanga ebikumi bibiri ku bo baali bakooye nnyo n’okuyinza nga tebayinza kusomoka kagga. Naye Dawudi n’abalala ebikumi bina ne banyiikira okugoberera omulabe, ebikumi ebibiri ne basigala ku kagga nga bakooye.
11 Ne basanga Omumisiri mu nnimiro ne bamuleeta eri Dawudi. Ne bamuwa amazzi okunywa, n’emmere n’alya, 12 (P)ne bamuwa ekitole eky’ettiini n’ebirimba bibiri eby’ezabbibu enkalu. N’alya n’addamu amaanyi, kubanga yali amaze ennaku ssatu, emisana n’ekiro nga talidde ku mmere wadde okunywa ku mazzi.
13 Awo Dawudi n’amubuuza nti, “Oli w’ani era ova wa?” N’addamu nti, “Ndi Mumisiri, omuweereza w’Omwamaleki. Mmaze ennaku ssatu nga ndi mulwadde muyi era mukama wange kyeyavudde ansuula wano. 14 (Q)Twalumba obukiikaddyo obw’Abakeresi[a], n’ensi ya Yuda n’obukiikaddyo obwa Kalebu, ne twokya ne Zikulagi.” 15 Dawudi n’amubuuza nti, “Oyinza okuntwala eri ekibinja ekyo ekyalumbye?” N’amuddamu nti, “Ssooka ondayirire Katonda, nga tolinzita so tolimpaayo eri mukama wange, ndyoke nkuserengese gye bali.”
16 (R)N’abakulembera n’abatwalayo, era laba, nga basaasaanye mu kifo kyonna ku ttale, nga balya, nga banywa, nga bazina olw’omunyago omunene gwe baggya mu nsi ey’Abafirisuuti, ne mu nsi ya Yuda. 17 (S)Dawudi n’atandika okubatta okuva akawungeezi okutuusa enkeera, ne watawonawo n’omu, okuggyako abavubuka ebikumi bina abeebagala eŋŋamira ne badduka. 18 (T)Dawudi n’akomyawo byonna Abamaleki bye baali banyaze, ng’omwo mwe muli ne bakyala be ababiri abaali bawambiddwa. 19 Ne watabaawo na kimu ekyabula, oba kitono oba kinene, newaakubadde abaana aboobulenzi oba aboobuwala, n’omunyago na buli kintu kyonna ku ebyo bye baatwala. Dawudi yakomyawo buli kimu. 20 N’atwala ebisibo byonna n’amagana gonna, abasajja be ne babikulembeza ebisolo ebirala byonna, nga bwe boogera nti, “Guno gwe munyago gwa Dawudi.”
21 (U)Awo Dawudi n’addayo eri bali ebikumi ebibiri abaali bakooye ennyo, nga tebayinza kumugoberera, abaasigala ku kagga Besoli. Ne bavaayo okusisinkana Dawudi n’abantu abaali naye, n’abalamusa. 22 Naye abamu ku basajja abaagenda ne Dawudi abaali ababi n’abalala nga bafujjo, ne boogera nti, “Tetujja kugabana nabo munyago gwe twasuuzizza omulabe, kubanga tebaagenze naffe. Wabula, buli musajja addizibwe mukazi we n’abaana be agende.”
23 Naye Dawudi n’addamu nti, “Nedda baganda bange, temusaana kukola bwe mutyo, Mukama by’atuwadde. Atukuumye era n’awaayo mu mukono gwaffe ekibinja ekyatulumbye. 24 (V)Ani anaabawuliriza ku nsonga eyo? Omuntu eyagenze mu lutalo ky’anaagabana, kinaaba kyekimu n’eky’oli eyasigadde ng’akuuma ebintu ebikozesebwa. Bonna banaagabana kyenkanyi.” 25 Ekyo Dawudi n’akifuula etteeka n’empisa mu Isirayiri ne leero.
26 Awo Dawudi bwe yatuuka mu Zikulagi, n’aweereza abakadde ba Yuda ebimu ku bintu eby’omunyago, abaali mikwano gye, ng’agamba nti, “Ekyo kirabo okuva ku munyago gw’abalabe ba Mukama.”
27 (W)Yakiweereza ab’e Beseri, abaali mu bukiikaddyo mu Lamosi n’ab’e Yattiri, 28 (X)ab’e Aloweri, n’e Sifumosi, n’e Esutemoa; 29 (Y)n’e Lakali, n’abaali mu bibuga eby’Abayerameeri, ne mu bibuga eby’Abakeeni; 30 (Z)n’e Koluma, n’e Kolasani n’e Asaki; 31 (AA)n’e Kebbulooni, ne bonna abaali mu bifo byonna Dawudi ne basajja be gye baatambuliranga.
Okulabula ku Bakatonda Abalala
10 (A)Abooluganda, musaana mutegeere nga bajjajjaffe bonna baakulemberwa ekire, era bonna ne bayita mu nnyanja, 2 bwe batyo bonna ne bakulemberwa Musa ne babatizibwa mu kire ne mu nnyanja. 3 Bonna baalyanga emmere y’emu ey’omwoyo, 4 (B)era bonna baanywanga ekyokunywa kye kimu eky’omwoyo, kubanga bonna baanywanga mu lwazi olw’omwoyo olwabagobereranga era olwazi olwo yali Kristo. 5 (C)Naye era abasinga obungi Katonda teyabasiima, bwe batyo ne bazikirizibwa mu ddungu.
6 Ebintu bino ebyabatuukako bitulabula obuteegomba bibi nga bo bwe baakola. 7 (D)Temusinzanga bakatonda balala, ng’abamu ku bo bwe baali, ng’Ekyawandiikibwa bwe kigamba nti, “Abantu baatuula okulya n’okunywa ne basituka ne bakola effujjo.” 8 (E)Tetusaana kubeera benzi ng’abamu ku bo bwe baali, abantu emitwalo ebiri mu enkumi ssatu ku bo ne bafa mu lunaku lumu. 9 (F)Era tetusaana kukema Kristo ng’abamu ku bo bwe baakola, emisota ne gibazikiriza. 10 (G)Era temwemulugunyanga ng’abamu ku bo bwe baakola, ne battibwa omuzikiriza.
11 (H)Ebyo byonna byabatuukako ng’ekyokulabirako gye tuli, era byawandiikibwa olw’okutulabula ffe abaliwo abatuukiddwako enkomerero. 12 (I)Kale alowooza ng’ayimiridde, yeekuumenga aleme okugwa. 13 (J)Tewali kukemebwa kubatuukako okutali kwa bantu; kyokka Katonda mwesigwa, kubanga taabalekenga kutuukibwako kukemebwa kwe mutayinza kugumira, naye anaabasobozesanga okubigumira, n’abalaga n’ekkubo ery’okubiwangula.
14 Noolwekyo, mikwano gyange, muddukenga okusinza bakatonda abalala. 15 Muli bantu abategeera. Kale, mulabe obanga kye njogera kye kikyo. 16 (K)Ekikompe eky’omukisa, kye tusabira omukisa, si kwe kussekimu okw’omusaayi gwa Kristo? Omugaati gwe tumenya, si kwe kussekimu okw’omubiri gwa Kristo? 17 (L)Kubanga ffe bangi, ffenna tulya ku mugaati gumu, ekiraga nga bwe tuli omubiri ogumu.
18 (M)Mulabe Isirayiri ow’omubiri, abalya ssaddaaka tebassa kimu na Kyoto? 19 (N)Kale kiki kye ngezaako okutegeeza? Mulowooza ŋŋamba nti ebyokulya ebiweebwayo eri bakatonda abalala birimu amakulu? Oba nti bakatonda abalala balina omugaso? 20 (O)Nedda. Kye ŋŋamba kye kino nti abo abawaayo ssaddaaka eri bakatonda abalala bawa eri baddayimooni so si eri Katonda. Saagala mwegatte wamu ne baddayimooni mussekimu nabo. 21 (P)Temuyinza kunywa ku kikompe kya Mukama ate ne munywa ne ku kikompe kya baddayimooni. Era temuyinza kuliira ku mmeeza ya Mukama ate ne ku ya baddayimooni.
22 (Q)Oba Mukama tetumukwasa buggya? Tumusinza amaanyi? 23 (R)Byonna bikkirizibwa, naye si byonna ebirimu omugaso. Byonna bikkirizibwa naye si byonna ebizimba. 24 (S)Omuntu yenna alemenga okwefaako yekka, naye afengayo ne ku bya munne.
25 (T)Mwegulire ennyama eya buli ngeri gye batunda mu katale mulye, awatali kusooka kwebuuza olw’omwoyo gwammwe. 26 (U)Kubanga ensi ya Mukama n’okujjula kwayo.
27 (V)Singa omu ku batali bakkiriza abayita ku kijjulo, ne mwagala okugenda, kale mulyenga kyonna kye banaabagabulanga nga temuliiko kye mubuuzizza olw’obulungi bw’omwoyo gwammwe. 28 (W)Kyokka omuntu yenna bw’abategeezanga nti, “Kino kyaweereddwayo eri bakatonda abalala,” temukiryanga olw’oyo abategeezezza n’olw’obulungi bw’omwoyo gwammwe, 29 (X)bwe njogera bwe ntyo, njogera ku mwoyo gwe so si ogw’oli omulala. Kubanga lwaki eddembe lyange lisalirwa omusango omwoyo gw’omulala? 30 (Y)Bwe ndya nga neebazizza, lwaki nnenyezebwa olw’ekyo kye ndya nga neebazizza?
31 (Z)Kubanga buli kye mukola, oba kulya oba kunywa, mukikole nga mugenderera kugulumiza Katonda. 32 (AA)Temukolanga ekyo ekineesittaza Abayudaaya oba Abayonaani wadde ab’ekkanisa ya Katonda. 33 (AB)Nange bwe ntyo ngezaako okusanyusa abantu bonna mu byonna bye nkola, nga sinoonya byange, wabula nga nfa ku bulungi bw’abalala balyoke balokolebwe.
Eby’ekivve mu Yeekaalu
8 (A)Awo mu mwaka ogw’omukaaga, mu mwezi ogw’omukaaga ku lunaku olwokutaano, bwe nnali nga ntudde mu nnyumba yange n’abakadde ba Yuda, nga batudde mu maaso gange omukono gwa Mukama Katonda ne gunzikako. 2 (B)Bwe natunula ne ndaba ekifaananyi ky’omuntu, okuva mu kiwato kye okukka wansi ngali ng’omuliro, n’okuva mu kiwato kye okwambuka ng’ayakaayakana ng’ekyuma ekyaka omuliro. 3 (C)N’agolola ekyalabika ng’omukono n’akwata enviiri zange. Omwoyo n’ansitula wakati w’ensi n’eggulu mu kwolesebwa kwa Katonda n’antwala e Yerusaalemi ku mulyango ogw’oluggi olutunuulira Obukiikakkono olw’oluggya olw’omunda ogutunuulira Obukiikakkono, awaali bakatonda abalala abaleetera Katonda obuggya. 4 (D)Era awo we waali ekitiibwa kya Katonda wa Isirayiri, ng’okwolesebwa kwe nalaba mu kyererezi.
5 (E)Awo n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, yimusa amaaso eri Obukiikakkono.” Awo ne nnyimusa amaaso gange, era laba mu mulyango ogw’Obukiikakkono ogw’oluggi lw’ekyoto ne ndaba ekifaananyi eky’obuggya.
6 (F)N’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, olaba kye bakola, ebigambo eby’ekivve ennyumba ya Isirayiri byekolera wano, nga bangobera wala n’ekifo kyange ekitukuvu? Naye oliraba ebintu eby’ekivve ebisingawo.”
7 Awo n’antwala ku mulyango ogw’oluggya. Ne ndaba ekituli mu bbugwe. 8 N’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, kaakano sima mu bbugwe.” Ne nsima mu bbugwe, ne ndabayo omulyango.
9 Awo n’aŋŋamba nti, “Yingira olabe ebikolwa ebitali bya butuukirivu n’eby’ekivve bye bakola eyo.” 10 (G)Ne nnyingira ne ndaba, era ku bisenge ne ndabako ebyekulula ebya buli kika kyonna, n’ensolo ez’emizizo ne bakatonda abalala bonna ab’ennyumba ya Isirayiri. 11 (H)Abakadde nsanvu ab’ennyumba ya Isirayiri baali bayimiridde mu maaso gaabyo, ne Yaazaniya mutabani wa Safani, ng’ayimiridde wakati mu bo. Buli omu ku bo yali akute ekyoterezo mu mukono gwe, ng’ekire eky’akaloosa ak’obubaane kinyooka okuva mu byo.
12 (I)N’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, olabye abakadde b’ennyumba ya Isirayiri bye bakola mu nzikiza, buli omu ng’ali mu ssabo lya katonda we? Bagamba nti, ‘Mukama tatulaba, era Mukama yeerabira ensi.’ ” 13 N’addamu n’aŋŋamba nti, “Oliraba ebintu eby’ekivve ebisinga n’ebyo.”
14 Awo n’antwala ku mulyango ogw’oluggi olw’Obukiikakkono ogw’ennyumba ya Mukama, ne ndaba abakazi abatudde eyo nga bakaabira katonda waabwe Tammuzi. 15 N’aŋŋamba nti, “Ebyo obirabye, omwana w’omuntu? Oliraba eby’ekivve ebisinga n’ebyo.”
16 (J)Awo n’antwala mu luggya olw’omunda olw’ennyumba ya Mukama, awo ku mulyango gwa yeekaalu ya Mukama wakati w’ekisasi n’ekyoto, nga waliwo abasajja ng’amakumi abiri mu bataano, nga bakubye amabega eyeekaalu ya Mukama, nga batunudde Ebuvanjuba, ne bagwa bugazi nga basinza enjuba nga batunudde Ebuvanjuba.
17 (K)N’ambuuza nti, “Ebyo obirabye, omwana w’omuntu? Kintu kitono ennyumba ya Yuda okukola ebintu eby’ekivve bye baakola wano? Kibagwanira okujjuza ensi n’ebikolwa eby’obukambwe ne bongeranga okunyiiza? Laba basembeza ettabi ku nnyindo yaabwe! 18 (L)Kyendiva mbabonereza n’obusungu; siribakwatirwa kisa newaakubadde okubasonyiwa, era ne bwe balindekaanira siribawuliriza.”
Ya Mukulu wa Bayimbi: Zabbuli ya Batabani ba Koola.
46 (A)Katonda kye kiddukiro kyaffe, era ge maanyi gaffe;
omubeezi ddala atabulawo mu kulaba ennaku.
2 (B)Kyetunaavanga tulema okutya, ensi ne bw’eneeyuuguumanga,
ensozi ne bwe zinaasiguulukukanga ne zigwa mu buziba bw’ennyanja;
3 (C)amazzi g’ennyanja ne bwe ganaayiranga ne gabimba ejjovu
ensozi ne zikankana olw’okwetabula kwago.
4 (D)Waliwo omugga, emyala gyagwo gisanyusa ekibuga kya Katonda,
kye kifo ekitukuvu ekya Katonda Ali Waggulu Ennyo.
5 (E)Tekirigwa kubanga Katonda mw’abeera.
Katonda anaakirwaniriranga ng’obudde bunaatera okukya.
6 (F)Amawanga geetabula, obwakabaka bugwa;
ayimusa eddoboozi lye ensi n’esaanuuka.
7 (G)Mukama ow’Eggye ali naffe,
Katonda wa Yakobo kye kigo kyaffe.
8 (H)Mujje, mulabe Mukama by’akola,
mulabe nga bw’afaafaaganya ensi.
9 (I)Y’akomya entalo mu nsi yonna;
akutula emitego gy’obusaale, effumu alimenyaamenya;
amagaali n’engabo abyokya omuliro.
10 (J)Musiriikirire mutegeere nga nze Katonda.
Nnaagulumizibwanga mu mawanga.
Nnaagulumizibwanga mu nsi.
11 Katonda ow’Eggye ali naffe;
Katonda wa Yakobo kye kigo kyaffe.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola.
47 (K)Mukube mu ngalo mmwe amawanga gonna;
muyimuse amaloboozi muyimbire nnyo Katonda ennyimba ez’essanyu;
2 (L)Mukama Ali Waggulu Ennyo wa ntiisa.
Ye Kabaka afuga ensi yonna.
3 (M)Yatujeemululira abantu,
n’atujeemululira amawanga ne tugafuga.
4 (N)Yatulondera omugabo gwaffe,
Yakobo gw’ayagala mwe yeenyumiririza.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.